Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Eby’omukozi bikutte ekkubo eddala- ebyasooka bifu

Omusango gw’omukozi eyatulugunya omwana wa mukamawe n’agukkiriza guzzemu obungodiila . Omusango gwa Jolly Tumuhiirwe kati gujuluddwa okuva mu kkooti ya City hall ne gudda mu ya Buganda Road. Omuwaabi wa gavumenti Miriam Njuki ategezezza nga fayilo y’omusango guno bweyasindikiddwa mu kkooti ya Buganda Road era wano  omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabende  ataddewo nga 15…

Read More

Abajaasi bataano bafudde

Waliwo abajaasi b’eggye lya UPDF bataano abafiiride mu kabenje ate 10 nebabuuka n’ebisango. Akabenje kano  kagudde ku luguudo luva e  Kasese okudda e Fort Portal. Getufunye galaga nga kiloole kwebabadde batabulira bwekiremeredde  omugoba waakyo mu kitundu kye Bunjojo mu gombolola ye Bunyangabu  mu disitulikiti ye Kabarole okukkakkana nga yeefudde. Tutegeezeddwa nti emotoka eno namba H4DF 711 ebadde eva…

Read More

3 bafiiridde mu bubenje obwenjawulo

Abantu babiri beebafiiridde mu kabenje akagudde e Namataba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jjinja Abagenzi babadde batambulira mu mmotoka kika kya Mark two nga bakooneddwa tuleera ebadde egezaako okusala ekkoona Mu ngeri yeemu , omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akabadde e Nasuuti ku luguudo oludda e Kayunga. Afudde tategerekese mannya Ate abantu 26 basimattuse akabenje ddekabusa,oluvanyuma…

Read More

Agattiddwa n’embwa

Omukyala enzaalwa ya Bungereza asazeewo okugattibwa mu bufumbo obutukuvu n’embwa ye. Amanda Rogers afumbiddwa embwa ye gyebayita sheba ku mukolo makeke ogubadde mu ggwanga lya Croatia Omuwala ono agambye nti embwa ye temuvangamu yadde olunaku olumu kale nga ky’avudde asalawo basibe empeta  

Read More

Ekibinja ku bicupuli

Poliisi y’ensi yonna etaddewo ekibinja ekigenda okuyamba okulwanyisa eby’amaguzi ebitali ku mutindo Kiddiridde okukwatibwa kw’abantu 14 nga batunda ebyamaguzi ebikyaamu. Amyuka akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda Elly Womanyi agamba nti ebintu bino babiggye mu kitundu kye Gaza Land, Yamaha Center, Kikuubo ne Container village. Ono anyonyodde nti ebimu ku byebakutte mwemuli eddagala ly’ebiwuka, eby’amasanyalaze n’ebikozesebwa bakyala okwekolako. Ekibinja…

Read More

Eby’omwana eyabula biranze

Akola ng’omuwi w’amagezi eri gavumenti ku bya mateeka agamba nti tasobola kuwa magezi ku nsimbi mmeka ezirina okusasulwa abafumbo ababbibwaako omwana waabwe ku ddwaliro e Mulago. Akiikiridde ssabawolereza wa gavumenti Bichachi Ojambo y’ategeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe  nti ssabawolereza w’eggwanga ali bweru ate nga yye tasobola kusalawo nga sekinnoomu. Omwezi oguwedde, gavumenti yakkiriza okusasula Micheal…

Read More

Yesse lwa mukwano

Abakolera ku kizimbe kya Mabirizi baguddemu ensisi, omusajja bw’avudde eri neyettira ku kizimbe kino. Omuvubuka ono ategerekese nga Deus Kabisire  ng’abuuse okuva ku mwaliro gw’okuntikko n’afiirawo. Aduumira poliisi y’amasekkati ga kampala Henry Kintu agamba nti byebakafunawo biraga nti omusajja ono abadde yafunye obutakkaanye ne muganzi we Omugenzi kigambibwa okuba ng’alese ekiwandiiko ekiraga nti yesse kubanga alina omuwala gw’ayagala…

Read More

Embeera mu Nkambi yakukyuuka

Oluvanyuma lw’embeera y’eby’obulamu okwongera okugotaana mu nkambi z’abanonyi b’obubudamu minisitule ekola  ku nsonga z’ababundabunda etaddewo akakiiko akalondoola  ebyobulamu mu nkambi zino okulaba nga tewabalukawo ndwadde zonna ziva ku bukyafu. Minisita akola ku bigwa bitalaze Musa Echweru agamba obukiiko buno bugenda kukwatagana butereevu ne minisitule y’ebyobulamu okusalira embeera y’eby’obulamu amagezi nga basomesa abanonyi  b’obubudamu engeri y’okwekuumamu nga…

Read More

Eddwaliro lyafuuka wofiisi

Agava e Mbale geeg’eddwaliro lye Bumasikye okubeera nga kati lyafuulibwa kitebe kya gombolola Eddwaliro lino lirina okukola ku bantua basoba mu 13,000 kyokka nga kati bano basindikibwa mu malwaliro amalala kubanga tewakyaali ddwaliro. Eddwaliro lino lyaali lyazimbibwa mu mwaka gwa 2009 era nga libadde likola ku balwadde okuva olwo. SSentebe we gombolola ye Bumasikye Jack Nanghosha agambye nti…

Read More