Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

E Mulago teri sikaani

E Mulago ekyuma kya sikaani ekyafa mu ddwaliro e Mulago kirese abalwadde bangi nga basobeddwa. Jennifer Namwebe ow’emyaka 25 yomu kubalwade e Mulago, atutegeezeza nti atubidde n’omwana we ow’emyaka esatu eyafuna obuvune ku bwongo. Namwebe agamba nti abalwadde abalala babasindise Namirembe ne Lubaga kyokka nga yye yasobeddwa kuba talina ssente Mu malwaliro amalala CT sikaani eri wakati w’emitwaalo…

Read More

Afudde nguuli

Omusajja ategerekeseeko erya Mucunguzi afiiridde mu mpaka z’okunywa waragi Bino bibadde ku kyaalo Kajju mu disitulikiti ye Rakai Ono yakayaanye ne banne nti asobola okunywa liita za Waragi 3 mu ddakiika ttaano. Nanyini baala eno Dorothy Namatovu agambye nti omusajja ono kituufu waragi yamunwedde mu ddakiika ezitawera ttano kyokka olw’amazeewo bw’ati n’akondoka n’agwa eri Ono bamuddusizza mu ddwaliro kyokka…

Read More

Omwana asangiddwa nga mufu

Ku kyaalo Tekulu mu minicipaali ye Lira, waliwo omwana w’ekibiina ekisooka asangiddwa nga mufu wajjo Omwana ono abadde yeebase mu kayumba okuliraana essundiro la Gapco kilomita nga 70 okuva ku nju yaabwe Mwanyina w’omugenzi Monica Akao agambye nti mutabani we yavudde ewaka ssaawa nga emu eya kawungeezi n’agenda ku luguudo okugula pen era teyakomyeewo. Omwana ono agambye nti…

Read More

Omulambo e Namugongo- attiddwa banyina

Abatuuze be Kyaliwajjala Namugongo baguddemu entiisa bwebasanze omu ku munaabwe ng’agalamidde mu kitaba ky’omusaayi nga mufu wajjo Omukyala ono abadde n’ebiwundu ebya maanyi ku mubiri gwe gwonna. Kiteberezebwa nti omukyala ono atemeddwatemeddwa banyina ng’obuzibu bwonna nkayaana za ttaka Atwala poliisi ye Kiira Peter Nkulega agamba nti batandise omuyiggo gw’abagambibwa okutemula omukyala ono  era nga waliwo n’abamu beebamaze okukwata.

Read More

Palamenti eddamu nkya

Palamenti ya yuganda olunaku olw’enkya lw’etegese okuddamu okukakkalabya emirimo gyaayo, ng’eva mu luwummula lw’emazeemu ebbanga okuviira ddala mu December. Agavaayo galaga nga  palamenti  egenda okutandikira mu ky’okuteesa ku bbago erirambika okuwandiisa abantu n’eryo erissaawo ebibonerezo ebikakali eri abalya enguzi Ng’ayogerako eri bannamawulire , omwogezi wa palamenti ya uganda  Hellen Kaweesi, agambye nti Bakussa nnyo essira ku bbago…

Read More

Abatembeeyi bakubiddwa mizibu

Poliisi ye  Butenga mu disitulikiti ye  Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’omusuubuzi akubye abatembeeyi katono abatte  lwakukyama mu maka ge okuguza ku b’enyumba ye ebintu. Abatembeeyi okuli Brian Matovu 30 ne  David Mbazira 25  baddusiddwa mu ddwaliro lya Butenga Health Center nga bali bubi oluvanyuma lw’okuwuttulwa omusuubuzi  Joseph Mbusi. Kigambibwa nti  Matovu ne Mbazira babadde batera okukyama ,…

Read More

Gavumenti evudde mu Ongwen

Gavumenti esuubizza kkooti y’ensi yonna obuyambi bwebetaaga mu kuwulira omusango gw’eyali omuyeekera wa Kony nga ono ye Dominic Ongwen. Nga ayogerako ne bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala, ssabawolereza wa gavumenti  Peter Nyombi ategezezza  nga bweyaweerezza edda ebbaluwa eri kkooti y’ensi yonna okulaga obumalirizu ku nsonga eno. Nyombi ategezezza nga gavumenti bwetalina kigendererwa kyonna kyakuwolereza Ongwen…

Read More

Muntu akkirizza nti ekibiina tekirina ssente

Ssenkagale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu akkirizza nga ekibiina kye bwekitubidde mu katuubagiro k’ebyensimbi. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe  ky’ekibiina wali e Najjanankumbi Muntu ategezezza nga bwebatasobola kutalaaga ggwanga kumanyisa bantu ku bigendererwa by’ekibiina lwabbula lya nsimbi. Omusango agutadde ku gavumenti kulemererwa kuwa bibiina byabufuzi mutemwa gwabyo nga bwekilambikiddwa mu mateeka. Wabula Muntu agamba kino…

Read More

Lukwago alumbye gavumenti ku masomero agatundibwa

Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago ateeredde gavumenti akaka olw’okulemererwa okukuuma amasomero okuva eri bamusiga nsimbi abesomye okugasayawo beddize ettaka kwegatuula bazimbewo ebizimbe . Bw’abadde ayiseeko  ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary School, Lukwago ategezezza nga bwekitali kyabwenkanya gavumenti kuwaayo masomero gano nga tenateekeratekera wakuzza baana bagasomeramu. Kino kiddiridde okusendawo kw’essomero lya Nabagereka  Primary school omwezi oguwedde nga…

Read More

Buganda Royal Institute etikkidde

Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga ayagala ettendekero lya Buganda Royal Institute lifuuke eky’okulabirako eri amatendekero k’ekika kino mu kitundu kya East Africa. Ng’ayogerera ku mikolo gy’okutikkira abayizi, katikkiro agambye nti emisomo gy’omumitwe gisaanye okwongerwaamu amaanyi ebbula ly’emirimu bweriba nga lyakuggwaawo. Ono agamba nti abakulembeze ba gavumenti mu kitundu ky’obuvanjuba bwa Africa basaanye okuwagia kino bwebaba…

Read More