Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abe Sese bagaala kwekutula ku Buganda

Ng’ebitundu ebitali bimu byongera okusaba okwetongola, n’abasese bagaala kwesala ku Buganda. Akulira abasese Bijwenge Bukulu Kasirye agamba nti bamaze okuwandiikira pulezidenti Museveni ne minisita akola ku nsonga z’ekikula ky’abantu nga babategeeza ensonga zaabwe Kasirye agamba nti tebassangako mukono ku ndagaano ne Bungereza kale nga balina okubeera nga beetongodde Bano okusaba bakukozesa nga kati myaka 100 nga batambulira wansi…

Read More

Abagwiira bayooleddwa

Ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga kikutte bannansi ba Lebanon 11 ababadde bakolera wano mu bukyaamu. Bano babadde bakolera kkampuni ya Orange telecom Ekikwekweto kino kizze wakati mu kwemulugunya nti bannansi ba Lebanon abaagula kkampuni eno babadde bakozesa banaabwe abayingira eggwanga mu bukyaamu. Amyuka omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana agamba nti okunonyereza kutandise…

Read More

Omukulembeze wa Kenya atabuse ku batujju- agobye abanene

Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta ayongedde okutabuka ku butujju ng’agobye minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga ne ssabapoliisi. Kiddiridde obulumbaganyi obuggya obukoleddwa ku Kenya okukkakkana ng’abantu 36 bafudde Kenyata alangiridde nti ssabapoliisi David Kimayo  abadde alekulidde. Kenya ezze erumbibwa abatujju nga ssabbiiti ewedde abantu abasoba mu 20 bafiira mu bulumbaganyi bwa baasi.

Read More

Endaga muntu ziziino

Pulezidenti Museveni asiimye ebitongole bya gavumenti ebitali bimu ebikoze ku by’okukuba endagamuntu Bino pulezidenti abyogedde alambula ekifo kaadi zino webazikubirwa e Kololo. Ono abadde awerekeddwaako minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima, akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu n’abalala. Ng’ayogerako eri bannamauwlire ,Gen Nyakairima akakasizza nti pulezidenti ng’amaze okutongoza omulimu gw’okugaba kaadi, abantu bakutandika okufuna…

Read More

Temuyiwa musaayi kukyuusa bukulembeze

Abavuganya basaanye okwewala okukozesa amakubo g’okuyiwa omusaayi mu kawefube w’okuleetawo enkulakulana mu ggwanga. Obubaka buno buvudde eri eyali senkaggale wa DP Paul Kawanga Ssemogerere bw’abadde ayogerako eri ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti ku palamenti olwaleero. Semwogerere agambye nti abavuganya babadde beekalakaasa ekintu ekikosa emirimu gy’abalala n’okuyiwa omusaayi ekintu ekitali kituufu. Agamba nti Uganda terina kudda mu nnaku…

Read More

Aba Taxi bavunaaniddwa

Abagoba ba taxi abakwatibwa nga beekalakaasiza ku ssaawa ya kwiini bagguddwaako misango gyakukuma mu bantu muliro n’okweyisa mu ngeri etasaana Bano emisango gibasomeddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya City Hall Erias Kakooza era bonna nebegaana emisango. Kigambibwa okuba nga badereeba bano beetaba mu kukuba abasirikale ba KCCA abaali mu kukola emirimu gyaabwe ekintu ekikyaamu. Abamu ku badereeva…

Read More

Aba Paakayaadi bakaaba

Abasuubuzi  bo mukatale ka  Paakayaadi wowulira bino  emitima gibewanise oluvanyuma lw'okuweebwa ekibaluwa eky'okubasengula nga 25 omwezi guno. Bano nga bakulembedwaamu Chairman wabwe Kassimu Ssebaduka bagamba baweredwa ekibaluwa aba Ham building okutandiika okwewandisa okufuna emidala wagulu wekizimbe kino. Bano baweze  okwanganga oyo yenna anepanka nti  abasengula nga si gavumenti. Tutuseeko kukizimbe kya Ham Building nga emidaala egiri eyo mu…

Read More

abafere ba siriimu babakutte

Abasawo basatu ababadde bakyusakyusa ebivudde mu musaayi bakwatiddwa Abakwatiddwa ye Rose Namukose , Ben Nakibuuka, ne Abbey Makumbi. Bano era babadde bakyanga alizaati ezivudde mu kukebera abantu siriimu. Omu ku bali mu lutalo lw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya, Don Byakatonda anyonyola Bano bakwatiddwa poliisi ng’eyambibwaako ekibiina ekirwanyisa mukenenya ekya HSFO Bano bonna babadde bakolerabulwaliro nga  Mother Kevin Clinic, ne Riina Clinic. Omukulu…

Read More

Akawuka ka siriimu kanafuye

Bannasayansi bazudde nti akawuka ka mukenenya kazze kanafuwa nga kati tekakyatta nga luli era nga ssi nakyangu kukwata mangu Abazudde bino beeba Yunivasite ya Oxford eraga nti akawuka kano kanafuye Akawuka kano era kalwaawo kati okunafuya omuntu nga bano bagamba nti kino kyakuyamba nnyo ku lutalo ku mukenenya. Bano bagamba nti emyaka gyeginajja giyitawo, akawuka kano kakugweeramu ddala…

Read More