Waliwo kkampuni ya Amerika ekoze empale y’ekyuuma.
Eno ekoleddwa kwambalwa basajja abasemberera omuliro naddala bakola mu biyungu bya wooteri
Ono agamba nti empale eno ejja kuyamba abantu bano okweyambula olw’ebbugumu eringi kubanga ebikka buli kimu.
Ab’ekibiina kya NRM bawakanyizza ebigambibwa nti balina enteekateeka eziremesa ssabaminista w’ekibiina Amama Mbabazi okwetaba mu ttabamiruka ku bbalaza ya ssabbiiti ejja
Akola nga ssabawandiisi w’ekibiina Richard Todwong agamba nti abo bonna abanaayita mu kasengejja okuli ne Mbabazi bakwetaba mu ttabamiruka ate era bakubaganye n’ebirowoozo.
Todwong wabula agambye nti bakitegeddeko nti waliwo abaweereza obubaka ku masimu nga bakunga…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwalero atongozesa edduuka erigenda okutunda ebintu ebyobuwangwa n’ebirala ebikwata ku bwakabaka bwa Buganda.
Edduka lino erisangibwa ku kizimbe kya Muganzirwazza erigenda kutunda ebintu omu certificate, ebitabo byo Obwakabaka, ebifaananyi bwa Kabaka, Nabageraka wamu n’ebitun ebirala.
Mayiga asinzidde wano n’asaba abantu ba Ssabasajja okwongera okuggula ebintu ebitundibwa Obwakabaka bwa Buganda kino kiyambe…
Abatuuze be wankulukuku wano mu kampala basabye ekitongole kya KCCA okuyamba okusomesa abantu baabwe ku by’obuyonjo okusobola okwewala endwadde eziva ku bukyafu.
Kino kiddiridde aba KCCA okukeera okugenda okuyonja ekitundu kino wabula abasinga babadde bamanyi bagenze kubamenya era nebesamba okubakwatizaako.
Kati omu ku bakulira eby’obulamu mu kitundu kino Fred Mayanja ategezezza nga abantu abasinga bwebaviira ddala ku…
Bannasayanansi bayiyiizza ekirungo ekigattibwa mu mmere, omuntu n’akkuta kyokka ng’aliddeko katono.
Okunonyereza okwakakolebwaako kulaga nti abantua bakikozesezzaako balya katono nebakutta era nga babadde basaze ku buzito.
Ekirungo kino kikkakkanya kubanga kizimbya omuntu olubuto n’awulira nti akkuse
Bano bagamba nti ssinga omuntu akikozesa buli lunaku kiyinza okuyamba okusalira ddala amasavu
Bbo nno abakugu okuva mu Bungereza batandise okuyiiya engeri ekirungo…
Bannasayansi bakubaganye empawa ku bigambibwa nti sukaali mubi nnyo eri abalina pressure okusinga omunnyo.
Abakugu okuva mu America bagamba nti bagamba nti abantu basaanye okussa essira ku sukaali gwebanywa okusinga bwebakola ku munnyo.
Bannasayansi bano bagamba nti sukaali wabulabe nnyo ng’aleeta n’obulwadde bw’omutima
Wabula abanonyereza abalala bagamba nti sukaali n’omunnyo byonna bibi nga ssi kirungi kubyesambereza.
Kati abakyaala abasinga bwebaba embuto balya ebintu ebyenjawulo, abamu balya bbumba ate abamu nebakomba ne ku vvu.
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omukyaala atayosa lunaku nga talidde ku toyileti pepa.
Omukyaala ono ow’emyaka 25 wa nzaalo 5 ategezezza nga olubuto bwelwaweza emyezi 2 y’atuuka nga tayagala kulya kintu kyonna okujjako toyileti pepa paper.
Kati gwe omukyaala eyali olubuto…
Poliisi ye Kyanamuka mu disitulikiti ye Masaka eriko omusajja ow’emyaka 32 gwekutte lwakulumba eyamusigulira omukyaala n’amutematema.
Frank Kawooya 27 y’addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwa Fred Kakooza okumulumba n’amutema embale ku mutwe n’emikono nga amulanga kumwagalira mukyalawe Monica Namutebi.
Kigambibwa nti Namutebi y’asuulawo eddya n’agenda ewa Kawooya ekyanyiiza Kakooza n’alumba amalemu eyamutwalira kabiitewe ejjoogo.
Okusinziira ku …
Waliwo omusuubuzi omututumufu wano mu Kampala akwatiddwa e Kjjansi lwabigambibwa nti aweereza Gen David Ssejusa ensimbi gyeyaddukira.
Poliisi yazinzeeko amaka ga Francis Butto Matovu e Lwezza nebaganibwa okuyingira okutuusa ku ssaawa 3 ez’okumakya lwafulumye.
Munnamateeka wa Matovu Michael Mabike amangu ddala y’atuuse mu maka g’omuntu we n’ategeeza nga poliisi bwetabadde nabiwandiiko bijikiriza kukwata Muntu we nga era…
Kubamu akafananyi ng’egenze emanju n’okozesa ekikokooma nga kiriko kamulali.
Kati omusajja gwebateze kamulaali akubye omulanga n’okwetakula ebitaggwa olwa kamulali ono abadde amulagala okufaako obufi
Akimukoze muganzi we agamba nti naye abadde amuyingiza obuzannyo bw’atategeera
Omukazi ono okumanya tasaaga bino byonna abitadde ku katambi era kakalabwa abantua basoba mu bukadde 3.5