Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abe wa kisekka basiba bikutuka

Kkooti enkulu wano mu Kampala egaanye okuyimiriza  okukulakulanya akatale ke Wakisekka nga bwekyasabibwa abamu ku basuubuzi. Kino kiddiridde abasuubuzi abamu okuddukira mu kkooti nga baagala okuzimba kwonna kuyimirizibwe kubanga tebaweebwa wakulaga nga era baagala okusooka okuteeka omukono ku ndagaano eraga buli omu w’agenda okukolera. Omulamuzi Lydia Mugamba agamba bano baagenda okuwaayo okwemulugunya kwabwe nga okukulakulanya akatale kano…

Read More

Ongwen bamukwasizza aba UPDF

W’owulirira bino  nga abakungu ba gavumenti ya Amerika bali mu kukwaasa  magye ga UPDF ag’omukago gwa  Africa  omu ku baduumizi b’abayeekera ba LRA  Dominic Ongwen . Omukolo guli mu ggwanga lya Central African Republic  nga eno Ongwen  abayekera ba Seleka gyebamukwasiza aba Amerika oluvanyuma lw’okwewaayo. Omwogezi w’ekitebe kya Amerika kuno  Daniel Travis akakasizza kino era n’atendereza nnyo…

Read More

Gavumenti enasisinkana abasomesa

Minisitule y’ebyensimbi yakusisinkanamu abasomesa okumalawo okusika omugwa ku nsimbi za Sacco ezabaweebwa omukulembeze w’eggwanga. Minisitule eno n’abasomesa bali ku mbiranye olw’obuwumbi 25 ezaweebwa abasomesa pulezidenti Museveni wabula nga kati ekibiina ekiwozi ky’ensimbi ekya micro-finance support centre kyekizirinako obuvunanyizibwa ekiwakanyizibwa abasomesa. Minisita omubeezi avunanyizibwa ku bibina ebiwozi by’ensimbi  Caroline Okao Amali agamba ssente zino baali tebasobola ziteeka mu…

Read More

Eyakubye munnamawulire anonyerezebwaako

Poliisi etandise okunonyereza ku aduumira poliisi ya Old Kampala Jorum Mwesigye eyakkakanye ku bannamawulire n’abakuba  nga awuttula ensolo. Olunaku lw’eggulo ofiisa ono y’asiiwuse empisa n’awuttula munnamawulire wa WBS  Andrew Lwanga n’ayonona ne kamera ye nga  akwata abavubuka abaabadde bekalakaasa olw’ebbula ly’emirimu. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga ategezezza nga aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Haruna Isabirye…

Read More

Namwandu wa Kasiwukira azzeeyo e Luzira

Namwandu wa Eria Ssebunya bangi gwebamanyi nga Kasiiwukira ne banne abalala 3 bongeddwayo ku alimanda E luzira ku by’okuvaako okutta Kasiiwukira. Namwandu  Sarah Nabikolo Sebunya, mugandawe  Sandra Nakungu n’omuserikale wa poliisi  Ashraf Dedeni bebaziddwa ku meere. Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Makindye Richard Mafaabi abazizza ku alimanda bw’ategezezza nga okunoyereza ku musango gwabwe bwekutanaggwa. Wabula…

Read More

Eby’okwerinda binywezeddwa ku nsalo ya South Sudan

Poliisi ekwataganye n’ebitongole ebirala okuyiwa basajja baayo ku nsalo ya Uganda ne South Sudan oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abayeekera abagaala okutanula olutalo. Kiddiridde omwuendo gw’abantu abadduka mu ggwanga lya South Sudan okweyongera. Akulira ebikwekweto mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi agamba nti bbo kyebagaala kwekukuuma bannayuganda obutakosebwa mu lutalo Kyokka era Kaweesi agamba nti bakyetegereza embeera nga bayita…

Read More