Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okukusa abantu- bangi babalimba

Abantu 125 beebakukusibwa wano munda mu ggwanga,sso nga 170 baatwalibwa ebusukka nsalo mu mawanga amalala. Bino bifulumidde mu alipoota ekwata ku kukukusa abantu ey’omwaka oguwedde eraze nga abakukusibwa bwebaakendeera okuva ku 700 bwebaali mu 2013 nebadda ku 293 omwaka oguwedde. Alipoota eno era elaze nga 105 bwebaasobola okutaasibwa 3 bakyalondoolwa sso nga 13 baasaddakibwa nga bbo 94…

Read More

Lumumba Kasule akakasiddwa okusikira Mbabazi

Olukiiko lwokuntikko olw’ekibiina kya NRM lukakasizza abakulembeze baalwo 4 abaalondebwa gyebuvuddeko. Ku mukutu gw’ekibiina kino ogwa twitter,Kasule Lumumba akakasiddwa ku bwa ssabawandiisi, Richard Todwong nga omumyukawe, Rose Namayanja nga omuwanika sso nga waakumyukibwa Dr. Kenneth Omona . Abana bano baalondebwa omukulembeze w’eggwanga   nga ye ssentebe w’ekibiina kino omwezi oguwedde oluvanyuma lw’ekibiina okukyuusa ssemateeka afuga ekibiina kino nga…

Read More

Ebya NRM bijulidde

Okukakasa olukiiko olufuzi olw’ekibiina kya NRM olujja kwongezeddwawo okutuusa ssaawa 7 ez’emisana. Abana bano baalondebwa mu December w’omwaka oguwedde nga kuliko  Kasule Lumumba nga ssabawandiisi, Richard Todwong omumyukawe, Rose Namayanja nga omuwanika sso nga yye  Dr. Kenneth Omona ye mumyukawe. Bano baalondebwa oluvanyuma lwa ssemateeka w’ekibiina kino okukyuusibwa nga kati ssentebe w’ekibiina y’alonda abana bano. Mungeri yeemu  kkooti…

Read More

Abayisiraamu mwewale entalo

Abayisiraamu baweereddwa amagezi okwewala entalo ezitalina makulu begatte bazuule abatta abakulembeze baabwe. Kino kuddiridde enkaayana wakati w’ekiwayi ky’e kibuli n’abomuzikiti gwa William street okuyunga ettemu lino ku nkaayana z’ebintu by’obusiraamu. Okusinziira ku ssentebe w’ekibiina ekigatta abavubuka abayisiraamu Prof Abas Kiyimba, enjawukana zino zaakuwa abatemu ekyaanya okugenda mu maaso n’okutemula bamaseeka abalala kubanga mpaawo abataddeko liiso jjogi. Agamba mu…

Read More

Ebye Mukono-Katosi bigenze mu kkooti

Akakiiko akassibwaawo okunonyereza ku mivuyo mu kuzimba oluguudo lwa Mukono Katosi  kakonkomadde nga kalinda minister omubeezi akola ku byenguudo kyokka n’atalabikako Stephen Chebrot yategeeza ababaka ku kakiiko kano nti yakakasizza ababaka nga bw’ajja okubalaba olwaleero kyokka mu ssaawa envanyuma  n’atalabikako. Akulira akakiiko kano Eng Sekitoleko Kafeero alagidde omuwandiisi wa palamenti okuddamu okuyita minisita ono nga ssinga agaana…

Read More

Munnayuganda asirikkidde mu muliro

Waliwo munnayuganda asirikkidde mu muliro ogukutte akatale mu ggwanga lya south Sudan. Omuliro gw’afiiriddemu gukutte katale e Nimule. Omugenzi ategerekese nga Geofrey Olwenyi nga we Nebbi. Ayogerera poliisi mu bitundu bye Aswan Patrick jimmy okema, atubuulidde nti ono omulambo gwe  gusangiddwa gwa guweddewo, era nga mu kaseera kano buli kisoboka kikolebwa okuzza ebisigalira bye. Omuntu omu y’akwatiddwa nga kiteberezebwa…

Read More

Okuwalampa Rwenzori

Minisitule ekola ku byobulambuzi evuddeyo n’ekkubo eddala mw’enaayita okutunda eggwanga. Bano bataddewo empaka z’okuwalampa olusozi lwa Rwenzori. Amyuka akulira ekitongole ekikola ku kutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga John Sempebwa agamba nti kino kikoleddwaako ne mu mawanga amalala era negabuuka n’omudidi gw’ensimbi. Kawefube ono wakubaawo nga 17 omwezi guno era nga bannayuganda abali wakati we 400 ne 500 beebasuubirwa okuzeetabamu.

Read More

Eyavvoola pulezidenti atanziddwa

Omusajja eyagaana okuviira oluseregende lw’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga atanziddwa emitwaalo 50. Simon Musimenta alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku Buganda road Sanyu Mukasa era n’akkiriza emisango. Abadde avunaanibwa emisango ebiri okuli ogw’obutaviira motoka za pulezidenti n’okuvuga mu ngeri enkyaamu. Oludda oluwaabi lugamba nti ono ng’ali ku ssaawa ya kwiini yawulira engombe z’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga n’alemera mu kkubo ekintu…

Read More

Ebye Mulago bikyaali byampuna

Ebinaava mu kwekebejja omulambo gw’omwana akayaanirwa abazadde abagamba nti omwana waabwe yakyusiddwa mu ddwaliro e Mulago byakufuluma mu ssabbiiti emu Omulambo gw’omwana ono gwakoleddwaako endagabutonde oluvanyuma lwa bazadde b’omwana okulumiriza nti omwana waabwe mulamu Fred Sanyu  ne Lovinsa Atwongire bagamba nti bazaala omwana waabwe nga mulamu kyokka kyabbaggwaako okulaba nga babawaamu omufu Abe Mulago bino babyegaanye dda nga…

Read More

Lwakataka azzeeyo mu kkomera

Eyali omuvuzi w’emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka neera wakusula mu kkomera. Kkooti e Masaka eyongezezzaayo okuwulira okusaba kwe nti yeyimirirwe okutuuka nga 15 omwezi ogujja. Oguvunaanibwa Lwakataka gwakutta abantu mwenda aba famile emu mu disitulikiti ye Rakai Munnamateeka we Hassan Kamba agamba nti omuntu we mulwadde nga yetaaga kufuna bujjanjabi okuva ebweru w’ekkomera Ono alaze abamweyimirira bana okubadde n’omubaka we…

Read More