Nga ebula ssaawa okutuuka ku kulisimansi, embeera ya kayisanyo mu kibuga wakati.
Amakubo agoolekera paaka empya n’enkadde gonna gakwatiridde namunji w’omuntu wakati mu kusitula emigugu n’okukwata abaana abato ku mikono nga boolekera emmotoka ezibatwala mu byalo.
Mu Katale ka Owino abantu abawerako balabiddwako nga bagula emmere okuli amatooke n’enyama nga era kanyigo kenyini mu katale kano.
Enkota y’amatooke…
Abasomesa bawadde minisitule y’ebyenjigiriza okutuusa nga 30 January nga ebawadde obuwumbi bwabwe 25 eza Sacco oba ssi kyo bateeke wansi ebikola.
Mu 2012 Pulezidenti Museveni y’awa Sacco y’abasomesa bano obuwumbi 25 nga baali baakuzisasula mu myaka 5 wabula nga kati wakyaliwo okusika omugwa ku ani alina okukwata ensimbi zino wakati w’abasomesa ne minisitule.
Kati ssabwandiisi w’ekibiina ekigatta…
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye okwetaba mu nteekateeka za munnamagye Gen Ssejusa okutuusa nga abanyonyodde engeri gavumenti gyeyamukkirizzamu okudda mu ggwanga nga ate y’ali yamwewerela okumukwata.
Ssejusa y’abadde ayise abavuganya gavumenti bamwegatteko nga adda mu maka ge e Naguru sembabule gy’abadde.
Nga bakulembeddwamu ssenkagale w’ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa, bano bagamba amadda ga Ssejusa gakyaliko akabuuza kale nga…
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago alabudde gavumenti obutageza kwebulankanya ku ky’okumuzza mu ofiisi mu mwezi 2 omwaka ogujja nga bweyasuubizza.
Gavumenti nga eyita mu ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda olwokutaano oluwedde yeyama okuzza Lukwago mu ofiisi okumalawo okusika omugwa mu kibuga Kampala.
Lukwago agamba gavumenti esaanye okwewala okusiba bannakampala bbule nga bweyakola mu December w’omwaka oguwedde…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye abavubuka okusitukiramu balwanyise ebbula ly’emirimu nga baboola abo bonna abalemesa amakolero okutandikibwa wano mu ggwanga.
Museveni agamba abasimbira ekkuuli amakolero gano bebabalemesezza okufuna emirimu kale nga basaana okubeera abegendereza n’abantu ab’engeri eno.
Bino pulezidenti y’abyogedde ateeka omukono ku ndagaano ne kampuni y’abakyayina eya Guangzhou Dongsong Energy nga bano bagenda okuyamba okuyikuula eky’obugagga…
Abatuuze ku kyalo Golo mu disitulikiti y’e Mpigi baguddemu ekyekango bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga yetuze.
N’okutuusa kati ebikwaka ku musajja ono tebinamanyika, kubanga abatuuze bagamba nti tebamumanyi mu kitundu kino.
Addumira poliisi mu Maserengeta g’eggwanga Joseph Ayiki ategezezza ng’omusajja ono bw’atalina kimwogerako era nga poliisi ekyanonyereza ekimuvirddeko okwettuga.
Omulambo gw’omusajja ono gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Omubaka okuva mu ggwanga lya Uganda era nga muna kibiina kya NRM Daniel Kidega alondeddwa ku bwa Sipiika wa palamenti ya East Africa.
Ono asikidde Margret Nantongo Zziwa eyagobeddwa akawungeezi k’eggulo,oluvanyuma lw’ababaka 36 okuwagira ekiteeso eky’okumugyamu obwesige.
Kidega awangudde ekifo kino ngatavuganyiziddwa oluvanyuma lw’ababaka 3 okuva mu uganda okuli Mike Sebalu,Chris Opoka ne Suzan Nakawuki,ababadde bagezaako okumuvuganya…
Olukiiko lw’eggwanga lukulu lukiriza gavumenti okwewola ensimbi obukadde bwa doola 175 okuva mu banka y’ensi yonna okwongera okutumbula ebyentabula mu kibuga Kampala.
Ekiteeso eky’okwewola ensmbi zino kyasoose kulema kuyita, oluvanyuma lw’omuwendo gw’ababaka okuba omutono, ekyawaliriza amyuka sipiika Jacob Oulanya, okuwumuza okukubaganya ebiroowa emirundi 2.
Ssabaminisa w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda ategezezza palamenti nga gavumenti bwetandise okuteseganya n’abakulembeze abali ku ludda oluvuganya gavumenti ku nsonga za loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago.
Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago amaze ebbanga lya mwaka mulamba nga tali mu offiisi, oluvanyuma lwa bakansala ba KCCA okumujamu obwesige.
Lukwago azze awaaba emisango egyenjawulo, era ng’ogusebweyo guli mu kkooti…
Kkooti enkulu e Masaka eriko taata kagwensonyi ow’emyaka 54 gw’esibye amayisa lwakuzaala mu muwalawe.
Omulamuzi Margret Oumo Oguli y’asingisizza Geoffrey Rwishasha omusango guno olw’okwefuula namunswa n’aleeta amawano.
Rwishasha nga taata w’abaana 6 yakakana ku muwalawe ow’emyaka 14 n’amusobyako ate n’amutikka n’olubuto nga omusango guno yaguzza mu 2011 era abadde ku alimanda okuva olwo.
Rwishasha omusango guno y’agukkirizza wabula…