Abantu abatannaba kutegerekeka balumbya abantu bana ab’omumaka agamu nebamatemateema n’enju yaabwe nebagiteekera omuliro.
Kenneth Kalongo, Geoffrey Ntezimana, Margret Tusimire ne maama waabwe Molly Kyomugasho beebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulumbibwa misana ttuku
Bino bibadde ku kyaalo Yibale mu gombolola ye , Ntuusi ng’amaka agalumbiddwa ga Benoni Kazujyuri.
Abatemu bano era babbye n’ensimbi enkalu ezitanyiddwa muwendo.
Kazujyuri agambye…
Waliwo munnayuganda addukidde mu palamenti ng’ayagala esseewo etteeka erinayamba abakozesa amasimu obutabbibwa.
Justus Amanya agamba nti kkampuni z’amasimu zafuuse nzibi zenyini nga zisala n’ensimbi ku masimu agatayiseemu okwo kw’ossa n’emikutu egisakaala
Bw’abadde asisinkana sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, Amanya agambye nti n’akakiiko kenyini akakola ku byempuliziganya tekayambye ba kasitoma
Kati Kadaga asuubizza ng’ensonga eno bw’agenda okugitegeeza akakiiko akakola…
Abakulembe ba badereeva mu paaka enkadde babiri bagguddwaako emisango nebasindikibwa e Luzira lwakukuba ba dereeva banaabwe
Ku basibiddwa kuliko Michael Ssekiziyivu akulira eby’okwerinda aka TAPSCOM era ng’ono mukwasisa mateeka mu KCCA.
Basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Pamela Ocaya emisango nebagyegaana
Oludda oluwaabi lugamba nti ba dereeva bano nga basinziira mu paaka enkadde baakuba David Mwanje ne Simon…
E Rakai waliwo omusajja akubiddwa amasasi agamutiddewo bw’abadde alwanagana n’abaserikale ba poliisi ababadde bagenze okumukwata.
Bernard Kasumba y’atiddwa oluvanyuma lwa lwa poliisi okumuzingako akwatibwe lwakulumba muwalala wa muliraanwa we n’ejambiya n’amutematema era nga kati ye Phionah Namaganda ali muddwaliro mu mbeera mbi.
Kusumba abadde yaakayimbulwa okuva mu kaduukulu ka poliisi lwakunywa njaga nga era abadde awera okutema…
Poliisi eyiiriddwa okwetolola Hotel ya Speke wano mu Kampala oluvanyuma lw’abakozi okukeera okwediima nga bawakanya embeera embi gyebakoleramu.
Poliisi ekulembeddwamu aduumira poliisi mu massekati ga Kampala Henry Kintu nga era agamba nti bafuba kulaba nga abakozi bano abasoba mu 100 teboonona kintu kyonna n’obutakola ffujjo lyonna.
Gyebuvuddeko twayogeddeko n’abakozi bano neboogera ekibaluma.
Mungeri yeemu ekibiina ekigatta bananyini zi…
Eby’okwerinda binywezeddwa ku muzikiti gwa Old Kampala nga ebiwayi by’abasiraamu ebyenjawulo byetegekera swala ya Juma egendereddwamu okugatta abasiraamu bonna.
Swala ya Juma yakukulemberwamu Mufti wa Uganda Sheikh Ramadan Mubajje .
Mubatalutumidde mwana kwekuli ssentebe wa disitulikiti ye Luwero Haji Abdul Naduli akubirizza abasiraamu bonna okwerabira enjawukana begatte.
Wabula kyo ekiwayi ky’Kibuli ekikulembererwamu Supreme Mufti Sheik Zubairi Kayongo baweze…
Abadde alina ekirooto ekyegatta ku poliisi takituukirizza bw’afudde ng’ali mu lugendo wlw’ekirooto kye
Bonaventure Ayetetse yoomu ku bakeera okugenda okwewandiisa okwegatta ku poliisi ku lw’okusatu era yali akola dduyiro n’agwa eri.
Ono yaddusibwa mu ddwaliro gy’afiridde olunaku lwaleero
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Serunjogi agamba nti omugenzi yaddukako katono n’atandika okussa obubi era ekyaddirira kugwa eri
Serunjogi agamba…
Abayizi abasoba mu mitwalo kkumi n’etaano beebatafunye masomero gebasaaba mu siniya esooka.
Kino kivudde ku kubeera nti obubonero bwaabwe bubi oba ng’amasomero gebaasaba gajjuzza
Bino byebimu ku biri mu kusunsula abayizi okugenda mu maaso wali ku Kampala international yunivasite e Kansanga
Amasomero agasinga gasigadde ku bubonero kwebatwalira abayizi omwaka oguwedde olw’ensonga nti abayizi baakola bulungi.
Essomero kya Ndejje okugeza…
Gavumenti esabuludde engambo ezibadde ziyitingana nti minisita akola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga Frank Tumwebaze yawummuziddwa
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwaawo , minisita akola ku byobukuumi Muruuli Mukasa agambye nti Tumwebaze yagenze mu kuwummulako era teri amunonyerezaako
Kiddiridde emikutu egitali gimu okutegeeza nga Tumwebaze bweyawummuziddwa ku bwa minisita wa kampala nga bw’anonyerezebwaako ku bigambibwa nti waliwo obuwumbi 10 obwasangibwa ku…
Ebiyenje bitawaanya bangi nga n’ababeera mu Taiwan bibalumba
Kati omukazi abadde ayagala okutta ekiyenje n’akikumako muliro amalirizza effumbiro alyokyezza
Omuliro guno alese gwaaka n’ateekako kakokola tondeka nyuma.