Omuwendo gw’abantu abafudde oluvanyuma lw’okunywa omwenge ogulimu obutwa mu ggwanga lya Mozambique gutuuse ku 69.
Omwenge guno okukolebwa okuva mu bulo gwakoleddwa waka era nga kiteberezebwa nti obulo buno bwandiba nga buliko obusagwa bwa goonya.
Omu ku bafudde mwana muto eyanywedde ku mwenge guno mu bubba ku mukolo kwegwagabuddwa
Abakungu mu ggwanga lya Mozambique bagamba nti abantu abalala…
Abalangira n’abambejja mu bugabe bwe Ankole battukizza okusaba nti obukulembeze bwaabwe obw’ennono bukomezebweewo.
Bano bakulembeddwaamu katikkiro waabwe Dr. William Katuramu nga bategese emisomo mwebanaayita okusomesa abantu mu Ankole ku bulungi bw’okubeera n’obugabe
Ng’ayogerera mu musomo ogusoose , katikkiro agambye nti abantu abatali bamu bakkirizza nti obukulembeze buno bwetaagisa
Ssentebe w’ekitundu kye Nyamitanga Jonas Nuwagaba agambye nti obugabe buno…
Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga addukidde mu kkooti ng’ayagala biragiro ebisengula abantu abesenza ku ttaka lye erisangibwa e Musaale mu Busiro mu disitulikiti ye Wakiso.
Katikkiro ayise mu munnamateeka we Denis Jjuuko ng;agamba nti mwetegefu okulaga nti yagula ettaka lino ku bukadde 30.
Agamba nti kyamwewunyisizza okulaba nga waliwo abantu babiri abazimbye ku ttaka lye…
Omwana ow’emyaka 3 eyameze amabeere n’okugenda mu nsonga yamazeeko buli omu ebyewangula.
Omwana ono nga bakadde be babeera Lwengo alina buli mbeera abakulu gyebayitamu era abantu bamufudde kyakwolerera
Ebireeta embeera eno bingi naye ekirungi nti ewona
Omusawo omukugu mu nsonga z’abaana Dr. Jessica Nsugwa agamba nti ssinga abasawo bazuula awavudde obuzibu , kisobola okukolebwaako.
Dr Nsugwa agamba nti omwana…
Oluvannyuma lw'ekirwadde kya polio okweyongera mu ggwanga nga kisibuka ku bantu abayingira eggwanga okuva mu mawanga maliraanwa ministry y'eby'obulamu ng'eyita mu kitongore kyaayo ekirwanyisa naganga wa polio etandise enteekateeka y'okuddamu okugema abaana bonna abali wansi w'emyaka etaano nga mu district y'e Mubende
y'emu kwezo ezitandikirwako n'oluvannyuma basaasaane eggwanga lyonna. Kaweefube ono ageenda okutambula nnyumba ku nnyumba,…
Ng’ensalessale w’ebigendererwa by’ekyasa esemberera, gavumenti esongeddwaako olw’obutakola kimala kutuukiriza bigendererwa bino.
Omukungu mu kibiina ky’obwa nnekyewa ekya World Vision James Kintu agamba nti mu bisinze okulemerera gavumenti mwemuli omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya ogweyongera buli lukya
Kintu agamba nti kyenyamiza nti abakyala 17 bafa buli lunaku mu kifo kyewandibaddewo okukendeera
Ono agamba nti kino era bwekiri ne kukundeeza…
Abalwadde abasoba mu 1000 beebalongoseddwa mu nkambi ekubiddwa ku ddwaliro lya Mutakoha erisangibwa e Mbarara.
Okulongoosa kuno kukulembeddwaamu Dr. Yvonne Ying ne Dr. Reid okuva mu Canada.
Omukugu mu by’okulongoosa abantu abalina obulemu ku ttendekero ly’ebya sayansi e Mbarara Dr. Justina Najjuka agambye nti basinze kulongoosa abalina ebiwundu by’emiriro, bannakimu n’obulemu bw’ebika ebirala
Ono agamba nti bassaawo enkambi…
Eggwanga lya Croatia lilonze omukulembeze waalyo omukyala asookedde ddala.
Kolinda Grabar-Kitarovic y’amezze abadde pulezidenti Ivo Josipovic bw’afunye ebitundu 50.5% .
Josipovic akkirizza eky’okuwangulwa era n’akulisa munne n’asuubiza okuwaayo obuyinza amangu ddala nga mukyaala Kitarovic amaze okulayizibwa.
Poliisi ye Lugusulu mu disitulikiti ye Sembabule eri ku muyiggo gw’omukazi kalittima eyazadde omwana n’amusuula mu nsiko n’afa.
omukyaala ono atanategerekeka omwana y’amusawuse mu kasiko akalilanye faamu y’omu ku batuuze nga eno gyayafiiridde.
ssentebe w’ekyaalo Lukwaasi Toffa Ssemwanga, agamba ebbujje lino lyasuuliddwa ku faamu ya Merabu Kamategesi nga era abatuuze ababadde batyaaba enku bebagudde ku mulambo nebatemya…
N’okutuusa kati Minisita w’ebeyenguudo Abraham Byandala tanalabikako ku ttabi lya bambega e Kireka gy’abadde asuubirwa amakya galeero.
Poliisi ku lunaku olwokusatu yafulumya ekibaluwa ki bakuntumye eri minisita ono oluvanyuma lw’okwebulankanya enfunda bbiri nga talabikako okukunyizibwa ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo lwa Mukono-Katosi.
Ekileppusa minisita y’ebbaluwa gyagambibwa okuwandiikira ab’ekitongole ky’ebyenguudo nga 14th Dec 2013 nga abalagira okuteeka…