Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Okulonda e Busia kutambula kasoobo

Abalonzi mu kulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Busia bakyaali baamuswaba. Okuva ku ssaawa 2 okulonda wekwaguddewo, abantu bakyaali baalubatu abajja okusuula akalulu kaabwe. Bbo abesimbye 2 baasudde dda obululu bwabwe. Munna DP  Deo Njoki alondedde ku ssomero lya  Buhorwe primary ate munna NRM Sam Owundo Wanyama alondedde  Busiabala. Bbyo eby’okwerinda bikyali gguluggulu nga abserikale ba poliisi bayiiriddwa buli…

Read More

Omu afiiridde mu kabenje

Omuntu omu afiiriddewo n'abalala 36 okubadde n'abaana abawere basatu nebaddusibwa mu malwaliro okuli Gombe ne Nkozi nga bali bubi oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje. Kino kiddiridde bbaasi mwebabadde basaabalira okuseerera  wakati mu lukubakuba olubadde luwandagirira neeremerera omugoba waayo neyekatta ennume y’ekigwo. Bbaasi eno No. UAP 889L nga ya kampuni eya Bismarkan Coaches egudde mu kitundu ekimanyiddwa nga Kalandazzi…

Read More

Abe Nkumba bazzeeyo

Abayizi b’ettendekero lye Nkumba abaali baagobwa olw’okwekalakaasa basambira mageba nga jjanzi oluvanyuma lw’okukkirizibwa okuddayo basome. Yunivasite eno eyise mu munnamateeka waayo  Andrew Munanura, awaddeyo ebbaluwa eri omulamuzi wa kkooti enkulu Yasin Nyanzi ekkiriza abayizi bano okudda basome. Omulamuzi kati fayilo y’omusango guno agisindise mu kkooti e Nakawa kubanga ekitundu ky’Entebbe kiri wansi wa kkooti ye Nakawa era…

Read More

Ebbula ly’ensimbi likosezza abe Makerere

Ebbula ly’ensimbi ky’ekizibu ekikyasinze okusoomoza entambuza y’emirimu ku ttendekero ekkulu e Makerere. Nga ayogera ku matikkira g’e 65 ag’ettendekero lino, amyuka Kyansala w’ettendekero lino  Prof Ddumba Ssentamu ategezezza nga bwebatandisewo emirimu egyenjawulo okukendeeza ku muwaatwa gw’ebbula ly’ensimbi ku yunivasite eno. Ddumba yebazizza pmukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni olow’enkolagana ennungi n’e ttendekero lino. Abayizi abasoba mu 13000 bebasuubirwa okutikirwa mu…

Read More

Amir Kamoga akwatiddwa

Omukulembeze w’abayisiraamu omulala akwatiddwa. Amir Umma Yunus Kamoga nga y’omu ku bakulembera abatabuliiki mu ggwanga kigambibwa kuba nga  yakwatiddwa okuva ku Hotel ya Equatoria akawungeezi akayise. Ono yeegasse ku bamaseeka 6 abaakwatibwa gyebuvuddeko ku byekuusa ku kutibwa kwa seeka Mustafa Bahiga eyakubwa amasasi. Ono nga tannakwatibwa , y’asoose kwogerako erio abayisiraamu ku muzikitio e Nakasero oluvanyuma lwe sswala…

Read More

Ogw’omwana eyattibwa ku KCCA gulanze

Kkooti kyaddaaki etaddewo olunaku lw’enasalirawo eggoye ku kya dereeva eyatomera omwana n’amuttira ku KCCA. Omulamuzi w’eddaala erisooka Joan Aciro ataddewo olunaku lwa nga 23rd omwezi ogujja okuwa ekyenkomeredde ku nsonga za Baguma Anywali . Kidiridde oludda oluwaabi olukulembeddwaamu Immaculate Nyambajju okutegeeza kkooti nti bakyetaaga okuzzaayo fayilo y’omusango eri ssabawaabi wa gavumenti okuwulira ekyenkomeredde ng’okuwulira omusango tekunnatandika. Nyambajju agambye…

Read More

Bannabyabufuzi bagula abalonzi- Alipoota

Alipoota efulumiziddwa ebibiina by’obwa nnakyeewa eraga nti bannabyabufuzi omuli n’aba palamenti basasula abalonzi ensimbi nga bangi bakozesa wakati w’obukadde 4 ne 10 buli lwebayita mu bitundu gyebalondera Alipoota eno efulumiziddwa ab’omukago ogulondoola ensasnya mu byobufuzi ng’eraga nti abalonzi basaba ababaka ba palamenti ensimbi okumaliriza ebizibu byaabwe ng’abantu. Akulira ekibiina kya Transparency international Uganda Peter Wandera agamba nti…

Read More

Gwebakutte abba bamusse

Abantu ababadde bataamye obugo ku kyaalo Malongo mu disitulikiti ye Lwengo baliko omusajja gwebafumise ebiso ebimusse nga bamulanga kubba mairungi Omusajja onoa tegerekeseeko lya Mande  ng’asingiddwa nga mufu wa jjo ng’omulambo gwe gugangalamye mu ssamba ya mayirungi esangibwa e Malongo. Mande ono yattiddwa oluvanyuma lw’okukwatibwa lubona ng’abba amairungi. Atwala gombolola eno Quraish Ssekalema agambye nti nabo kibaweddeko okufuna…

Read More

Okugema awamu tekutuuse

  Okugema kwa poliyo okw’ekikungo okumaze ennaku ssatu mu ggwanga lyonna kukomekerezeddwa  nga waliwo disitulikiti ezitagemye baana bonna Mu Butambala omukungu wa ssabasajja Jimmy Kamuli Ssali abadde mu kulondoola okugema kuno, agambye nti yadde nti wadde mu byaalo bye Butambala ne Gomba basobodde okumaliriza obulungi, mu bibuga si bwegubadde Wabula yo mu disitulikiti ye Wakiso okwawukanako ne mu…

Read More