E Lwengo amaka agasoba mu 17 gali ku ttaka oluvanyuma lwa namutikkwa w’enkuba afudembye mu bitundu bino .
Enkuba eno ebaddemu ne kibuyaga ow’amanyi n’omuzira esaanyizzaawo n’ensuku eziwerako nga kw’ogasse emisiri gya muwogo, ebijanjalo n’ebirime ebirala .
Ekyaalo kya Bugaga Zone mu tawuni kanso ye Kinoni kyekisinze okukosebwa
Bosco Ssebyoza nga y’omu ku bafiiriddwa ebyabwe agamba obusolya obusinga…
omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana omuto empiso gy’amaze okwekuba nga ate alina siriimu ayimbuddwa.
Rosemary Namubiru nga aweza emyaka 64 y’asambira emabega nga ejjanzi oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu Rugadia Atwoki okulagira ayimbulye.
Kkooti ya Buganda Road y’aggalira Namubiru emyaka 3 oluvanyuma lw’okumusingisa omusango gw’obulagajavu nga kyaali kisobola okuviirako omwana ono okufuna siriimu.
Wabula Namubiru azze ajulira…
Sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Zziwa agamba nti abamugobye bamala biseera kuba tajja kuva mu ofiisi
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Zziwa agambye nti amateeka agagobererwa okugoba sipiika tegagobereddwa kale nga byonna ebyakoleddwa bimenya mateeka
Zziwa agamba nti tewali ngeri Lukiiko lw’atamanyiiko gyeruyinza kutuula nerumugoba.
Olukiiko olwagobye Zziwa lwatudde Nairobi era ababaka nebasalawo nti agira ng’adda emabbali nga…
Mu kibuga Newcastle ekisangibwa mu ssaza lya Penyslvania mu America, abatuuze batandise okwaamuka ekyaalo lwa kuwumya bubi bwa kkapa n’omusulo
Tekinnategerekeka lwaki ekyaalo kyonna kiwunya kyokka nga buli omu enyindo atambula azibinudde
Kati abakola ku butonde bwe’nsi batandise okunonyereza wwa awava olusu.
Empaka za FUFA big league zizzeemu leero okwetoolola eggwanga lyonna
Wemipiira esatu gyegizanyiddwa mu kibinja kya Elgon ate 4 mu kibinja kya Rwenzori.
Abakulembedde mu kibinja kya Elgon aba Kireka United bakwataganye ne kirinnya sss e Jjinja ate Artland K ezannya Maroon mu kisaawe e Luzira
Empaka ziddamu lwamukaaga ng’abali mu kibinja kya Rwenzori bakwatagana
Abakulembedde aba Water FC…
Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa nga kusaba nti abatuuze be Kasokoso bassibweeko ekiragiro ekibagaana okutunda ku ttaka lyaabwe okutuusa ng’entalo ku ttaka lino ziweddewo
Okusaba kuno kugobeddwa omuwandiisi wa kkooti enkulu Michael Otto ng’agamba nti abatuuze abali ku ttaka lino balibaddeko okuva mu gye 60 ng’agamba nti ye nyini lyo Yoweri Kabanda taligulanga
Omuwandiisi wa kkooti agambye…
Abasuubuzi mu Uganda bawadde gavumenti ya Kenya ennaku 14 okuta ebyamaguzi byaabwe byonna byebakwatira ku mwaalo e Mombasa
Konteyina ezisoba mu 400 zeezitubidde ku mwaalo yadde nga banyini zo baasasula buli kimu.
Mu lukiiko abasuubuzi lwebatuddemu basazeewo nti bakutandika okukozesa omwaalo gwe Dareesalam kubanga abe Kenya babalemesezza.
Omwogezi w’abasuubuzi Isa Ssekitto agamba nti era basabye gavumenti okulemesa ebyamaguzi…
Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku mwana agambibwa okutulugunyizibwa omukozi w’awaka.
Omwana ono olwaleero atwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa okulaba obuvune bweyafuna
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira akakasizza nti omwana ono abaddeko e Mulago era nebamwekebejja .
Omwana ayogerwaako yeeyalabikira mu katambi ng’atulugunyizibwa omukozi w’awaka eyatuuka n’okumulinnya ku mugongo n’amulanga kugaana kulya mmere
Omwogezi wa poliisi Fred…
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiwummuza abasirikale baakyo 59 lwampisa mbi
Bino bizze wakati mu kwemulugunya nti abasirikale bano bayitirizza obukambwe nga bakola emirimu gyaabwe.
Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti abamu ku bawummuziddwa beebasaba enguzi, n’okusiwuuka empisa nga bakola emirimu ekiswaaza ekitongole kyaabwe.
Gyebuvuddeko, akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi yagoba abamu ku basirikale b’okuntikko…
Ab’ekitongole kya KCCA bakyesambye okwogera ku nsonga z’omwana Ryan Semaganda eyakoonebwa ku KCCA.
Akulira abakozi mu Kibuga Jennifer Musisi olwaleero agaanye okubaako neky’anyega ku nsonga z’omwana ono yadde bannamawulire bafubye okumubuuza atuuse wa.
Mu nsisinkano gyeyatulamu ne bazadde b’omwana ono, Musisi yasuubiza nti abantu ano baali bakuliyirirwa n’okulaba nti abavunaanyizibwa ku kufa kw’omwana bavunaanibwa
Bo nno bakadde b’omwana…