Ekibiina kya FDC kyaddaaki kironze omuntu azze mu bigere by’eyali akulira abavuganya Nandala Mafaabi n’omubaka Jack Ssabbiiti.
Omubaka omukyala owe Soroti Angelina Osege kati ye muwanika omuggya ate Anite Among ye mumyuka we
SSabawandiisi w’ekibiina kino Alice Alaso agamba nti Osege atandikiddewo emirimu nga y’agenda n’okuwaayo alipoota y’ebyensimbi ey’ekibiina oluaku lw’enkya
Mafaabi yalekulira ekifo ky’omumyuka w’omuwanika ng’agamba nti…
Abakulembeze b’abalokole bakkirizza ng’eddiini yaabwe bw’eyingiriddwa ennyo bannakigwanyizi
Mu kadde kano kkanisa z’abalokole 4500 z’empandiise okukola emirimu
Akulira abalokole, Dr Joseph Sserwadda agamba nti wabaddewo okubuzabuza ku kuwandiisa amakanisa ng’abamu beewandiisa nga bibiina bya bwannakyeewa
Kenya kyaddaaki epondose n’eyimbula eby’amaguzi bya Uganda byeyali yawambira ku nsalo.
Abasuubuzi bonna abalina emmaali yaabwe ku mwaalo gwe Mombasa basabiddwa okugenda okugikima
Omwogezi w’abasuubuzi mu kibuga Issa Sekitto agamba nti ekitongole ekiwooza ekya Kenya kikwataganye n’abakola ku mwaalo nebakkiriza bannayuganda okukima ebintu byaabwe
Bino bizze ng’abasuubuzi bakalangirira nsalessale wa nnaku 14 eri aba Kenya okuta emmaali yaabwe…
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisita akola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga okuvaayo ne alipoota ku kufa kw’omwana eyattibwa ku wofiisi ya KCCA
Omwezi oguwedde omwana ow’emyaka 2, Ryan Semaganda yafotoolwa mmotoka ya KCCA nyina bwebalai bamukutte nga bamuvunaana kutembeeyeza ku nguudo za kibuga
Omubaka we Lubaga mu bukiikakkono Moses Kasibante ensonga eno y’agireese mu palamenti…
Omusajja eyasanze essajja nga likaka muwala we omukwano akimukoze.
Omusajja ono tayombye na musajja ono ng’amuyise ewaka ku kijjulo n’okumugabira muwala we mu butongole
Wabula nga bagenda mu maaso n’okulya, omusajja ono amukyukisse n'atand’ka okumutulugunya okutuuka lw’amusse
Omusajja ono ky’akoze kwekusiba musajja munne ku katebe olwo n’atandika okumukuba ku bitundu bye eby’ekyama okutuuka lw’amusse ng’amulanga kuzannyira ku muwala…
Abasajja babiri ababadde balongoosa ku palamenti basumattuse okufa obuguwa obubadde bukutte ebyuuma ebibatambuza bwebukutuse
Abakozi bano babadde balongoosa ku mwaliro gw’okutaano.
Tekitegerekese lwaki obuguwa buno bukutuse ate ng’anakulira abakozi bano talina ky’anyeze
Omu ku balumiziddwa alabiddwaako ng’awandula omusaayi kyokka nga bannamawulire tebakkiriziddwa kumusemberera
Uganda ekyakwata kya ku mwanjo mu mawanag agasinga okulya enguzi mu nsi yonna
Ku mawanga 175 agatunuuliddwa, Uganda ekwata kya 142 okuva wansi ku mawanga agasinga okulya enguzi
Bino bifulumidde mu alipoota ekoleddwa ekibiina kya Transparency International ng’eraga nti Uganda Uganda ne Kenya ge mawanga agasingamu enguzi ku ssemazinga wa Africa.
Yyo Somalia y’esinga okulya enguzi ku semazinga…
Abakulembeze ba disitulikiti ye Ssembabule balaze obweralikirivu olw’abaana abato abakulemberamu amaka gaabwe okweyongera.
Kino kivudde ku bazadde b’abaana bano okufa siriimu nga abasinga bafuuka bamulekwa nebalabirira bato baabwe.
Okusinziira ku akulira eby’obulamu ku muluka gwe Mitete Haji Hamid Babu Mpaka ebyalo ebisinze okukosebwa bwekuliko Nakaseta ne Mitete.
Agamba ekisinga okukwasa ennaku kwekuba nti abantu bomu kyaalo banji siriimu…
Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa nti ttabamiruka wa NRM ayimirizibwe
Okusaba kuno kwaali kwassibwaawo munna NRM Capt Daudi Maguru agamba nti ensonga ze ne pulezidenti Museveni zibadde tezikolwangako kale nga kikyaamu olutuula okugenda mu maaso.
Maguru agamba nti yategeragana ne pulezidenti Museveni nti tajja kuddamu kukwata bendera y’ekibiina kyokka nga kyamuggwaako okulaba ng’ate tayagala na Muntu yenna…
Eyawummuziddwa ku bwa sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Ziiwa agamba nti tajja kulabikako mu kakiiko akakwasisa empisa nga bweyalagiddwa.
Zziwa yawummuzibwa ku bwa sipiika n’asikizibwa munna UPC Chris Opoka okusobozesa akakiiko akamunonyerezaako okukola emirimu
Kati Zziwa agamba nti tajja kulabikako mu kakiiko kubanga kakulirwa Dorah Byamukama aludde ng’amulwanyisa era nga yali yamwesimbako kale nga tayinza…