Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Aba Taxi beedimye

Waliwo ekiwayi ky'aba taxi mu keediimo akali e Kayabwe abavudde mu mbeera nebasalawo okusuula emisanvu mu bubuga obw'enjawulo ku luguudo lw'e Masaka nga bano bagenda bayiwa abasaabaze abatikkiddwa mu motoka ezewaggudde eza paaka  y'e Kayabwe nezisalawo okukola. Waliwo n'emotoka ekubiddwa n'eyiibwa endabirwamu ku siteegi  y'omu Kibukuta ng'eno ebadde etikka ng'egenda Kampala. Mu bitundu abayiwa abasaabaze mwebalabiddwako, kuliko…

Read More

Abagambibwa okubeera abatujju bazze mu kkomera

Abantu 10 abaakwatibwa omwaka oguwedde ku misango gy’obutujju bongeddwayo ku alimanda e Luzira oluvanyuma lwamunnamateeka w’oludda oluwaabi Edward Muhummuza okusaba kkooti akadde akalala okwongera okunonyereza ku nsonga eno. Bano babadde maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road  Sanyu Mukasa era omusango n’agwongerayo okutuusa nga 19th January omwaka guno. 9 ku bano banansi b’eggwanga lya Somalia nga kuliko…

Read More

Kabaka avumiridde okutta Abasiramu

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi avumiridde ebikolwa eby'okutta abasiramu ebikyasse enyo ensangi zino. Mububaka bwe obw’omwaka, Omutanda asabye ebitongole ebikuuma dembe okwongera okukola okunonyereza ku kiki ekiviraako abasiramu okutingana, kubanga ebikolwa bino biteeka ebyokwerinda by’eggwanga mu mattigga. Obubaka bw’omutanda buze ng’abakulembeze b'abayisiramu babiri okuli Sheikh Abdu Kadri Muwaya, ne Sheikh Mustafah Bahiga bakubiddwa amasasi abantu…

Read More

Omulalu asse Namukadde

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kiguma  mu Gombolola ye Apuyo mu district ye Kyegegwa omulalu  ategerekese nga Patrick Magezi atemera mu gy'obukulu 20 gwebabadde basabira bwavudde mu mbeera n'atematema Namukadde  Consolota Nakibuuka omutwe, okutuusa lwamusse. Magezi kati atwaliddwa mu ddwaliro lye Kyegegwa okwongera okwekebejjebwa.

Read More

Omuzigiti gugaddwa.

    Poliisi amakya ga leero ezinzeko omuzikiti gwa  masjid Noor ogusangibwa ku luguudo lwa William Street ,oluvanyuma lw’ekibinja ky’abasiramu okugulumba amakya ga leero. Kigambibwa nti waliwo ekibinja ky’abasiramu ekikedde okuvva e kibuli nekyegalira mumuzigiti guno ,ekiwaliriza ababadde bagenze okusaala, okwagala okulwaana, era polisi nebiyibgiramu. Bino bijjidde mu kiseera nga abakulembeze ba Basiramu bongera okwesongamu enwe kunfa yabanaabwe. Abakulembeze  b’abasiramu…

Read More

Omubbi w’emwanyi alula

  Poliisi mu disitulikiti ye Lwengo eriko omusajja ow’emyaka 28 gwewonyezza okugajambulwa abatuuze oluvanyuma lw’okukwatibwa lubona nga abba emmwanyi okuva mu musiri gw’omu ku batuuze. Kuraish Ssegawa y’awonye amagombe bwakwatiddwa nga anoga emmwanyi okuva mu musiri gwa  Anthony Luwaga. Abatuuze olumuguddeko ekiyiifuyifu n’alajana nga bwabadde anoonya ssente z’okugulira omukyaala enyama ya ssekukulu era n’asaba okusonyiyibwa. Omwogezi wa poliisi mu…

Read More

Akabenje katuze 1 e Nakasongola

E Kyampisi Omuntu 1 afiiridde mu kabenje 7 nebabuuka n’ebisago ebyamaanyi oluvanyuma lwa baasi eya kampuni ya  HMK coaches ebadde eva e Kampala nga edda Gulu okutomera kabangali mu diditulikiti ye Nakasongola. Poliisi esobodde okuddusa abalumiziddwa mu ddwaliro e Nakasongola ne Mulago. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Lameck Kigozi agamba batandise omuyiggo gw’abagoba ba baasi ne…

Read More

Abasibe bagabuddwa Kulisimansi

Abasibe mu kkomera e Luzira kulisimansi y’omwaka guno baakugirya nga balina akaseko ku matama. Ente n’embuzi  ezisoba mu 200  byebisaliddwa  olunaku olwaleero nga era enyama eno yakugabibwa mu makomera gonna  okwetolola eggwanga. Omwogezi w’ekitongole ky’ebyamakomera Frank Baine ategezezza nga enyama eno bwegenda okugabanyizibwa mu basibe bano okulaba nga nabo kulisimansi bakyuusa ku by’okulya nga abantu abalala. Baine ategezezza…

Read More

Musisi aweze ebivvulu bya kulisimansi ebyamatumbi budde

Nga abasinga ku bannayuganda ensimbi baasibye ku luwuzi okukyakala olinaku olw’enkya ku kulisimansi, abatwala ekibuga aba KCCA balabudde abategesi b’ebivvulu obutageza kuyisa mu ssaawa ez’ekiro ezaabagerekeddwa. Amateeka agaliwo teri kivvulu kirina kusukka ssaawa 6 ez’ekiro Akulira ekibuga Jeniffer Musisi agamba okujjako amasinzizo agakkiriziddwa   okusaba okusussa mu ssaawa ezo teri wa kivvulu agenda kukkirizibwa kusussa ssaawa mukaaga. Musisi alabudde…

Read More