Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ttabamiruka wa NRM asombodde abawerako

Ate wowulirira bino nga ttabamiruka w’ekibiina kya NRM agenda mu maaso  nga era abakungu abasoba mu 10,000 bebasuubirwa okumwetabamu. Wabula wabaddewo okwemulugunya okuva eri bannamawulire nga abamu bbanaabwe amanya gaaabwe bwegajiddwa ku lukalala lw’abagenda okubeerayo e Namboole. Wabula yye omwogezi w’ekibiina kino Ofwono Opondo agamaba gano matu gambuzi. Mungeri yeemu eby’okwerinda biri ggulugulu nga poliisi n’amagye bayiiriddwa okuviira…

Read More

Ssekikubo alabudde bannayuganda ku bya Ssejusa

Amadda ga munnamagye  Gen. David Ssejusa  kukyagyamu bannayuganda omwasi. Ssejjusa y’akomyewo olunaku olw’eggulo oluvanyuma lw’ebbanga nga adduse mu ggwanga lwakutegeeza nga bwewaliwo olukwe lw’okutta abakukunavu mu magye ku by’omukulembeze w’eggwanga okusikiza mutabaniwe ku bukulembeze bw’eggwanga. Kati omubaka wa Lwemiyaga  Theodore Ssekikubo yemulugunya ku ngeri Ssejusa gyeyakomyewo awatali kukwatibwako  era agamba bannayuganda basaanye okwegendereza .

Read More

Omukozi eyatulugunya omwana asibiddwa emyaka 4

Omukozi w’awaka eyatulugunya omwana wamukamawe asibiddwa emyaka 4. Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Lillian Buchyana amusaliddeko omwaka gumu ku kibonerezo eky’emyaka 5 ekisembayo ku musango guno. Omulamuzi ategezezza nti yadde nga Jolly Tumihirwe 22  yemulugunya ku maama w’omwana naye okumutulugunya, omwana gweyabonyabonya y’ali talina musango kale nga kyeyakola kyaali kikyaamu. Wano w’asabidde ab’ekkomera ly’e Luzira okulondoola ennyo…

Read More

Mbabazi yeegaanyi ekyo’kwekandagga

Amama Mbabazi Agava mukibiina kya NRM galaga ng'olukiiko olukulu olufuga ekibiina kino luyite Central Executive Committee bwelusazeewo nti ssentebe w’ekibiina kino abeere n’obuyinza okulonda ssabawandiisi w’ekibiina kko n’omumyukawe. Amyuka omwogezi wekibiina kino Ofwono Opondo atubuulide nti kino okutuukibwako wabadewo okusika omuguwa, era nga kino kyaviirideko n’eyali ssabaminister, John Patrick Amama Mbabazi, okwamuka olukiiko luno nga ali wamu…

Read More

Gen. David Sejjusa akomyeewo ku butaka

  Gen. David Sejjusa Amangu dala nga Gen David Ssejusa kyagye akomewo kubutaka amakya ga leero , abasengejja ensonga bamutunuulide nga alina ekigendererwa ekyeetaga okunoonyerezaako n’obwegendereza . Eyaliko ssenkagala wa FDC Dr. Besigye yoomu kubasoose okwanirza amadda ga ssejusa , nga ono obubakabwe obubaka obufunze abuyisizza kumukutu gwa Twitter yye omukenunuzi wensonga zebyobufuzi Julius Lebo atubuulide nti kyandiba nga…

Read More

3 bafiiridde mu kabenje

Abantu basatu beebafiiriddewo mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Abagenzi bategerekese nga Robert Kalumba Paul Nkusi n’omuwala atategerekese mannya kyokka nga muyizi ku ttendekero lya Muteesa one royal university. Akabenje kano kagudde ku kyaalo Kyakumpi nga motoka kika kya Subaru namba UAU 932B ebadde eva mu nyendo n’eyambalagana ne FUSO namba UAT…

Read More

Poliisi abategese okulumba ttabamiruka wa NRM

Poliisi egamba nti egudde mu lukwe lw’abantu abagaala okutataaganya ttabamiruka w’ekibiina kya NRM ku bbalaza Ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura agamba nti ebibinja bino bya bavubuka abeeyita balunkupe ababadde bategeka enkiiko ezitali zimu mu kibuga Kaihura agamba nti era waliwo ssente eziweebwa abavubuka nga ziyita ku mobile mane eri abavubuka okwetaba mu kwekalakaasa ku bbalaza. Kayihura wabula…

Read More

Embeera ewa Kisekka eteredde

Abasuubuzi mu katale ka Kisekka bazzeemu okukakkalabya emirimu oluvanyuma lw’okumala olunaku lulamba nga beekalakasa olunaku lwajjo. Olwaleero abasuubuzi baggudde amaduuka era bangi balabiddwaako nga bakola gyaabwe Ne poliisi eyabadde eyiiriddwa mu katale tekyaliiyo. Olunaku lwajjo abasuubuzi bavudde mu mbeera nebeekalakaasa nga bawakanya eky’oksuengulwa mu katale kakulakulanyizibwe nga tebabafumidde wakudda Abasuubuzi betwogeddeko nabo bagamba nti bakkirizza okugira nga bakola kyokka…

Read More

Endagaano ku nyonyi

Abakulembeze 4 okuva mu mawanga omuli Uganda Kenya, Rwanda ne South Sudan abatadde omukono kundagaano, okwongera okutumbula entambula y’enyonyi mu mawanga gano. Bano okutuuka kundagaano eno babadde mu kibuga Nairobi  mu lukungaana lwa Northern Corridor Integration Project. Abakulembeze bano era balagidde ba minister okuva mu mawanga gabwe abakola ku byentabula, okukola ku bumulumulu obukyali obutasuka nga 31…

Read More