Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kkooti eyimirizza KCCA okumenya akatale ka Kisekka

Agava mu kootii , galaga nga abasuubuzi bomu Katale ka Kisekka bali mu kujaganya oluvanyuma lwa kkooti okuyimiriza ekitongole kya KCCA  okubasengula nga okuva mukatale kano akagenda okuddabirzibwa, okutuusa  nga 14 January kkooti bwenaaba emaze okuwulira omusango abasuubuzi gwebaawaba nga bawakanya eky'okubasengula. Ekiragiro kino kiweereddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu  Festo Nsenga . Abasuubuzi abamu  baali baddukira…

Read More

Kadaga anyonyodde ekilwisizzayo ebirowoozo ku ssemateeka

Nga ebula olunaku lumu lwoka nsalesale  w’okuweerayo ebirowoozo bye’nongosereza mu ssemateeka atuuke, yye Sipiika   wa palamenti rebecca Kadaga   anyonyodde ekireesewo okukandalirira, Akiiko akakola ku byamateeka aka Law reform commission kaatekawo olunaku lw’enkya nga nsalesale w’okufunirako ebirowoozo byonna ebinaatekebwa mu ssemateeka omuggya , Nga ayogerako eri banamawulire , Omukyala kadaga agambye ebulwa ly'okufaayo kko n'okulondoola kyekiremeseza ebirowoozo…

Read More

Ssabawolereza Nyombi ajereze bannamateeka

Ssabawolereza wa gavumenti atabukidde abakulira ekibiina ky’abannamateeka  mu ggwanga lwakwagwala kumulemesa mulimu gwe oluvanyuma lw’okumusaba alekulira nga bagamba emirimu gimulemye  wabula kkooti n’egoba okusaba kwabwe. Bannakibiina bano  baawalawala Nyombi okutuusa mu mbuga z’amateeka nga balumiriza nga bwasusse okuwabya gavumenti nga agiwabula ekifuulanenge ku nsonga z’amateeka nga era baamuvumirira ku ky’okuwabula omukulembeze w’eggwanga okuddamu okulonda Benjamin…

Read More

Taata asobezza ku muwalawe

Waliwo omusajja omulala akwatiddwa e Lwengo lwakusobya ku mwana omujja na nyina nga waakayita lumu lwokka nga waliwo omusajja eyakoze kyekimu.   Akwatiddwa mutuuze wokukyalo  Lubanda nga ono aliko akawala ak’emyaka 4 kaamaliddeko ejjakirizi nga  maama w’omwana ono yeyamulonkomye ku poliisi n’akwatibwa.   Okusinziira ku maama w’omwana ono, ssedduvuutu ono y’akozesezza akakakisa nga ali mu nnimiro nakkakana ku kawala…

Read More

Abaserikale ba poliisi kati bazze mu bettingi lwabutasasulwa

Oluvanyuma lw’omwaka mulamba nga tebakomba ku musaala, abaserikale ba poliisi mu bitundu bye Moroto ne Karamoja basazeewo bezanyire zaala okusobola okufuna kyebalya. Abaserikale abasoba mu 70 bemulugunya nga bwebaakoma okukomba ku musaala omwaka oguyise mu mwezi gwa August nga kati babadde beerya nkuta kwekusalawo okugezesa emikisa gyabwe mu bettingi. Ba ofiisa bano abataagadde kwatukirizibwa manya bategezezza nga…

Read More

Omwana asaze mukuluwe Embalu

  Ku Kyaalo Kamonkoli mu disitulikiti ye Budaka waliwo omwana ow’emyaka 4 katono akutuleko obusajja bwamukuluwe bwagezezaako okumutayirira nga agegenya abasala embalu. Omwana ono abadde agezaako okukoppa abagisu nga bwebasala embalu nga era ababiri bano basoose kuzina kadodi oluvanyuma n’akekejula munne kamanya katono amukutuleko era asangiddwa atudde mu kitaba ky’omusaayi . Eyefudde omusazi w’embalu ono ategerekeseko erya  Nfuko…

Read More

UPDF erabudde abasuubulira mu South Sudan

Bannayuganda abasuubulira  mu ggwanga lya South Sudan balabuddwa okwegendereza ennyo nga bakwata oluguudo lwe Nimule olw’obutemu obubaluse ku luguudo luno. Kino kiddiridde emmotoka z’abasuubuzi eziwerako okwokyebwa ssaako n’abalala okukubwa amasasi bamukwata mundu abatanategerekeka. Omwogezi w’amagye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda agamba abasuubuzi bano basaanye okubeera obulindaala ku by’okwerinda byabwe nga bwebongera okwetegereza embeera. Abasuubuzi bano baalumbiddwa ku luguudo…

Read More

Namukadde ayokezza abazzukulu lwabwenzi

Police mu disitulikiti y'ekiboga eriko namukadde ow’emyaka 50 gwekute , nga ono  emulanga gwakukira bazukulube babiri nabakumako omuliro nga abalanga kwenyigira mu bikolwa eby’okwegadanga . Adumira poliisi ye ekiboga Francis Manaana ,atugambye nti akwatidwa ye Anna Nakaweesi ow’emyaka 50,nga ono  nga mutuuze ku kyalo Sogolero mu gombolola y'eBukomero. Agavaayo galaga nga ono bwakanaye  ku bazukulube okuli Mbuubi…

Read More

Margaret Zziwa Spiika wa EALA

Zziwa agobeddwa kubwa sipiika

Margaret Zziwa Spiika wa EALA Ababaka abatuula mu Parliament ya East Africa olunaku olwaleero batudde ,nebasalawo okugya obwesige mu sipiika wa parliament eno Margret Nantongo Zziwa. Bano okutuula kidiridde kooti ya East Africa okubawa olukusa olunaku olweggulo okugenda mumaaso n’olutuula luno, newankubade Nantongo yabade aluwakanya. Mulutuula luno, ababaka beesibye kunsonga yaabunafu bwa ziwa, kko n’okukozesa obubi office . Tukitegedeko…

Read More

Ab’ewa kisekka bagenze mu kkooti-bawakanya akatale kaabwe okumenyebwa

Abasuubuuzi abakolera mu katale ak’ewa Kiseka basazeewo kuddukira mu kooti enkulu , nga baagala eyimirize entakateeka zokubasengula mukatale kano  akagenda okuddabirizibwa , nga tebabalaze waakulaga. Bano nga bakulembedwamu Asadi Bukenya  ne Ali Masembe basazeewo okuwawabira abaddukanya akatale kano, nga bagamba nti banyoomode obwesigwa bwebabateekamu, bwebaazeewo okubasindiikiriza obutasukka nga 31st December, olwemirimo gyokuddabiriza akatale egigebnda okutandika . Bano…

Read More