Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Mali eweddemu Ebola

Eggwanga lya Mali lirangiriddwa ng’eriweddemu obulwadde bwa Ebola Kiddiridde abasawo okulondoola embeera mu ggwanga lyonna okumala ennaku 42 nga tewali mupya afunye kirwadde kino. Omulwadde wa Ebola eyasemba mu ggwanga lino yalabwaako mu December w’omwaka oguwedde Obulwadde bwebumu era bukendedde mu mawanga amalala nga Sierra Leone ne Guinea.

Read More

Abasawo bagaala kwongezebwa musaala

Abasawo mu ggwanga bagaala kwongezebwa musaala wakiri asookerwaako abe ng’afuna akakadde kamu n’ekitundu Nga bayita mu kibiina kyaabwe kyaabwe ekya Uganda medical workers union,abasawo bagamba nti omusaala gwebafuna mutono nnyo era emirundi egisinga gubalamu amaanyi nebatafa ku balwadde. Mu kadde kano omusawo asinga afuna emitwalo 60 ate asembayo afuna emitwalo 25 SSabawandiisi w’omukago gw’abasawo bano Aggrey Sanya agamba…

Read More

Wetonde- Pulezidenti Museveni assiddwa ku nninga

Ssentebe w’akakiiko akagatta eddiini ez’enjawulo mu kitundu kya Kigezi Fr Geatano Batanyenda atadde omukulembeze w’eggwanga ku ninga Yoweri Museveni yetondere bannayuganda olw’okuyita ab’oludda oluvuganya gavumenti emisege , n’okuyita eggye ly’eggwanga eggye lye. Fr Geatano agamba bino byonna binyomoola ssemateeka w’eggwanga n’enkola ey’ebibiina ebinji. Agamba ab’oludda oluvuganya gavumenti balina kuyitibwa bawabuzi kbanga bayamba gavumenti okugolola ensobi z’eba ekoze…

Read More

Abavubuka ba JEEMA bagobye abakulembeze baabwe

Waliwo ekibinja ky’abavubuka b’ekibiina kya  JEMA abalumbye ekitebe ky’ekibiina kino e  Kamwokya nebeddiza obuyinza ku nzirukanya y’emirimu gy’ekibiina. Bano balumiriza abakulembeze baabwe abakulirwa ssenkagale w’ekibiina  Asuman Basalirwa nti emirimu gibalemye nga balemereddwa n’okutegeka ttabamiruka w’ekibiina. Wowulirira bino nga abavubuka bano bebaddukanya emirimu mu kaseera kano nga bwebategeka ttabamiruka w’ekibiina. Twogeddeko ne ssentebe w’akakiiko ak’ekiseera akatekeddwawo okuddukanya ekibiina kino. Yye…

Read More

Abakyala abagambibwa okuba abatujju bayimbuddwa

Abakyala babiri abagambibwa okuyambako abatujju ba Alshabaab okulumba Uganda omwaka oguwedde bayimbuddwa Ssabawaabi wa gavumenti Michael Chibita y'abajjeeko emisango ng'agamba nti tekyagulabamu kantu Mu ssabawaabi abitadde mu bbaluwa eriko ennaku z'omwezi 15th January 2015 ereeteddwa mu kkooti enkya ya leero. Yasimin Abdullahi Adenne  Hodan Ahmed Dahir bonna batuuze mu kisenyi Kati abavunanaibwa basigadde munaana nga baggulwaako misango gyakuyamba ku…

Read More

Ababeera okumpi n’omwala gwe Nalukolongo baakusengulwa

Ebikumi n’ebikumi by’abatuuze ababeera kumpi n’omwala gwe Nalukolongo basabiddwa okwamuka ekifo kino okusobola okukolebwaako. Meeya we Lubaga Joyce Ssebugwawo agamba baagala kulaba nga bagaziya omwala guno okulwanyisa amataba agamazeeko abaguliranye emirembe buli lwettonya. Ssebugwawo agamba omwala guno buli lwegubimba ne mukoko gutawanya n’abatuuze mu bitundu ebiriranyewo okuli Ndeeba ne Nateete mu biseera by’enkuba kale nga basana okugukolako. Palamenti…

Read More

Mutwale abaana bagemebwe- Museveni

Pulezidenti Museveni asabye abazadde okutwaala abaana baabwe bagemebwe mu kugema poliyo okutandise leero okwetoolola eggwanga lyonna. Bw’abadde ayogerako eri abantu be Mulo ekisangibwa e Rubanda, pulezidenti agambye nti abazadde basaanye okukulemberamu omulimu gw’okukuuma ebaana baabwe nga balamu Pulezidenti asoose kugema baana nga tannayogerako eri bantu. Abaana abali mu bukadde musanvu n’ekitundu beebatunuuliddwa okugemebwa mu nnaku esati era ng’obuwumbi…

Read More

Empaka za Africa- tiimu zesunga

Tiimu kkumi na mukaaga olwaleero zitandika ensitaano y’okuwangula akakadde ka doola ka doola akamu n’ekitundu eri anawangula ekikopo ky’amawanga ga Africa Abanakoma ku quarter final bakufuna doola emitwalo 60 Omupiira ogusookawo guli wakati w’abakyaaizza empaka zino aba Equatorial Guinea ne Congo ku ssaawa emu Omulala gutandika ku bbiri ez’ekiro nga guli wakati wa Burkina Faso ne Gabon.

Read More

Okwekalakaasa kusse bana

Abantu 4 bafiridde mu kwekalakasa mu ggwanga lya Niger ngabawakanya olupapula lw’amawulire mu ggwanga lya Bufalansa olwa Charlie Hebdo okukuba ebifananyi bwa Nabbi Muhamed mu bifanyanyi ba Cartoon. Amakanisa agawerako wamu n’ebifo ebyobuwangwa bitekeddwa omuliro abantu ababadde bekalakasa. Okwekalakasa kuno kuzze ngawakayitta weeki emu ngabamukwata mundu balumbye olupapula lw’amawulire luno nebatta banamawulire 12.

Read More