Tukitegeddeko nti omukulembeze w’eggwanga lya South South Salva Kiir mulwadde.
Ono alwalidde mu kibuga Adisababa gyeyagenze okuteesa ku ngeri y’okumalawo olutalo mu ggwanga lye.
Wabula abayambi be bavuddeyo mangu okutegeeza nti Kiir tali bubi nnyo nebawakanya n’ebigambibwa nti yatwaliddwa.
Kiir, ow’emyaka 63 y’abadde akulembera eggwanga lino bukyanga lyetongola mu mwaka 2011.
Eddwaliro lya kokoolo mu Uganda limenye ebika bya kokoolo n’engeri gy’akosaamu ebitundu ebitali bimu
Bano batunuulidde kokoolo ow’’omu lubuto, ow’ekibumba n’owa mayuuga ng’ono asinga kukwata baana
Omusawo omukugu okuva mu ddwaliro lya kokoolo Dr. Fred Okuku agamba nti abadde ababeera mu bitundu bya WestNile bafuna nnyo kokoolo w’ekibumba kubanga era bano batawanyizibwa obulwadde bwa Hepatitis E
Dr. Okuku…
Banasayansi abalondoola ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Guinea bategezezza ng'akawuka akaleeta ekirwadde kino bwekatandise okukyuuka mu nkula yaako.
Abakugu bano ku ttendekero lya Pasteur mu ggwanga lya Bufaransa baagala kati kumanya oba akawuka kano kati keyongedde amaanyi mu kukwata okuva ku Muntu omu okudda ku mulala.
N’okutuusa kati bannasayansi bano bakyekebejja omusaayi gw’abalina ebola okubaako neddagala…
Abasuubuzi bakozesezza akakisa k’enteekateeka z’amagye okukuza olunaku lwa Terehesita mu disitrulikiti ye Moroto ne baseera emmere mu kitundu kino.
Emikolo gy’omwaka guno gitambulira ku mulamwa ogugamba nti okujaguza eky’okugatta ekitundu kye Karamoja ku by’enfuna by’eggwanga.
Kati essowaani y’akawunga n’ebijanjaalo ya 3500 okuva ku 2500 sso nga ayagala okulya ku nyama kati osasula 3800 okuva ku 3000 sso…
Ekibiina ekigatta ebibiina by’abakozi byonna mu ggwanga abakozi mu ggwanga kyegasse ku kibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga okubanja obuwumbi 25 ezabaweebwa omukulembeze w’eggwanga ziyambe ebibiina byabwe eby’obwegassi.
Ekibiina kino kiwakanya eky’okuyia ensimbi zino mu kibiina ekiwozi ky’ensimbi ekya microfinance support center kubanga amagoba gandiba waggulu.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Usher Wilson Owere ategezezza nga bwebaalagaidde edda ababaka abakiikirira…
Abakyala 58 % wano mu Uganda balowooza nti kigwanidde okukuba abakyaala bwogeregeranya n’abaami 44% .
Kino kyeyolekedde mu alipoota y’ekibiina ekigatta amawanga ga Africa ey’omwaka guno ogwa 2015 eraze nga omuze gw’okutulugunya abakyaala, abawala wamu n’abalenzi abato bwegukyagaanye okuggwa mu ssemazinga wa Africa.
Ekikwaasa ennaku kwekuba nga obukadde n’obukadde bw’abawala eky’okubatulugunya bakiraba nga ekyabulijjo.
Alipoota eno eraze nga …
KKooti eweze bannamawulire okuwandiika ku namwandu wa Kasiwukira Sarah Nabikolo mu ngeri ettatana erinya lye ku musango gw’okutta bbaawe ogukyawulirwa mu kkooti.
kino Kiddiridde omukyala ono okwemulugunya mu kkooti nti waliwo empappula z'amawulire ezamusingisa edda omusango okusinziira ku ngeri gyeziwandiikamu amawulire.
Nga ayita mu munnmateekawe MacDusman Kabega, Sarah Nabikolo yewunya lwaki kkooti ne poliisi tebafuddeyo ku biwandiikibwa…
Omusango gwabamaseeka 18 abavunaanibwa okutta abakulembezwe b’abayisiraamu 2 gwongeddwayo okutuusa nga 12 February omwezi ogujja.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi olukulembeddwamu Doreen Elima okutegeeza kkooti nga okunonyereza ku musango guno bwekukyagenda mu maaso era n’asaba kkooti akadde akalala polisi esobole okukomekkereza okunonyereza kwaayo.
Ku bavunaanibwa kuliko akulira abatabuliki be Nakasero Amiir Umma sheikh Yunus Kamoga ssaako n’abatali basiraamu…
Munnamawulire eyakubibwa owa poliisi n’amutuusako obuvune akyakonkomaliridde mu ddwaliro e Nsambya.
Kino kivudde ku poliisi okulememerwa okusasula ebisale by’eddwaliro gy’amaze akabanga ng'ajanjabibwa.
Andrew Lwanga asiibuddwa okuva mu ddwaliro lino enkya ya leero naye nga tebamuta kubanga bamubanja akakadde kamu n’emitwalo abiri ezirina okusasulwa poliisi.
Tugezezzaako okukuba essimu y’ayogerera poliisi mu ggwanga okubaako nekyayogera ku nsonga eno naye nga…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Ssabasajja abajja ab’amagombolola okwewaayo okukola emirimu gya Ssabasajja nga tebekuluntaza.
Katikiro okwogera bino abadde atongoza abaami ba Ssabasajja abajja 172 abalondebwa ku nkomerero ly’omwaka oguwedde.
Owek Mayiga agambye nti okuweereza Ssabasajja si mulimu gyabwanakyewa wabula bakolerera kitibwa kyabwe.
Mayiga agambye nti abaami ba Ssabasajja aba magombolola y’entabiro y’okuzza Buganda…