Gavumenti etaddewo obuwumbi 622 okuyamba okutuusa enkola za kizaalaggumba ku bantu okwetoloola eggwanga.
Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaam Sarah Opendi agamba nti ensimbi zino zakukozesebwa mu myaka etaano egijja nga buli mwaka obukadde 39 zeezijja okukozesebwa
Opendi agamba nti ekigendererwa kyaabwe kwongera ku muwendo gw’abantu abafuna ekola zino okuva ku kakadde kamu mu emitwalo 70 okudda ku…
Gavumenti yakuno ssinsanyufu n’ekya palamenti ya East Africa okuwummuza sipiika waayo Margaret Zziwa
Zziwa y’awumuziddwa olunaku olw’eggulo okusobozesa okunonyereza okugenda mu maaso ku bigambibwa nti y’akozesa bubi ofiisi ye n’emirimu okumulema.
Munna UPC Chris Opoka kati y’atudde mu ntebe ya Zziwa nga y’avulumula n’emmotoka ya sipiika n’abakuumi bonna bali ku yye.
Kati amyuka ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi…
Enteekateeka z’okukuza olunaku lw’eby’obulamu mu Bwakabaka bwa Buganda ziri mu giya nene mu ssaza lya ssabasajja e Buddu emikolo emikulu gyegigenda okukwatibwa.
Ssentebe w’akakiiko akategesi Dr. Stuart Musisi ategezezza nga abasawo abasoba mu 40 bwebaasindikiddwa dda e Buddu okuva e Kmapala nga bakujanjaba abantu ba beene ab’e Maska ku bwerere.
Ategezezza nga enkambi z’ebyobulamu 2 bwezigenda okukubwa…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye abavubuka beemalire mu bintu mwebanajja ensimbi mukifo ky’okwonona obudde nga beekalakaasa.
Agamba okwekalakaasa mpaawo kwekugenda kuyamba bavubuka bano kale nga basaana kwemalira mu mirimu ginababbulula kuva mu bwavu .
Museveni bino y’abyogeredde mu lukungaana lw’abavubuka wano mu kampala n’ategeeza nga eggwanga bwerilimu enkola ya demokulasiya kale nga abeekalakaasa bamala biseera.
Abatuuze abasoba mu 300 mu disitulikiti ye Alebtong basula ku tebuukye oluvanyuma lw’enjovu 2 ezaakula neziwola okutoloka okuva mu kkuumiro ly’ebisolo.
Ssentebe wa LC 3 Geoffrey Ogoo ategezezza nga abatuuze be ku byalo okuli Anara ne Ogogong bwebatakyetaaya olw’enjovu zino.
Agamba banji tebakyasula mu mayumba gaabwe nga batya enjovu zino okubalumba nga ate zisaanyizzaawo ebirime byabwe ebyenjawulo.
Yye…
Abantu 6o basimatuse okufiira mu kabenje akagudde kumpi n’ekibuga kye Wobulenzi baasi namba UAU 708 B mwebabadde batambulira bw’eremeredde omugoba waayo neyekatta ennume y’ekigo.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Lameck Kigozi ategezezza omugoba wa baasi ono bw’abadde agivulumula endiima ekivuddeko akabenje kano.
Abafunye ebisago baddusiddwa mu ddwaliro ly’e Bombo nga n’omuyiggo gwa dereeva bwegukyagenda maaso.
Eyali ssentebe w’olukiiko olukulira ekitavvu ky’abakozi ekya NSSF Geoffrey Onegi Obel alya butaala.
Omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyake Margaret Tibulya ategezezza nga oludda oluwaabi bwelwalemereddwa okuleeta obujulizi obulumika musajja mukulu ono.
Onegi Obel abadde avunanibwa kukozesa bubi ofiisi ye n’okufiiriza gavumenti obuwumbi obuli eyo mu 8 wakati wa 2003 ne 2005.
Munnamateeka wa Obel, Francis Imara agamba nti…
Waliwo omuzungu akoze amakerenda ng’omuntu bw’agamira abadde ow’okuyisa omukka omubi aba avaamu kawoowo.
Omukka guno guyinza okuwunya ng’ekimuli kya roosa oba choclate
Christian ow’emyaka 65 agamba nti amakerenda gano aga capiso gawagiddwa dda ab’ebyobulamu mu bufaransa era nga gayamba n’okusumulula olubuto.
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga kitegese omusomo gwa nnaku bbiri okukubaganye ebirowoozo ku mupiira gwa Uganda
Omusomo guno gwegusookedde dda mu byafaayo bya Uganda era nga ekigendererwa kunyululula mupiira gwa ggwanga.
Bino byonna byogeddwa akulira ekibiina kino Moses Magogo bw’abadde ayogerako eri eggwanga omulundi ogusookedde ddala bukyanga Uganda ewandulwa okuva mu mpaka z’ekikopo ky’amawanga ga Africa
Abadde ali…
Bannakyeewa ne bannabyabufuzi baliko endagaano gyebatuuseeko ku biki byebagaala bissimbibweeko essira ng’okulonda tekunnaba kutuuka
Muno mwemuli okusaba nti akakiiko akalondesa kasattululwe, okukendeeza omuwendo gw’ababaka mu palamenti, okutondawo akakiiko akeetongodde akanakola ku by’okulonda,okuzzaawo ekkomo ku bisanja n’okujja amaggye mu by'obufuzi
Mu ngeri yeemu abakulu abasisinkanye bonna bakkiriziganyizza nti pulezidenti ave mu ntebe ng’okulonda kutuuse era abeere nga ssiye…