Minisitule y’ebyobulamu alumbye abaddukanya eddwaliro lye Nebbi olw’okuzza abalwadde mu kabuyonjo kubanga baddabiriza eddwaliro
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti eddwaliro lino lyanditaddewo enkambi eri abalwadde abangi abagendayo okwewala okubateeka mu bifo ebikyaafu nga kabuyonjo.
Lukwago agamba nti bakutuula n’abaddukanya eddwaliro lino okulaba nti babawa wakiri ensisiira okussaamu abalwadde.
Omukyala agamba nti yafa n’azuukira agamba nti yatuuseeko mu geyeena n’sangayo omuyimbi Witney Houston ne Muammar Gaddafi.
Sisita Linda agambye nti yatambudde ne yeesu n’amulagira okuzza obubaka eri abo abakola Witney ne Gadhafi byebaali bakola.
Waliwo omusajja eyava ku mmere y’ensi nga yye alya mmere ya mbwa.
Phillip Wells kati bamukozesa kugezesa mmere ya mbwa ekoleddwa oba nungi oba nedda.
Abasawo mu America balaze okutya nti omusajja ono yandituuka natandika okweyisa ng’embwa omuli n’okuboggola.
Ab'ekibiina kya NRM bagamba nti tebajja kukkiriza bannakibiina abamu bannakigwanyizi abagaala okutegeka emikolo egyaabwe egy'amenunula
Ng'ayogerako eri bannamawulire , minisita omubeezi akola ku bukuumi, Muruuli Mukasa agambye nti emikolo emikulu gyakubeera Soroti era abategese egyaabwe e Namboole bali ku byaabwe
Kiddiridde ekibinja ky'abavubuka mu NRM okutegeeza nga bwebategese olukiiko olwaabwe e Namboole okukungubaga olwa demokulasiya aweddewo mu…
Ba wanyondo ba kkooti bakedde kukoona ssomero lya Nabagereka Primary school erisangibwa mu kisenyi.
Ettaka okutudde essomero lyaguzibwa omuggagga Bosco Muwonge mu mwaka gwa 2010 era ng'abadde buli lukya ayagala kulisengula.
Bawanyondo bano bakedde nawankya era abasomesa abaasuze ku ssomero lino kibaweddeko okulaba nga buli kimu kikoonebwa
Balumbye minisitule y'ebyenjigiriza olw'okubasuubiza nti essomero ssi luakumenyebwa ate nga bakimanyi…
Munna NRM Stephen Oudo Wanyama ye ssentebe wa disitulikiti ye Busia.
Oudo y’amezze munnaDP eyasimbiddwawo ab’oludda oluvuganya gavumenti Deo Njoki n’obululu 31443 ku 21844 obwa Njoki.
Akulira okulondesa mu mu disitulikiti ye Busia Sam Agaba yeyalangiridde ebyavude mu kalulu ku ssaawa nga 5 ez’ekiro nga era Oundo yafunye obululu ebitundu 59%.
Wabula tewabuzeewo birumira mu kalulu kano,omwabadde efujjo…
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke ateesezza oluganda lweluba lukozesebwa mu entuula z’enkiiko za municipaali lwo oluzungu lusigale mu kuwandiika biteeseddwako.
Bino Nambooze y’abyogeredde mu lukiiko lwa municipaali olusookedde ddala omwaka guno n’anokolayo enyingo namba 6 mu ssemateeka afuga municipaali eno etangaaza ku nsonga eno.
Nambooze agamba emirimu gikoseddwa n’endoolito okweyongera kubanga abakiise abamu olungereza lubakalubiriza nga…
Abasomesa wansi w’ekibiina kyabwe ekibataba balumbye ekitebe kya minisitule y’ebyenjigiriza okubanja ensimbi zaabwe ez’ebibiina by’obwegassi.
W’owulirira bino nga batuuse ku kitebe kino okumanya lwaki tebaweebwa nsimbi zaabwe ez’okwekulakulanya
Abasomesa ne minisitule bali ku mbiranye olw’obuwumbi 25 obwaweebwa pulezidenti Museveni okugenda eri abasomesa mu bibiiba byawe eby’obwegassi nga minisitule eyagala ziyite mu kibiina ekiwozi ky’ensimbi ekya micro finance…
Waliwo ababbi abatanategerekeka abaalumbye essomero lya Seeta college e Mukono nebabba ebintu by’essomero lino ebibalirirwamu byabukadde okuli compyuta 42.
Akulira essomero lino Zawedde Kigoonya ategezezza nga bwebasaanze nga ebisenge ebisinga byawomoddwamu ebituli nga wano ababbi mwebaayise.
Yye omukuumi w’assomero lino yamazemu dda omusubi nga kati batebereza nti yandiba nga y’abadde mu lukwe luno.
Poliisi ye Nazigo y’asuubizza okunonyereza…
Senkulu w’ettendekero ekkulu erye Makerere Prof Mondo Kagonyera obuli bw’enguzi obukudde ejjembe mu ggwanga abutadde ku butaba na mpisa.
Nga ayogera ku matikkira g’omulundi ogwe 65, Prof Kagonyera ategezezza nga olutalo okulwanyisa amayisa amabi bwelulekeddwa eri gavumenti sso nga abazadde basaana okubuulirira abaana baabwe ku kabi akali mu kulya enguzi ssi kwemalira ku byakusoma byokka.
Ono era…