Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Eyawamba abaana wakukola bulungi bwa nsi

Omukyala eyakkirizza omusango gw’okuwamba abaana ba muggya we basatu aweereddwa ekibonerezo kyakukola bulungi bwa nsi. Jamirah Nabatanazi alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ya Mwanga 2 , Morris Ezra Obura n’amusalira ekibonerezo. Omulamuzi agambye nti omukyala ono alaze nti aboneredde, ate nga tazzanga ku musango munene okwo kw’ossa n’obutamala budde bwa kkooti. Omukyala ono alagiddwa okuyonja…

Read More

Emmotoka esse omwana

Omwana ow’emyaka 12 ekooneddwa motoka emuttiddewo e Lwengo Omugenzi ategerekese nga Shadiya Nagawa omuyizi mu ky’okuna ku ssomero lya St Ben Primary school erisangibwa e Kiganda Lwengo. Motoka kika kya Saloon no UAW 689H ebadde ewenyuka obuweewo y’ekoonye omwana ono abadde ava okugula ebintu ku dduuka Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi, agamba nti batandise omuyiggo…

Read More

Sipiika Zziwa awummuziddwa

Sipiika wa palamenti y’amawanga ga East Africa Margret Zziwa awummuziddwa. Ekiragiro ekiyimiriza Zziwa kiyisiddwa akakiiko akakola ku by’empisa . Kati Munna UPC Chris Opoka agenda kugira ng’akola emirimu gy’obwa sipiika mu nnaku 21 Zziwa z’anamala nga tali mu ntebe. Ekiteeso ekiwummuza Zziwa kiyisiddwa omubaka Abdallah mwinyi. Ekiteeso ekyemulugunya kunkola za Zziwa kati kitegeeza nti kyakuleetebwa nga ssi sipiika Zziwa aludde…

Read More

Eddwaliro lye Lubaga lyetaaga byuma

Eddwaliro lye Lubaga litandise kawefube w’okutereeza eddwaliro omujjanjabibwa abaana abakazaalibwa Kawefube ono agenda okutongozebwa ku lw’omukaaga luno agendereddwaamu kulaba nti eddwaliro lino lissibwaamu ebyuuma eby’omulembe Omwogezi w’eddwaliro lino Anne Nganda agamba nti basobodde okufuna ensimbi ezizimba leeba, sweeta bbiri , n’awatuukira abakyala n’eddwaliro ly’abaana nga kati beetaga byuma bya baana Okusinziira ku KCCA, eddwaliro lye Lubaga kikola ku…

Read More

Leeba nfunda

Abasawo abazaalisa mu ddwaliro lya Mukono health centre IV bawanjagidde gavumenti okugaziya leeba kubanga omuwendo gw’abakyala abazaala gweyongedde Leeba eno erimu ebitanda munaana yadde nga bano bazaalisa abakyala 15 buli lunaku Omu ku bakyala abazaalisa Norah Nakimuli agamba nti mu mwezi bakola ku bakyala abasukka mu nkumi ettaano omwezi kale nga bakalubirizibwa Nakimuli agamba nti gavumenti tekoze kimala…

Read More

Eddagala liriwa

Abakugu mu byobulamu bagaala gavumenti ekkirize abantu abatalina mukenenya okukkirizibwa bemire eddagala erikozesebwa ku bantu abali mu bulabe bw’okufuna mukenenya Dr Noor Semiyaga okuva mu kitongole ekirwanyisa endwadde ezibuna amangu agamba nti eddagala lino lijja kuyamba okukendeeza abantu abakwatibwa ekirwadde kya siriimu Ono agamba nti eddagala lino balikozesezzaako ku bavubi n’abafumbo ng’omu talina bulwadde era nga likoze…

Read More

E sembabule teri kabuyonjo

Abakulira eby’obulamu mu disitulikiti ye Ssembabule balaalise okuggala amaka agasoba mu 50 lwabutaba na zi kabuyonjo. Ebyaalo okuli Misojo A, Kiganda ,Misenyi, Nambirizi, ne Kyemandwa nga byobba biri mu gombolola ye Mateete ne Mijwala byebyolekedde ekyokya lwakubulwa aka mugwanya. Omukwanaganya w’ebyamazzi n’obuyonjo mu kitundu kino okuva mu minisitule y’ebyamazzi  Joseph Mubiru  ategezezza nga bwebazze balabula abantu bano…

Read More

Ensonga z’amasanga ziranze

Ab’ekitongole ky’ebyebisolo by’omunsiko mu ggwanga bategezezza nga bwebali abetegefu okukolagana n’akakiiko akatereddwawo okunonyereza mu masanga agaabulankana okuva mu kitongole kino. Akola nga akulira ekitongole kino  Raymond Engena ategezezza nga bwebatagenda kulemesa kunonyereza kwonna oluvanyuma lwaminisita w’eby’obulambuzi Maria Mutagamba okulagira abadde akulira ekitongole kino Dr Andrew Seguya okugira nga addako ebbali. Engena ategezezza nga abanonyereza ku misango okuva…

Read More

Obusisiira bukutte omuliro

Mu disitulikiti ye Pallisa abaayo bali mu miranga oluvanyuma lw’omuliro omuliro okusaanyawo  obusiisira bw’abatuuze 9. Abatuuze balumiriza nanayini ssomero lya Teso Primaru School okugula amayembe okufuna abaana mu ssomero lye nga era bagalumiriza  okubookyera enyumba zaabwe nga era obusiisira obusoba mu 10 bwebwakookyebwa. Micheal Odongo nga ye mwogezi wa poliisi mu bitundu bino agamba ennyumba zizze zikwata…

Read More

ababadde bakecula abakyala bakwatiddwa

Poliisi mu disitulikiti ye  Bukwo eriko abakazi  3 b’ekutte nga bakomola abawala mu bitundu byabwe eby’ekyama ekintu ekikontana n’amateeka g’eggwanga. Aduumira poliisi mu kitundu kino Alfred Baluku akakasizza okukwatibwa kw’abasatu bano oluvanyuma lw’okutyem,ezebwako abalwanyisa obuzzi bw’emisango mu kitundu kino abaatendekebwa okubaguliza ku poliisi ku misango gyonna. Ono era ategezezza nga bwebakutte n’abawala 2 ababadde bamaze okukekejulwa mu…

Read More