Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku mivuyo mu kuzimba oluguudo lw’egaali y’omuka, katadde ssabawolereza wa government Peter Nyombi kuninga anyonyole kubigambibwa nti yalagajalira omulimu gwe mu kugaba contract eyokuzimba oluguudo luno.
Akakiiko kano kalumiriza Nyombi okulemererwa okuwabula government ngatenakiriziganya ne company yaba China, okutandika okukola oluguudo luno.
Ssentebe w’akakiiko kano Kafeero Ssekitoleko agambye nti Nyombi okulemererwa okukola omurimu…
Emirimu gyisanyaladde mu katale kewa Kiseka oluvanyuma lw’abasubuzi okwekalakasa ngabawakanya ekyokumenya akatale kabwe.
Abasubuzi bewa Kiseka bamaze ebanga nga balwanagana , wakati wabo abawakanya ekyokumenya akatale kano nabo abakiwagira.
Kati poliisi ya military eyiriddwa mu katale kano okusobola okuza embeera munteeko.
Pulezidenti Museveni agamba nti wakulekera awo okukolagana ne kkooti y’ensi yonna.
Ng’ayogerera ku mikolo gy’amefuga ga Kenya, pulezidenti Museveni yeebuzizza lwaki kkooti eno yagenda mu maaso n’okuwozesa abakulembeze mu Kenya ng’ate kkooti ya Africa yali nayo esazeewo okubawozesa
Ebigambo bya pulezidenti Museveni bizze ng’akulira eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta yakamala okujjibwaako emisango egyekuusa ku kitta bantu egyaali…
Poliisi kyaddaaki ezudde ebisingawo ku bazigu omunaana abaalumbye supamaketi e Busega.
Abataano ku bano baakubiddwa amasasi agaabatiddewo ate abasatu nebakwatibwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi, Polly Namaye agamba nti abattiddwa kuliko David Kaweesa, Kamoga ssali, ne Christopher Ssenkungu nga bonna babeera ku kitawuluza e Makindye.
Namaye agamba nti bbo abasatu abakwatiddwa bali ku poliisi e Nateete ng’okunonyereza bwekugenda mu…
Abali mu byobulamu basabye gavumenti okussaawo yinsuwa eri abantu ba bulijjo okusobola okutereeza ebyobulamu.
Addukanya eddwaliro lya Bishop Caesar Asili erisangibwa e Luweero Ernestine Akulu agamba nti kijja kusobozesa abantu bonna okufuna obujjanjabi obwetaagisa
Ono agamba nti abantu abaweza ebitundu 80 ku kikumi tebalina bakozesa kubateerawo yinsuwa kale nga kibakaluubirira okufuna obujjanjabi nga balwadde.
Ebbago ly’etteeka ku yinsuwa…
Okwerabirarabira kabonero akalaga nti omuntu yandisanyalala mu biseera by’omu maaso.
Okunonyereza okuzudde bino kukoleddwa mu ggwanga lya Netherlands.
Abanonyereza bano bagamba nti ate gujabagira ssinga omuntu alina obuzibu bw’okwerabira aba asoma mu ttendekero lya waggulu.
Abasoma bano balina emikisa egiweza ebitundu 39 ku kikumi okusanyalala ate okusinga ku banaabwe abatasoma.
Okutuuka ku bino abanonyereza bakenenyezza abantu okumala emyaka 20.
Tewakyaali kiyinza kulemese ttabamiruka wa kibiina kya NRM kugenda mu maaso.
kino kiddiridde ababaka ba palamenti 2 abaabadde baagala kkooti emuyimirize okubigyamu enta.
Ababaka Brenda Nabukenya ne Joseph Sewungu nga bayita mu mannamateeka waabwe Jude Mbabaali bategezezza kkooti nga bwebabivuddemu kubanga kkooti yayongezaayo okuwulira okwemulugunya kwabwe okutuusa wiiki ejja nga ate olukungaana luno lujja kuba lutandise kale…
Omukozi eyatulugunya omwana wa mukamawe yewozezzaako nga bweyatulugunyizibwa maama w’omwana ono nga tanaliisa mwanawe kakanja .
Nga tannakiriza misango mipya egy’okulumya omuntu n’amutuusako obuvune, Jolly Tumuhirwe awunikirizza kkooti nga omukyaala w’awaka Mbabazi Kamanzi bweyamutuntuzanga nga tanagenda ku mulimu.
Tumuhirwe ategezezza nga nga Mbabazi olumu bweyegayirira omukyaala ono okumuwa ssente z’entambula adde ewa mugandawe wabula neyerema.
Mungeri yeemu Taata…
Poliisi ekutte abantu babiri ababadde bakuba doola za Amerika ez’ebicupuli
Ababiri bano bajjiddwa ku kyaalo Mbalwa e Namugongo.
Kuliko omukyala omumerika ne munnayuganda kyokka nga tebaatuddwa mannya.
Bano bakwatiddwa mu kikwekwero ekikulembeddwa bambega ba Amerika nga bali wamu ne poliisi ya Uganda ekulembeddwamu Peter Nkulega
Ab’eby’okwerinda era baliko ebyuuma byebazudde nga bino byebikozesebwa mu kukuba doola z’ebicupuli.
Empaka z’omupiira wakati wa bannamaggye mu Uganda zongeddwaamu amaanyi aba Wazalendo bwebabawadde emipiira n’emijoozi
Ng’awaayo ebintu bino, akola ku byemizannyo mu maggye Brig Phinehas Katirima agambye nti kino bakikoze okuddiza bamemba
Tiimu 16 zeezigenda okwambalagana mu mpaka ezitandika nga 13 omwezi guno e Kakyeeka, Mbarara.