Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebya Mukono Katosi biranze

Kkampuni y’aba Merika eya EUTAW eddukidde mu kkooti ng’eyagala biragiro eri ekitongole ky’enguudo ekya Uganda National Roads Authority okugiddizza kontulakita gyebagijjako. Kkampuni eno yajjibwaako kontulakiti lwakusulaawo mirimu n’efunamu kkampuni y’aba china endala okukola emirimu. Eutaw eyise mu bannamateeka baayo aba Muwema and company Advocates ngeyagala kumanya nsonga ntuufu ezavaako okubajjako kontulakiti. Omwogezi wa UNRA Dan Alinange akkirizza okufuna…

Read More

Teri kukola kavuyo- aba NRM balabuddwa

Bannakibiina kya NRM balabuddwa ku kukunga banaabwe okukola akavuyo mu ttabamiruka ategekeddwa e Namboole ku bbalaza Akola nga ssabawandiisi w’ekibiina Richard Twodong agamba nti poliisi n’ebitongole ebirala ebikola ku bukuumi bitegeezeddwa ku bantu b’ekika kino era nga bakukwatibwa. Twodong agamba nti enteekateeka zonna kyenkana ziwedde nga n’olukiiko olufuzi olw’okuntikko lwkausisinkana olw’omukaaga nga ttabamiruka tannaba kutuuka Ebigambo bye bizze…

Read More

Abamenyi b’amateeka bakwatiddwa

Poliisi e Luweero ekutte abantu 17 lwakwetaba mu bikolwa bya bumenyi bwa mateeka. Bano bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ng’ennaku enkulu zijja zisembera. Ekikwekweto kino kikoleddwa mu kibuga kye Ngoma mu disitulikiti ye Nakaseke . Kino kiddiridde obubbi bw’ebisolo, emmere n’obunyazi obwabulijjo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agamba nti ebikwekweto bino byakugenda mu maaso.

Read More

Abawala bafumbirwa bato

Alipoota efulumiziddwa eraga nti abawala e Uganda abasinga bafumbirwa ku myaka 13. Alipoota eno ekoleddwa mu situlikiti ye Mayuge ne Sembabule n’eraga nti abazadde batuuka n’okusindika abaana baabwe mu bufumbo nga balaba bakuze. Kino kibaawo yadde kiri lwaatu mu ssemateeka nti omuwala akulira ku myaka 18. Kakensa okufa mu ttendekero ku nsonga z’abakyala n’ekikula ky’abantu ku ttendekero lye…

Read More

Abalina siriimu babikooye

Mu disitulikiti ye Butambala abantu abalina akawuka aka mukenenya bakaladde nebalabula abantu ababafuula eby’obulambuzi nga babasabirako obuyambi okuva e bunayira nti bakikomye bunambiro. Bano nga bakulembeddwamu  akulira ekibiina ekibataba abalina mukenenya ekya HIV forum Ssemaganda Lwanga. Lwanga agamba nti bakizudde nti waliwo abantu abagenda ebunaayira nebasaba  obuyambi nga bakozesa ebifananyi byaabwe,kyokka bwebafuna ensimbi tebaddamu kulabikako. Ono agambye nti…

Read More

Muve e Dubai mukomewo ewaka

Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni asabye bamusiga nsimbi okuva mu kyombo kya buwarabu okujja kuno batandikewo emirimu egyenjawulo. Museveni agamba nti abawarabu bano basobola okuyamba okuzimba emyalo egyenjawulo olwobumanyirivu bwebagirinamu okuva ewaabwe nga kino kyakuyamba Uganda okutumbula eby’obusuubuzi bwayo mu mawanga amalala. Bino pulezidenti y’abyogeredde ku bugenyi obwennaku 4 bwaliko mu  Dubai nga era y’asisisnkanyemu akulira emyalo mu…

Read More

Abawakanya Pistoruis bajulidde

Omulamuzi wa kkooti ya South Africa akkirizza abemulugunya ku kibonerezo ky’omuddusi Oscar Pistorious okujulira . Pistoriuous yasibwa emyaka 5 mu October lwakukuba muganzi we Reeva Steenkamp ebyaasi ebyamutta wabula n’atasingisibwa musango gwabutemu banji kyebawakanya. Abavunaaba Pistorious bagamba omulamuzi  Thokozile Masipa teuataputa bulungi mateeka bweyategeeza nga omuddusi ono bweyatta muganzi we nga tagenderedde kyebawakanya.

Read More

Nkumba eggulawo mwaka gujja

Yunivasite y’e Nkumba yakuggulwawo omwaka ogujja nga 19 January wabula n’obukwakkulizo obukakali eri abayizi bonna abakomawo. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ssentebe w’olukiiko olutwala ettendekero lino Dr David Byatike Matovu buli muyizi asoma emisana  wakusasula emitwalo 20 okuddabiriza ebyo byebayonoona nga bekalakaasa. Ettendekero lino lirina abayizi b’emisana abasoba mu 3500 nga era baagala kulaba nga bafuna obukadde obusoba mu…

Read More

Dereeva ayimbuddwa

Dereeva w’emmotoka ya KCCA eyafotola omwana ow’emyaka 2 n’ekitundu nganyina ali mu kkooti avunanibwa gwakutundira ku luguudo asambira mabega nga jjanzi oluvanyuma lw’okweyimirirwa. Baguma Anwali kati wakuwoza nga ava bweru oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Lilian Buchana okukkiriza yeyimirirwe ku bukadde 2 ezabuliwo ate buli abamweyimiridde obukadde 5 ezitali zabuliwo. Omulamuzi omukulu era omusango agujje…

Read More

Aba Sudan ssibakuweebwa nkambi

Gavumenti etegezezza nga bwetagenda kuteekawo nkambi yababundabunda bonna ndala eri abo abava mu ggwanga lya south Sudan. Kino kiddiridde alipoota ya poliisi okutegeeza nga abasudani abasoba mu 200 bwebesogga Uganda buli lunaku nga bayita e Nimule. Kati minisita omubeezi akola ku nsonga zababundabunda n’ebigwa tebiraze  Musa Echweru agamba enkambi zebalina zimala kale nga teri kwongerako ndala. Agamba enkambi…

Read More