Abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga balangiridde okusaba okwa wamu okugendereddwaamu okusaba nti wabeewo obumu
Omwogezi w’ekitebe ekikulu eky’obuyisiraamu Hajji Nsereko Mutumba agamba nti okusaba kuno kwakubaawo ku lw’okutaano luno ku kampala mukadde.
Mutumba agambye nti abayisiraamu bonna baanirizibwa okwetaba mu kusaba kuno okugenda okutambulira wamu ne juma.
Bano nno babadde balangirira bati nga ne Supreme Mufti Sheikh Zubair Kayongo…
Enkumi n’enkumi z’abavubuka bajumbidde okwendiisa mu poliisi okutandise olunaku olwaleero.
Poliisi esoose kuwandiisa ba kadeeti mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo olwo bawandiise am’amadaala aga wansi
Ba kadeeti abatunuuliddwa basoba mu 500 era ng’ebisanyizo diguli oba ebbaluwa endala egyefananyirizaako.
Wano mu kampala n’ebifo ebiriranyeewo okuli Entebbe ne Wakiso, okwewandiisa kuli ku ttendekero lya poliisi e Kibuli nga era bangi bawandisiddwa
Omwogezi…
Abakugu bazudde nti omuntu nebw’abeera ne kasukaali akatono mu mubiri naye ng’atandise okulirira,kimussa mu bulabe bw’okulwalira ddala omutima
Kino kikwata ku bantu abali wakati w’emyaka 35 ne 55.
Kino kiva ku nsonga nti buli Muntu lw’agatta emyaka 10 ku bulamu bwe ayongera okunafuwa
Abasawo abatunuulidde abantu 1500, bagamba nti kyandibadde kirungi abantu nebegendereza byebalya okwewala okulya ebirimu ennyo…
Eggwanga lyetaaga yuniti z’omusaayi lukumi buli mwezi okumalawo ebbula ly’omusaayi mu ggwanga
Akulira ekitongole ekikola ku kugaa omusaayi ekya Uganda Blood Transfusion services Dr. Dorothy Kyeyune agamba nti ku guno bafuna yuniti 800 zokka
Kyeyune agamba nti omusaayi gwebakungaanya ebitundu 60 ku kikumi baguwa baana ng’abasinga babaeera n’omusujja gw’ensiri
Agamba nti buli mwaka beetaga yuniti z’omusaayi emitwalo 34…
Akakiiko akakola ku byobulamu kagaala minisitule y’ebyobulamu okujjawo natti gyeyassa ku kuwandiisa abasawo mu ggwanga
Akulira akakiiko kano Dr. Pius Okong ategeezezza sipiika wa palamenti nti kino kikosezza emirimu kubanga abasawo batono ate nga tebasobola kuwandiisa bapya.
Dr. Okong agamba nti amasomero g’abasawo gafulumya abayizi buli mwaka kyokka nga tebaweebwa mirimu era ekiddirira kwekwenonyeza emirimu ebweru
Ayagala wabeewo…
Okuwozesa omu ku basajja ba Kony ab’okuntikko Dominic Ongwen kutandise.
Ongwen alabiseeko mu kkooti eno etuula mu kibuga Hague ng’ayambadde essuuti ebaddemu essaati ya blue n’ettaayi.
Ekibuuzo kibaddewo nti Ongwen awozesebwa oba nedda.
Avunaanibwa misango gya kutemula, okuwamba, n’okweyisa mu ngeri etali ya buntu.
Munnamateeka wa Ongwen , Hellen Cissy agambye nti omuntu we bamukwata muto n’abeera mu buwambe…
Abantu abasoba mu 300 beebawereddwa emidaali ku mikolo gy’amenunula egibadde e Soroti
Akulira akakiiko akagaba emidaali Gen. Elly Tumwine y’asomye amannya g’abatoneddwa okubadde ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda, Ali Kirunda , Joseph Bigirwa, Katumba Wamala,Julius Odwe, John Michael Ariong, n’aba Madvhani.
Ng’ayogerera kuno, pulezidenti Museveni asekeredde abavuganya olw’obutasiima bikoleddwa NRM mi myaka 29
Ng’ayogerera ku mikolo gy’amenunula , pulezidenti…
Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akaatuze abantu babiri ku luguudo lw’entebbe olunaku lwajjo.
Akabenje kano akaagudde e Katabi keetabiddwaamu motoka no UAV 971 T eyakoonye bodaboda eyabadde etisse abantu basatu
Ayogerera poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti omu ku bafudde ye dereeva w’emotoka ategerekese nga Willfred Mwawaki ng’ono yabadde agezaako kuyisa n’ayingirira owa Boda
Omulala afudde…
Kubamu akafaanyi ng’olabye munne ng’alina w’alaalidde.
Bangi baseka nga tebalowooza na kukyakuyamba banaabwe
Tewali njawulo ku bisolo nga bwegubadde ku mbwa erabye kkapa ng’eralidde mu kikebe.
KKapa eno yabadde eringiza mu kikebe olwo omutwe negulemerayo.
Embwa yasoose n’efa enseko kyokka oluvanyuma yadduse n’eduukirira kkapa eno n’egisika ekikebe ku mutwe
Omuwendo gw’abantu abalongoseebwa okugezza oba okukozza ebitundu by’emibiri gyaabwe gukendedde mu Bungereza
Ekibiina ekigatta abasawo abakola okulongoosa kw’ekika kino beebafulumizza alipoota eraga nti mu mwaka 2014 abantu emitwalo ena n’ekitundu beebalongoosebwa okuva ku mutwalo etaano mu mwaka gwa 2013.
Okugezza amabeere n’okusongoza enyindo byebasinga okwettanirwa kyokka nga nabyo bw’otunula emabega byakendeera.
Mu bakyala okugejja amabeera kyekyasinga neera kyokka…