Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kalusu awedde e Mbale abaayo nebesunga enyama ya kulisimansi

Abantu mu disitulikiti ye Mbale bafunye akaseko ku matama oluvanyuma lw’envumbo ku kutambuza enyama y’ente n’embuzi okugibwawo. Bano babadde bamaze emyezi 6 nga teri kukomba ku nyama lwakirwadde kya Kalusu nga era envumbo eno yali etwaliddemu disitulikiti 25. Akulira eby’ebisolo mu disitulikiti eno Dr. George Were ategezezza nga bwebazze bafuyira ente n’embuzi mu bitundu bino nebakizuula nti kati…

Read More

URA egadde amaduuka agatasasula Musolo

Ekitongole ekiwooza ky’omusolo kkoze ekikwekweto tokka owenja mwekigalidde amaduuka agamu lwabutasasula musolo. Ekibinja ky’abakoze ekikwekweto kino kikuliddwamu omukungaanya w’amabanja mu kitongole kino  Abdul Salam Waiswa nga basookedde ku kizimbe kya Mukwano gyebagwiridde ku kampuni y’abakyayina gyebabanja obuwumbi obusoba mu 2. Waiswa  agamba ebbanja lino  lyetuumye mu myaka 3.

Read More

Bannayuganda 2 bakubiddwa amasasi kumpi n’ensalo ya South Sudan

Waliwo bannayuganda 2 abali mu mbeera embi oluvanyuma lw’okulumbibwa bamukwata mundu ku luguudo oluva e Mori okudda Adru kumpi n’ekibuga ky’e Nimule mu ggwanga lya South Sudan. Emmotoka 5 zalumbiddwa nga era bano baabadde bava kutwala mmere ku ofiisi z’ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku by’emmere. Omu ku badereeva  Ronald Tamale y’akubiddwa essasi mu kisambi nga era…

Read More

Abavubi b’ekalangala balumbiddwa ensekere

Agavva e kalangala kubizinga bye Banga galaga nga ensekere bwezirumbye ekizinga kyonna , wabula nga ekyenyamiza kwekuba nti zituuse ne mubitundu by’ekyaama by’abantu. Abatuuze bagamba nti bajudde ebiwundu mubuli katundu okuviira dala kumutwe mu nkwawa okutuuka  ebuziba, wabula nga ensibuko yakino tenamanyika Annet Nabukeera, nga ono alIna akalwaliro kaddukanya e  kukizinga kino , ategezezza  nti zino ensekere…

Read More

Abavubuka ba ssanduuke bawonye ekkomera

Ate okuvaako mu kooti abavubuka abakaalakaala ne ssanduuke babuukira mabega nga jjanzi ,oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti ya City hall okugoba omusango  ogubade gubavunaibwa gw’okukuba enkungaana ezimenya amateeka ogubadde gubavunanibwa. kinajukirwa nti Bano baabagalira e ssanduuke y’abafu nebagitwala ku kibumbe ky’amefuga mu kwekalakaasa olw’ebbula ly’emirimu mu ggwanga. Omulamuzi ategezezza nga oludda oluwaabi bwelulemereddwa okuleeta obujulizi obulumika abantu bano…

Read More

Kanisa erabudde abaweereza abaana mu bazungu

Kanisa ya Uganda evumiridde ekikolwa kyabazadde eky’okugaba nga abaana baawe eri abazungu babalabirire ,  nga kino mukaseera kano kibafudde baddu benyini  . Bwabadde awa obubaka bwa mazaalibwa, ssabasumba we kanisa ya Uganda  His grace Stanley Ntagali agambye nti ensangi zino abazadde beesabye abaana baabwe nebasalawo okubawerekereza e bunaayira , ky’agambye nti kuba kwebalama buvunayizibwa bwaabwe. Mungeri yeemu…

Read More

ssentebe Mapenduzi ye ssentebe esinze omwaka guno

Alipoota erambika enkola ya gavumenti  ez’ebitundu eyabuli mwaka giyite local government score card efulumzidwa , nga eraze nga gavumenti  zino bwezikolera ddala obulungi, naddala mu kukwatagana n’abantu babulijjo Alipoota eno eyakoledwa ekitongole ekya ACODE eraze nga ssentebe  wa disitulikiti ye Gulu Martin Ojara Mapenduzi bwakize banne mu kukola obulungi, sso nga ye ssentebe wa disitulikiti ye…

Read More

Abbye bodaboda bamwokezza

E Lwengo waliwo omubbi wa pikipiki akubiddwa emizibu n’omulambo gwe negukumwako omuliro. Bino bibadde wali ku kitoogo kye Dongwa  nga yye omulala yemuludde n’adduka oluvanyuma lw’okugezaako okutta omuvuzi wa Bodaboda Joseph Kiwanuka  bamubbeko pikipikiye UEB 168N. Ababiri bano baatukiridde  Kiwanuka akolera ku siteegi ye  Ddegeya nebamusaba abatwaleko wabula olwatuuse mu kitoogo nebamwefulira n’alaya enduulu eyasombodde ababodaboda abalala…

Read More

omusumba ali mu kattu ku by’okusobya ku atanetuuka

  E Masaka waliwo omupaatiri alumirizibwa okusobya ku muwala atanetuuka n’amufunyisa  olubuto ate n’alwegaana. Omuwala ono ow’okukyaalo  Kasaali  yawaabye dda eri omubaka wa pulezidenti e Masaka nga alumiriza omupatiri ono okumuttikka eramugema eby’okusoma n’abivaako ate n’amala n’amwegaana. Omukyaala ono kati omukulu agamba omupaatiri ono ekyewunyisa y’agaana okulabirira mutabaniwe kati ow’emyaka 13 nga ete yamukaka akaboozi. Kati omubaka wa pulezidenti …

Read More

Ababbi 2 batiddwa e Kololo

Poliisi  eriko abasajja 2 besse wano e kololo, nga bano babadde bagezaako okunyaga ensimbi okuva kubabadde bazitambuza Abatidwa kuliko Zubair Tweheyo n’omulala atanamanyika manyage , sso nga   yye zubair Ali  nga ono yabade abalagirira amakubo akwatidwa . Bano okutibwa babade bagezaako okunyaga ensimbi okuva ku motoka number UAR 299 x ebadde atambuza ensimbi eza kampuni ya Top…

Read More