Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Yaya Tuore yesunze

Emunyeenye ya Ivory Coast Yaya Tuore agamba nti nga bali n’omutendesi waabwe Herve Renard, bakuwangula omupiira gwaabwe ne Guinea akawungeezi ka leero. Omupiira guno gutandika ku ssaawa emu mu ggwanga erya Equatorial Guinea. Aba Ivorycoast nno bwebaba nga bakuwangula balina okunyweeza ekisenge kyaabwe okwewala okuteeba ennyo goolo nga bwekyaali mu z’okusunsulamu abeetabye mu kikopo ky’amawnaga ga Africa.

Read More

Ono asanyusa bulala

Omusajja ayagadde okusanyusaamu mukyala we bw’ayiye obupiira bw’abaana nebubuna enju yonna Omusajja ono apangisizza motoka namba ereese obupiira buno n’ebiyiwa ewaka Omukyala ono mu kukomawo asoose kuggula garage ng’ekubyeeko obupiira buno era oluyingidde mu nyumba kimuweddeko omupiira buno bwebutandise okumuvuga nga mutabani we ne bba bwebamusekeredde ekimukaabizza amaziga mu ssanyu

Read More

Poliisi efulumizza amateeka ku bye Makerere

Poliisi efulumizza amateeka aganagobererwa abo abalina abaana abatikkirwa e Makerere okuva olunaku lw’enkya Abayizi 13,636 beebagenda okutikkirwa okuva nga 21 okutuuka nga 23 omwezi guno mu masomo agatali gamu nga bakufuna dipulooma, degree, n’ebirala. Geeti enkulu eyingira ettendekero egenda kukozesebwa bazadde n’abagenyi abayite ate bbo abava e Gayaza ne Wandegeya  , bakukozesa geeti ye Wandegeya Abava e Bwaise…

Read More

Akalulu ke Busia kakutte akati- abeesimbyeewo bawera

Akakiiko akalondesa kamaze okuweereza ebinakozesebwa mu kulonda ssentebe wa distulikiti ye Busia ku lw’okuna. Okuddamu okulonda mu kitundu kino kwaddirira kkooti okugoba Ouma Adea eyali ssentebe nga bamulanga kuvvoola ofiisi ye. Akulira akakiiko kano Eng Badru Kiggundu agamba nti okulonda kwakutambulirira ku mazima na bwenkanya era abesimbyeewo bonna ne bannabyabufuzi kko n’abalondoola ebintu balina okugoberera amateeka. Ono alabudde…

Read More

Basalirwa azzeeyo mu ofiisi

Akulira ekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa olwaleero ezzeeyo mu ofiisi ye Abavubuka b’ekibiina ky’akulira olunaku lwajjo baawambye ofiisi ye nebalangirira nga bwebagobye abakulembeze bonna. Ng’ayogerako eri bannamawulire ng’asinziira mu ofiisi ye, Basalirwa agambye nti ataddewo okunonyereza okuzuula abatuufu abaakoze akavuyo k’okuwamba ekibiina. Basalirwa agamba nti awatali kuttira ku liiso abakikoze bakunonerezebwa

Read More

Abavubuka bakwatiddwa

Abavubuka 6 abegattira mu kibiina kyaabwe eky’abatalina mirimu bakwatiddwa. Abakwatiddwa kuliko  Rashid Serunjogi, Fionah Asiimwe, Prince Babi Kahemba, Robin Wabulembo, Habib Buwembo ne  Bethel Awungi. Bano babadde bakulembeddwamu Doreen Nyanjura wabula poliisi ebasaliddeko wali ku shoprite nga bakumba boolekera ku kitebe kya poliisi e Naguru okukwanga ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura ekiwandiiko ekisaba olukusa okukuba enkungaana wano…

Read More

Abagambibwa okubeera abatujju bali mu kkooti- eby’okwerinda kasiggu

Poliisi ekkakanya obujagalalo eyiiriddwa okwetolola kkooti enkulu mu kwetegekera okuddamu okuwulira omusango gw’abantu 12 abavunanibwa okutega bbomu ne zitta abasoba mu 70 ku Kyaddondo Rugby Grounds ne ku baala ya Ethiopian Village. Wowulirira bino nga abavunaanwa batuuse wakati mu bukuumi obwekitalo nga era baasi mwebabadde ewerekeddwako  kabangali za poliisi 4 n’ezamakomera bbiri Omulamuzi wa kkooti enkulu akola…

Read More

Emirambo ginyuluddwa mu mazzi

Poliisi eriko emirambo ebiri gy’enyuludde mu mazzi mu bitundu bibiri ebyenjawulo. Omulambo ogumu gunyuluddwa mu kidiba ky’amazzi e Luweero nga gwa musajja mukadde wa myaka 70 ng’ategerekese nga Musisi Kalema Ogw’okubiri gujjiddwa mijeera Nakasongola  ng’ono yye yabadde agenze kuwuga era nga ye Lawrence Ola Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agamba nti batandise okunonyereza okuzuula…

Read More

Bafanabafana efulumizza olukalala

Omutendesi wa tiimu ya Bafana Bafana Ephraim Shakes Mashaba alangiridde basajja be 11 abagenda okusookawo mu kisaawe nga bubefuka ne Algeria Omupiira guno gugenda kubeera mu kisaawe kya Stade de Mongomo era nga gutandika ku ssaawa nnya Darren Keet ali mu goolo yadde nga mu z’omukwano ogwaali wakati wa Cameroun ne Mali Ono yasemba okukwata lwebakwatagana ne Zambia…

Read More

Abakwatibwa ku basiraamu bagguddwaako gwa butujju na ttemu

Abakulembeze b’abayisiraamu omukaaga abakwatiddwa olw’okutta banaabwe bagguddwaako gya butujju Ku bano kwekuli Sheikh Siraje Kawooya, Abdul Salam Sekayanja Abdul Sematimba, Rashid Jjingo ,Twaha Ssekitto ne Yusuf kakande. Bavunaaniddwa mu maaso gw’omulamuzi w’eddaala erisooka e Nakawa Timoth Lumunye atabakkirizza kunyega kintu kyonna kubanga emisango gyebaliko gyannaggomola Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa December 2014 ne January 2015, bano nga…

Read More