Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Aba Sauna babasobodde

Mu ggwanga lya Austria , ab’obuyinza basazeewo kukozesa bakuumi ababeera obukunya okulaba abeekola obusolo mu zi sawuna Bano bagamba nti babadde tebasobola kukwata bantu basigala bwereere ng’ate bakozesa abambadde nga y’ensonga lwaki basazeewo okukozesa abali obukunya Abasirikale bano bassiddwa mu sauna mwenyini nga mwebatuula nabo nebefuula ba kasitoma

Read More

Okujjukira Mandela-kati omwana gumu ng’afudde

Ebikujjuko ebitali bimu bigenze mu maaso mu ggwanga lya South Africa okujjukira nga bweguweze omwaka bukyanga  Nelson Mandela afa Wabaddewo okussa ebimuli ku malalao g’omugenzi n’empaka z’emizannyo egitali gimu. Abavumirira ekiboola langi era beegasse ku namwandu wa Mandela Graca Machel okwetaba mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu kibuga Pretoria. Abantu bawuliddwa nga bafuuwa emirere okwetoola eggwanga nga tebannasirikirira okumala…

Read More

Obunene bulwadde

Okubeera omunene ennyo kitoola ku buwangaazi bw’omuntu emyaka munaana. Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ate ssinga omuntu ava buto nga munene kikosa obulamu bwe n’obuwangaazi. Abakoze okunonyereza nga bava mu kibuga Montreal ekya Canada bagamba nti obunene bwongera ku ndwadde ezitali zimu omuli ey’omutima, sukaali,puleesa  n’endala Abakugu bagamba nti abantu bangi tebamanyi bulabe buli ku kubeera muzito ekisusse nga…

Read More

Abagambibwa okubeera abatujju bazzeeyo e Luzira

Abantu ekkumi abakwatibwa mu Kisenyi nga bavunaanibwa ogw’obutujju baddiziddwaayo ku alimanda e Luzira. Omulundi ogwokusatu balabiseeko maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road  Simon Kintu n’abalagira okudda mu kkooti nga 19 December kubanga okunonyerezaa kukyagenda mu maaso. Bano bavunaanibwagwa kuyamba ku bakambwe ba  al-Shabab okutigomya eggwanga mu mwezi gwa September mu mwaka 2014.  

Read More

Abaana b’okunguudo bakaaba

Waliwo ekibinja ky’abaana b’okunguudo abakwanze palamenti ekiwandiiko nga beemulugunya ku bukambwe obukozesebwa ababagoba ku nguudo nga era baagala bukome mbagirawo. Abaana bano abavudde mu nzigotta ymu Kisenyi bakwasizza sipiika wa palamenti ekiwandiiko nebamusindira ennaku nga poliisi bwebatuntunza naddala mu biseera by’ekiro nga oluusi babakanda okuwaayo ensimbi okusobola okuyimbulwa. Bano era balombojja nga bwebasiyagibwa abasibe abalala bebasanga mu…

Read More

Eyajjamu omukazi olubuto n’afa atuyaanye

Okuwozesa omusawo eyajjamu omukyala olubuto amale afe kugenze mu maaso Dr Moses Muhwezi yaggulwaaako misango Mercy Ampaire mu butanwa n’okutta omwana omuto mu bugenderevu Omujulizi asoose ye musawo yenyini eyamuyambako ng’ebintu bitabuze Dr. Henry Karuhanga nga ye nnanyini ddwaliro lya Mulago Medical Centre ategeezezza kkooti nti yakola ku mukyala ono ku biragiro bya Muhwezi Ono agamba nti wabula webamuyitira…

Read More

NRM yakwongera okuyulika- Muntu

Ssenkagale w’ekibiina kya FDC Gen Mugisha Muntu asabye abavuganya gavumenti okukozesa enjawukana mu kibiina kya NRM okufunza obuyinza. Bwabadde aggulawo ttabamiruka ono Gen Mugisha Muntu alagudde nga NRM bwegenda okunafuwa nga ttabamiruka ow’omulundi ogwe 15 awedde. Muntu ategegezezza nga ab’oludda oluvuganya gavumenti bwebasaanye okukozesa akakisa ku njawukana eziri mu kibiina kya NRM beegatte bawangule obuyinza. Wabula Muntu agamba…

Read More

Abe Butabika basenguddwa

N’okutuusa kati abantu abaagobeddwa mu lutobazi lwe Butabika bakyatubidde nga bebuuza wwa ew’okulaga. Bano poliisi ekedde kumenya maka gaabwe saako n’okubakubamu ttiya gaasi nga era kati banji batudde wansi bibasobedde. Mu kavuvungano kano waliwo n’omwana owa wiiki 3 azuuliddwa nga ebitaka byamuyingidde mu nyindo ne mukamwa era addusiddwa mu ddwaliro okutaasibwa wabula nga ali mu mbeera mbi Bano…

Read More

Etteeka ku bisiyaga likomyeewo

Kawefube w’okuzza etteeka ku bisiyaga akomyeewo mu palamenti Ababaka abakulembeddwaamu owe kawempe mu bukiikakkono Latif Ssebaggala atandise okwekengera ensonga lwaki etteeka lino likyagaanye okudda Ssebagala agamba nti bakungaanye emikono egisoba mu 250 era nga bategese okuyisa etteeka lino libeere ekirabo eri bannayuganda ekya kulisimaasi Ono wabula ayagala sipiika wa palamenti abanyonyole etteeka lituuse wa n’okumanya akakiiko akassibwaawo okuwetegereza…

Read More

Endabirwaamu zibatemye nebafa

Abantu 2 bafiiriddewo oluvanyuma lw’endabiraamu zebabadde batikkula okubagwiira nezibasalasala , nga bino byona bibede wano mu-kibangirizi kyabannamakolero kulguudo namba musanvu. Enjega eno ebadde ku kkampuni etunda endabirwamu eya  Chandi Interior design limited nga bano endabirwamu zibagwiridde bazitikkula kuva ku ki konteyina. Akulira poliisi enzinya mooto  Joseph Mugisa, ategezezza nga abagenzi bwebatanaba kutegerekeka.

Read More