Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Essundiro ly’amafuta erya Fuelex liggaddwa

Ekitongole ekiwooza kigadde essundiro ly’amafuta erya  Fuelex wali e Nalukolongo nga ekiriiro ky’emmere ne supamaketi ebibaddeko tebabitalizza. Akulira okungaanya amabanja mu kitongole kino  Abdul Salam Waiswa agamba bano babajibwa omusolo gwa bukadde 70 wabula nga bazze bakyuusakyusa obukulembeze bw’essundiro lino okwebalama omusolo. Essundiro lino lyerimu lyaagalwako ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebintu lw’amafuta agatatukagana na mutindo. Mu bikwekweto byebaliko…

Read More

Seya ayabulidde pulezidenti Museveni

Eyali meeya w’ekibuga kampala Alhajji Ntege Sebaggala alekulidde omulimu e eky’okuwabula pulezidenti Museveni. Ssebaggala yalondebwa okuwabula pulezidenti Museveni oluvanyuma lw’obutakakasibwa nga minisita olw’empappula z’obuyigirize. Ng’ayogerako eri bannamawulire, Sebaggala agambye nti mu bbanga ly’amaze ng’awabula pulezidenti Museveni tewali kikyuuse kale nga talaba lwaki asigala ku kifo kino. Ono era yetondedde abavuganya olw’okuwaba.  

Read More

Eyayokebwa aci ayongera kuba bubi

Abantu basatu abagambibwa okuyiira omusuubuzi w’omu kampala acid ku luguudo lwa Northern Bypass baddiziddwaayo ku meere e Luzira. Irene Namanda yayiirwa acid bweyali ne bba nga bava okutuuma bebi waabwe erinnya era nga kino kyabaawo ng’omwaka oguwedde guggwaako Abasatu bano kuliko ne bba w’omusuubuzi ono Kassim Kakaire gwebalumiriza okwagaala okutta mukyala we olwo yezze emmaali ye Bano balabiseeko…

Read More

Abasomesa bakaaye ku kubakyuusa

Abasomesa wansi w’omukago gwaabwe ogwa UNATU batabukidde minisitule y’ebyenjigiriza olwokukyusakyusa abasomesa. Kiddiridde minisitule eno okukyusakyuusa abasomesa okuva mu lusoma olujja ngamasomeroa gaasinze okukosebwa kwekuli Makerere College ne Kings College Buddo. Ssabawandiisi w’abasomesa James Tweheyo agamba nti kino kikosa amasomero era nga gavumenti yandibadd ekyewala. Wabula akola nga kamisona akola ku masomero ga seniya, Benson Kule agamba nti okukyuusa…

Read More

omuyindi taliiko babe

Ab’eddwaliro ekkulu e Mulago batubidde n’omusajja enzaalwa ye buyindi ali mu mbeera embi mu ddwaliro e Mulago Omusajja ono atalina kimwogerako yatwalibwa e Mulago ng’akubiddwa abantu abatategerekeka kyokka nga kati ssabbiiti nnamba nga teri Muntu we yalabiseeko Omu ku basawo abamukolako, Dr. Charles Sendikaddiwa agamba nti omusajja ono yakoseddwa ku bwongo era ng’alina n’obulwadde bwa Pneumonia.

Read More

Omukazi nakampaata kimuweddeko

Omukyala nakampaata akonkonye ng’eyali bba tamuggulira asazeewo kuyita mu mudumu ogussibwa ku kiyungu okufulumya omukka. Omukyala okuva mu California wabula tebimugendedde bulungi bw’alaalidde mu mudumu gumu. Abaziinya mooto bayitiddwa bukubirire oluvanyuma lw’okuwulira enduulu okuva mu kidumu. Omukyala ono ow’enzaalo essatu avuddeyo nga yenna atuyaanye nga n’ebisago ku mubiri gwe nfofoolo. Tekinnamanyika lwaki abadde azze ew’eyali bba.

Read More

Kokoolo oluusi kisiraani

Bannasayansi bagamba nti omuntu okukwatibwa kokoolo kiba kisiraani. Ekibinja kya bano okuva mu America kigamba okunonyereza kwekikoze kulaga nti waliwo abantu bangi abalina kokoolo naye nga baakola buli kimu okumwewala omuli n’obutakomba ku ka sigala Bano bakizudde nti kumpi ebitundu 2 ku bisatu ebya kokoolo asinga okuluma abantu, tava ku kumala galya oba kugayaala wabula kijja buzzi…

Read More

Okwebaka kukira endya ennungi

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti omuntu okwebaka obulungi era ekimala kisingako endya ennungi mu kukuuma omuntu nga mulamu. Okunonyereza kuno kukoleddwa mu mawanga 23 ng’abantu ababeerayo abasinga bettanira okwebaka obulungi okusobola okukuuma emibiri gyaabwe nga miramu. Kyokka era kyeyolese nti bwegutuuka ku kwebaka, abakyala bamanyi omugaso gw’otulo okusinga abasajja Ng’ogyeeko okwebaka, abantu bakimanyi nti okulya obulungi kikulu era nga…

Read More

Emirambo mu kitoogo

E  Busega abatuuze bagudemu ekyobeera, bwebasabasanze omulambo  gw’omwana wa mutuuze munaabwe nga gusuulidwa  mu kitoogo kye Lubigi. Ono  amanyidwa nga Kiseka, kigambibwa nti abade atutte ebanga  lya naku biri nga abuze, wabula mutundu lya leero asangidwa nga afiiride mukitoogo Mungeri yeemu poliisi eriko omulambo gw’omusajja ow’emyaka 24 gwenyuludde okuva mu kitoogo kye Busega. Kigambibwa nti  William Nsubuga nga…

Read More

Omusajja akutte omwana

Poliisi ye  Lukaya mu disitulikiti ye  Kalungu eriko landiloodi  ow’emyaka 50 gwekutte nga emuvunaana kusobya ku kawala komupangisa we ak’emyaka 12. Alex Jemba y’aleppuka n’ogw’obwasseduvuutu nga era maama w’omwana ono agamba landiloodi ono yageze taliiwo n’amalira ejjakirizi ku kawala ke. Maama agamba abaana bwebaabadde bazannya ne muwalawe baamutegezezza nga Jemba bweyayise akawala kano mu nyumba ye n’akasobyako…

Read More