Ng’omwaka gwakatambulako mbale emirerembe gyebyetaka gisitudde butto mu district ye Kayunga.
Kino kiddiride amawulire okweyongera okusasaana nga abakulira district ye Kayunga bwebatunda ettaka eriweza acres omutwalo gumi eri kampuni ekonzi ya sukali eyitibwa Kayunga Sugar Ltd kyoka erina office mukibuga Kampala.
Ettaka erigambibwa okutundibwa lizingiramu ebyalo ebisuka 20 okuva mumaggombolola okuli eye Kitimbwa,Wabwoko ne Kayonza era kino…
Ebibiina by’obwanakyeewa bisabye gavumenti okwongezaayo eky’okuwandiisa abantu abafuna endagamuntu.
Omukungu mu bimu ku bibiina by’obwannakyeewa ekya Concern of Uganda agamba nti endagamuntu zino zirina akakwate ka maanyi ku kulonda kwa 2016
Ono agamba nti abantu bangi abaasubwa okuwandiisibwa nga bajja kuba bammibwa omukisa gwokulonda abakulembeze beebagaala
Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Walusibi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Akabenje kano kabaddemu amotooka 3 omuli eyekika kya government number UG 2374 etomereganye ne Taxi number UAU 524L ate eno nayo netomeregana ne Toyata Canter number UAN 062J.
Bo abantu abasoba mu 14 bebateberezebwa okulumizibwa mu kabenje kano.
Mu ggwanga lya Germany, namukadde alengedde ebibe nga byegadangira mu nnimiro ye obutamala asazeewo kubiyingizaamu poliisi.
Peter Komoll,agambye nti eky’ebibe bino okutwaala essaawa empanvu kimutiisizza era ng’alowoozezza nti oba bibadde byeremeddemu.
Abapoliisi bbo nno tebatawaanya kujja era mu nseko enyingi bamusabye akubire abakungu mu nsonga z’ebisolo.
Poliisi ekutte n’eggalira omukozi wa TV Denis Katongole amanyiddwa nga Katongole omutongole.
Kigambibwa okuba nti bwezaali ng’ennaku z’omwezi 10 January, omutongole ono yatwaalako omuyizi we Namilyango owa siniya ey’okubiri eyali ava e Bulenga okudda e bweyogerere kyokka nga yakyaama n’amutwaala mu loogi e Kalerwe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye agamba nti Katongole bamujje ku…
Enteekateeka z’amatikkira g’ettendekero ekkulu erya Makerere ag’omulundi ogwa 65,zongeddwamu amaanyi.
Abayizi 13,636 bebagenda okutikibwa weeki ejja okuva nga 21- 23 mu masomo agenjawulo, era ngabakufuna zi Diploma Degree, masters ne PHD.
Okusinzira ku mwogezi w’etendekero lino Ritah Namisango, abaana abawala 6730 bebagenda okutikirwa ate abalenzi bali 6906.
Wabula Namisango ategeza nga university bwetagenda kuttira kuliiso abayizi abalemeddwa okutukiriza…
Akola nga Ssabalamuzi w’eggwanga Steven Kavuuma asabye government okwongera ku nsimbi zewa essigga eddamuzi, okwongera okutumbula embeera enungi.
Kavuma agambye nti essaga eddamuzi liwebwa ensmbi obutundu 6 % bwogerageranya ne parliament wamu n’ebitongoel bya government ebirala ebiwebwa ebitundu 4.4%.
Kavuma agambye government lwakiri erina okwongera kunsimbi zino okutuuka ku bitundu 2%, okusobozesa emirimu okutambula obulungi.
Ono era agambye…
Ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola kunsonga z’abaana ekya UNICEF kitegezezza ng’omuwendo gw’abaana abawala abakomolebwa bwegukendedde.
Kino kivudde ku kawefube akoleddwa okusomesa abantu akabi akali mu kukomola abakyala.
Okusinzira ku kitongole kya UNICEF emisango egyiropebwa gyeyongedde okutuuka ku misango 86 omwaka oguwedde, olwabantu okusomesebwa mu district 3 ezisinga okubeeramu omuzze gw’okukomola abakyala.
Omwogezi w’ekitongole kya UNICEF Jaya Murthy agambye nti…
Okujjako nga wabaddewo ennongoseresa mu mateeka g’eby’okulonda,okulonda kw’omwaka ogujja kuyinza obutaba kwa mazima na bwenkanya.
Ebibiina by’obufuzi kko n’ebyobwanakyeewa bibadde biri mu kawefube w’okusaba nti amateeka gano gassibwe mu nkola nga muno mwemuli n’okussaawo akakiiko k’ebyokulonda aketongodde kko n’okuzzaawo ekkomo ku bisanja.
Kakensa okuva mu yunivasite ye Makerere Prof Sabiti Makara agamba nti enongosereza mu mateeka g’eby’okulonda…
Abaana 2 bawonye okufiira mu kidiba ky’amazzi oluvanyuma lw’okugwamu nga basena amazzi.
Susan Nambusi 8 ne Bredah Nalugo7 bawala ba Ronald Kazibwe omutuuze ku kyaalo Kibulala mu disitulikiti ye Ssembabule be banyuluddwaare nga kati bali bubi mu ddwaliro lya Kinoni health e Lwengo.
Susan Nambusi yeyasoose okugwa mu kidiba kino olwo mutowe Nalugo bweyagezezzaako okumuyamba naye n’agwamu.
Ekilungi…