Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ekikwekweto ku Boda kiyodde eziwera

Poliisi y’ebidduka wano mu Kampala etandise ebikwekweto byaayo nga eyambibwako abakulembeze b’aba boda bano okukwata abo bonna aba boda abamenya amateeka gokunduudo. Mu bikwekweto bino ebyakamala ennaku 3, abagoba ba bodaboda 800 beebakagwa mu kitimba. Kino kidiridde ensisinkano wakati w’abakulembeze bano ne poliisi nebasalawo okukolera awamu okumalawo empulunguse z’abamenya amateeka. Aduumira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano Norman Musinga…

Read More

Ab’enganda za Omuyekeera Ongwen bakukkulumye

Ab’enganda b’eyabadde omu ku baduumizi b’abayeekera ba LRA abakulemberwa ssabayeekera Joseph Kony nga ono ye Dominique Ongwen baagala basooke bamukoleko emikolo gy’obuwangwa bamwambulule emizimu emibi nga tanatwalibwa kuwozesebwa mu kkooti y’ensi yonna. Bano bagamba nti emikolo gino mu Acholi  bagikola ku bantu abaali baawambibwa nebayingizibwa mu buyeekera okusobola okubambululako ebisiraani olw’ebivve byebaba bakoze nga bali mu…

Read More

PLE- ebigezo 1,344 bikwatiddwa, abalenzi bakubye abawala

Ebyava mu bigezo by’ekibiina ky’omusanvu eby’omwaka oguwedde bufulumiziddwa nga biraga nti abayizi baakoze bulungi okusingako ate omwaka gwa 2013. Abayizi abawerera ddala 60,956 bayitidde mu ddaala erisooka, 253,546 babadde mu ddaala lya kubiri, 127,350 babadde mu ddaala lya kusatu,  475,009 mu ddaala ly’okuna abayizi 68,759 bagudde. Abayizi baasinze kukola ssomo lya SST ate Oluzungu lwelwasinze okukolebwa obubi. Wakiso…

Read More

Paapa ali mu Phillipines

Papa Francis w’wowulirira bino nga ayolekedde eggwanga lya Philippines wakati mu kulindirirwa obukadde bw’abakulisitu aabsoba mu 80 . Papa wakutuukira mu kibuga ky’e Manila nga eno wakukubayo ekitambiro ky’emmisa. Oluvanyuma paapa wakwolekera ekitundu kya  Tacloban okulaba ku bakaawonawo b’omuyaga ogwagoya ekitundu kino mu November wa 2013. Eby’okwerinda biri ggulugulu oluvanyuma lw’abamu okugezaako okutta ba papa 2 abaali bakyaddeko…

Read More

Umeme efiirwa buwumbi

Obuwumbi obusoba mu 19 bwebufiirwa buli mwezi mu kubba amasanyalaze mu bitundu bya Elgon. Akulira ekitongole kya UMEME mu bitundu by’e Mbale  Edison Arinaitwe agamba ab’e Buduuda, Manafwa, Sironko, Bulambuli, Pallisa ne  Budaka amasanyalaze bagabidde ddala nga kuno bagasseko okubba n’emiti ne waya z’amasanyalaze. Agamba  Umeme esasanya obuwumbi nga 14 okuzzaawo waya n’emiti ebiba bibiddwa nga era…

Read More

Lwakataka akomawo mu kooti leero

Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Posiano Lwakataka adda leero mu kkooti mu kkooti enkulu e Masaka okulaba oba anakirizibwa okweyimirirwa kweyasaba wiiki ewedde. Omulamuzi wa kkooti eno  Margret Oumo Oguli olwaleero asuubirwa okusalawo oba Lwakataka avunanibwa okwetaba mu kutta abantu omwaka oguwedde mu disitulikiti ye Rakai yeyimirirwa oba nedda. Bannamateeka ba Lwakataka nga bakulembeddwamu  Hassan Kamba wiiki…

Read More

Mulangirire ebivudde mu kunonyereza ku ttemu

Mufti Wa Uganda  Sheikh Shaban Mubajje asabye ebitongole ebikuuma ddembe ebinonyereza ku kuttibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga okulangirira byebazudde mu lwaatu. Sheikh Mubaje agamba kino kyakuyamba okuleetawo obukkakkamu  n’okulaba eky’okukola oluvanyuma . Mubajje agamba okuttibwa kw’abamaseeka kusajjudde enjawukana mu basiraamu kale nga singa kino tekikoma enjawukana mu basiraamu zandisajjuka. Abasiraamu bangi bazze bavumirira okuttibwa kwa bannaabwe nga okunonyereza…

Read More

Ebigezo bifuluma essaawa yonna

Essaawa yonna okuva kati ekitongole ky’ebyebigezo kyakufulumya   ebyavudde mu bigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyakamalirizo eby’omwaka oguwedde. Abayizi abasoba mu mitwalo 60 okuva mu bifo 3000 bebatuula ebigezo bino nga era banji okusinga ku batuula mu 2013 n’emitwalo egisoba mu 2. Ssabwandiisi w’ekitongole kino  Mathew Bukenya agamba minisita w’ebyenjigiriza y’abakkirizza okufulumya ebigezo bino oluvanyuma lw’okusisinkanibwa olunaku olw’eggulo. Bukenya agamba buli…

Read More

Waadi y’abaana n’abakyala

Pulezidenti Museveni azzeemu okweyama okutereeza ebyobulamu mu ggwanga n’okukola kyonna ekisoboka okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya. Obubaka bwa pulezidenti bwetikkiddwa amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi ku mukolo gw’okuzimba waadi y’abakyala n’abaana ku ddwaliro ekkulu e Masaka. Sekandi agamba nti Uganda ekoze nnyo okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya n’omusujja gw’ensiri kko n’akafuba nga kati obuufu bagend akubwoleekeza…

Read More

Enyonta bagimalidde mu lujjudde

Ensi eno kituufu erimu abalalu Mu ggwanga lya Russia, waliwo abagalaana abayingidde mu kifo ekinywerwaamu ka chai nebatandika okusinda omukwano nga buli omu abegese amaaso. Bino babikoledde mu katebe akamu okutuulwa abanywa ka chai. Ekyewunyisa nti ababalabye bakubye enduulu n’okusakaanya n’okukwata buli kimu ku katambi kyokka abamu beevuddemu nebabalumba nebabalagira okujjawo obugwenyufu bwaabwe  

Read More