Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Aba Paaka Yaadi babatabukidde

Abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi basabiddwa okukaamuka mu bwangu. Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba nti abasuubuzi bano tebasaanye kuyigulwa Muntu yenna kubanga tebajja kukkiriza katale kano kukola Bino bizze nga n’abasuubuzi bawera nti tebalina gyebalaga nga bagamba nti tebasobola kusasula mitwaalo 25 ne 30 agabajjibwaako mu kizimbe kya Ham towers nga bbo bamanyiira mutwalo. Bano era bagamba…

Read More

Akabenje kasse omu e Mawokota

Omuntu omu afiiriddewo emmotoka bw’eyabise omupiira n’etomera omupiira n’etomera omusajja abadde asala ekkubo. Emmotoka namba UAL 090W double cabin yeeyabise omupiira  n’etomera omusajja ategerekese nga Caesar Kawuma abadde avuga pikipiki. Atwala poliisi mu bukiikaddyo bwe mawokota Beedah Katulebe  akakasizza akabenje kano, n’agamba nti kavudde kuvugisa kimama. Mukaseera kano omulambo gutwaliddwa mu dwaliro e gombe, ssonga n’abadde avuga emotoka…

Read More

Asudde omwana mu kabuyonjo

Poliisi e Lugazi ekutte omukazi wa myaka 35 lwakuzaala mwana n’amusuula mu kabuyonjo Aisha Nakyazze  nga mutuuze ku kyaalo Kikoma e Lugazi agambye nti abadde tasobola kulabirira mwana ate nga bba yamwegaana ng’agamba nti yye tazaala. Nakyazze okukwatibwa kiddiridde abatuuze okumulaba nga takyali lubuto ate nga n’omwana talabikako. Ssentebe w’ekyaalo John Musoke agambye nti omukyala ono yazadde bulungi…

Read More

Omujoozi gubizadde

Abantu bangi beeyambaza emijoozi egiriko ebigambo ebisoomooza ate ebirala nga bisesa Kati yye ayambadde akajoozi okuli ekigambo nti “nnina Enjaga” akaabye agajulujulu, poliisi bw’emuzinzeeko. Naye nno ebigambo bino oluusi byandiba ebituufu kubanga era omusajja ono asangiddwa n’enjaga.

Read More

Enjala mu chips

Abantu bangi bekebejja byebalya era banyiga okugwa ku byebatategeera. Kati nno omuwala agenze mu restaurant okugula chips ne chicken bimuweddeko bw’asanzeemu enjala empanvu mukaaga Mollie Howe enjala zino azirabidde waka gy’abadde atutte emmere okuliira Nyina w’omuwala ono enzaalwa ye America agamba nti ekisinze okumunyiiza kwekuba nga babadde tebakuasobola kuzzaayo bya kulya bino.

Read More

Abasoma obusawo bakyediimye

Abasoma obusawo e Mulago olwaleero bagenze mu maaso n’okwediima kwaabwe era nga bagamba nti teri kudda ku mirimu okutuuka nga basasuddwa. Abasawo bano batadde wansi ebikola olunaku lwajjo nga nabe ava ku butasasulwa okumala emyezi 3 Abasawo bano abayiga abasoba mu 150 bagamba nti basanze obuzibu okweyimirizaawe kubanga tebalina kkubo ddala mwebajja nsimbi. Yyo minisitule y’ebyobulamu egamba nti…

Read More

Okugezesa eddagala lya Ebola kutandise

Okugezesa eddagala erinayamba okujjanjaba obulwadde bwa Ebola kutandise mu ggwanga lya Liberia. Eddagala lino erimanyiddwa nga Brincidofovir  ligezesebwa ku balwadde ba Ebola abeewaddeyo bokka Bbo abatakkiririza mu ddagala lino tewali akakakiddwa nga baweebwa ddagala lya bulijjo okubakkakkanya. Bannasayansi okuva mu yunivasite ye Oxford abaakulemberamu okunonyereza ku ddagala lino bagamba nti byebanajja mu kugesa ebisooka byakufulumizibwa mu myezi mitono Okugezesa…

Read More

Eddagala ly’embwa libuze Karamoja

Abantu mu bitundu bye Karamoja basattira lwabbula lya ddagala lyabulwadde obuva ku kulumibwa embwa. Embwa nyingi ziri mu ggobe mu bitundu bino nga era banji balumiddwa wabula olutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Moroto bavaayo tebafunye bujanjabi olw’ebbula ly’eddagala ly’obulwadde bwa rabies. Omu ku basawo mu ddwaliro lino atayagadde kwatukirizibwa manya ategezezza nga abantu abasoba mu 30 bwebaaletebwa…

Read More

Poliisi ekutte abalala ku kufa kw’abasiraamu

Poliisi eyongedde okukwata abantu ku byekuusa ku kuttibwa kwa bakulembeze b’abayisiramu wano mu ggwanga. Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga polly  Namaye yadde teyaayatukirizza linya lwa Muntu yenna, y’ategezezza nga bwebaliko bebaakutte ku by’okugezaako okutta  Sheik Haruna Jjemba wiiki ewedde n’okutibwa kwa sheik Mustapha Bahiga nga era bano essaawa yonna baakutwalibwa mu mbuga z’amateeka bavunanibwe. Mungeri yeemu…

Read More

Kapa ebizadde

E sembabule omusajja atanzizza muliraanwa we 200,000 lwakulagajalira kappa ye n’efa. Paul Mugula omutuuze ku kyalo Matete y’atanzizza Everest  Mukasa ensimbi zino oluvanyuma lw’okumusaba okumuyambako ne kappa ye emuliire emmese ezaabadde zisusse mu nyumba ye wabula n’atajirabirira bulunji n’efa. Mukasa olusanze kappa eno nga efiiridde ku lubalaza, ajitutte ewa nanyini yyo akubye omulanga n’amulagira agisasule mangu nga…

Read More