Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Museveni alabudde ku mukenenya

Pulezidenti Museveni asabye abavubuka okussa envumbo ku by’okwegadanga bwebaba bakulwanyisa mukenenya Bino pulezidenti abyogedde ayogerako eri abantu be Kabarole abakungaanye okwetaba ku mikolo gya mukenenya. Pulezidenti agambye nti ssinga abavubuka beekuma nebewala okwegadanga okutuuka nga bafumbiddwa oba okuwasa kijja kuyamba nnyo. Mu kampala emikolo gy’olunaku lwa mukenenya gibadde kawempe ku kisaawe. Wano ebitongole wamu nebibiina by’obwanakyewa webikunganidde okusomesa abantu…

Read More

Munaana balumiziddwa mu kabenje

Abantu munaana beebalumiziddwa ebyensusso mu kabenje akagudde e Namanve mu disitulikiti ye Mukono. Akabenje kano kalese abakoseddwa bamenyese amagulu n’emikono Taxi namba UAK 811N ebadde eva e Kampala okudda e Lugazi eyambalaganye bukanzu ne Isuzu no UAU 201K ebadde eva e Jjinja okudda e Kampala Atwala poliisi y’ebidduka e seeta Chemutai Basti agambye nti dereeva wa Isuzu ategerekese…

Read More

Omukozi eyatulugunya omwana bulijjo akikola

Poliisi ezudde ebipya ku mukozi eyakwatibwa ku katambi ng’atulugunya bebi ow’omwaka ogumu n’ekitundu Kizuulidde nti Jolly Tumuhiirwe tayasooka kutulugunya mwana eyalabikira ku katambi. Ebifulumiziddwa biraga nti omuwala ono era negyeyava yaleka atulugunyizza abaana ba mukama we nga bano yabassa nga mu nkuba n’ebagweerako. Akulira bambega ba poliisi Grace Akullo agamba nti bagenda kukebera omuwala ono okulaba oba aliko…

Read More

Abali mu East Africa bagobwe

Ab’ekibiina kya FDC bagaala ababaka ba Uganda bonna abali mu palamenti ya East Africa bagobwe Kino kiddiridde okugobwa kwa sipiika Margret Zziwa n’asikizibwa Chris Opoka okumala ennaku 21 zebagenda okumala nga bamubulirizaako Omwogezi w’ekibiina kya FDC John Kikonyogo agamba nti ababaka bano baakusigala nga battattana ekifananyi ky’eggwanga ssinga tebakolebwaako Kikonyogo agamba nti eby’abakulembeze b’amawanga okuyingira mu nsonga tekijja…

Read More

Aba NRM bakyabanjibwa

Nga wasigaddeyo mbale ttabamiruka wa NRM atuuke, ekibiina kino tekinnasasula bbanja lya bukadde 188 ezibabanjibwa abe Namboole. Omwezo oguwedde, akakiiko ka palamenti akakola ku bitongole bya gavumenti kalagira NRM okusasula abe Namboole olw’olutuula lwebaalina mu mwaka 2010. Amyuka omuwanika wa NRM, Singh Katongole agamba nti ekibiina kikyetegereza okulaba ddala oba bakibanja ssente mmeka olwo balyooke basasula Katongole agamba…

Read More

Ono atijja n’akabizzi

Mu ggwanga lya Amerika waliwo omukyaala agobeddwa ku nyonyi lw’akabizzi k’abadde atambula nako okufuuka ekizibu nga kaleekanira abalala. Abasabaze basoose kugumikiriza kerere wabula tekimalidde kabizzi kano nekoonona mu nyonyi era olw’ekivundu banji nebatabuka. Enyonyi olubadde okugwa okufuna abasaabaze abalala nakyaala ono n’alagibwa ave ku nyonyi ne kalufuluuta ke akabadde kafuuse ekizibu.

Read More

ogwa Godi gumaze okuwulirwa

Okuwulira okujulira kw’eyali omubaka wa Municipaali ye Arua Akbar Godi ku kibonerezo ky’okutta Mukaziwe kuwedde nga ensalawo ya Kkooti ensukulumu kwakuweebwa gyebujja.   Munnamateeka wa Godi  Suzan Wasabula mu kiwandiiko ky’awadde kkooti ategezezza nga kkooti ejulirwamu bweteetegereza  bulunji kujulira kwa Muntu we n’okuddamu okutaganjula obujulizi obwamusibisa emyaka 25.   Munnamateeka ono era yemulugunya nga ekibonerezo kino bwekyawebwa omuntu we…

Read More

Abalya enguzi n’abagirya bubakeredde

Olutalo ku baserikale ba poliisi abokunguudo abalya enguzi lunyinyitidde nga kati waliwo 22 abakwatiddwa .   Wabula ekiwendo kino tekitaliza nabajigaba nga era waliwo n’abagoba ba baasi 2 abakwatiddwa nga bagaba ekyojja mumiro era kati batemeza mabega wamitayimbwa.   Akulira poliisi y’ebidduka  Steven Kasiima ategezezza nga basajja be bano bwebaakwatiddwa lubona nga basaba ekyoja mumiro nga era baakuvunanibwa.   Kasiima agamba…

Read More

Lunaku lwa siriimu- buvunanyizibwa bwo okumutaayiza

Nga Uganda yegasse ku nsi yonna mu kukuza olunaku lwa siriimu , e Kamuli miranga oluvanyuma lw’abantu 2 ab’enjawulo  okwetta lwakukitegeera nti balina siriimu. Omu mukyaala bba gweyasuula mu  ddwaliro kwekusalawo okwetta oluvanyuma lw’okwekyawa. Omulala musajja eyasigula mukyaala wamunne wabula avudde mu mbeera ne yetta oluvanyuma lwa nanyini mukyaala okumuweereza obubaka nga yadde y’asigudde mukyalawe akimanye nti…

Read More

Uganda eweereddwa ssente z’okulwanyisa Ebirwadde bya Ebola ne Marburg

Ekibiina ky’amawanga amagatte kisuubizza Uganda obuwumbi 18 ez’okulwanyisa ebirwadde okuli Ebola ne Marburg. Kino kiddiridde endagaano etuukiddwako wakati wa Uganda n’ebitongole by’ekibiina kino ey’okuyamba eggwanga wakati wa 2016-2020. Ssabaminisita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda y’akiikiridde Uganda sso nga Ahunna Eziakonwa-Onochie  yeyakiikiridde ekibiina ky’amawanga amagatte. Dr Rugunda ategezezza nga Uganda bw’egenda okwongera okuteekawo enteekateeko z’okukolagana n’ekibiina kino okutambuza obulunji emirimu…

Read More