Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga balumbye gavumenti olw’obutakola kimala kukuuma masomero agasanyizibwaawo
Okwemulugunya kuno kuleeteddwa omubaka we Lwemiyaga ng’ono ensonga ye ewagiddwa ababaka okubadde Medard Ssegona, JosephSsewungu, Odonga Otto,ne Paula Turyahikayo nga bonna basabye nti gavumenti enyonyole lwaki terina ky’ekoze ng’amasomero gagenda
Wabula ekyewunyisizza minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo naye omusango agusalidde minisitule ekola ku nsonga z’ettaka gy’agamba…
Disitulikiti ye Wakiso y’enywedde mu distulikiti zonna akendo mu bigezo bya siniya y’okuna ebifulumiziddwa.
Disitulikiti eno evuddemu first grade 5009 ng’eddiddwaako Kampala ne first grade 3,329 nekuddako Mukono, Mbarara, Luweero, JJinja ne Bushenyi
Ate zzo ezisinze okukola obubi kuliko Buvuma,Namayingo, Amorati ,Nakapiripiriti ,Bukwo Bulisa ,Kalangala, Katawi Bundibugyo ne Kotido
Ggo amasomo ga sayansi gakyekubya abayizi empi
Kyeyolese bulungi nti…
Enteekateeka za loodimeeya okudda mu ofiisi zongeddwaamu amaanyi ssabaminista Dr Rukahana Rugunda bw’asisinkanye ba kansala
Dr Ruhakana Rugunda ategeezezza ba kansala nti ekyayisizza olukiiko kumanya wa obuzibu webuva mu KCCA n’engeri gyebiyinza okwewalibwa.
Ono wabula asabye ba kansala bano okussa ekitiibwa mu biri mu kkooti nga boogera ku buvo bwobuzibu.
Ensisinkan eno yabadde ku ofiisi y’omukulembeze w’eggwanga nga…
Abantu babiri beebafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu kooki ebadde eva e Nairobi ng’edda e Kigali
Abafudde babadde ku baasi eno ng’omu ye Kango, abadde agivuga era munnansi wa Tanzania n’omukyala atategerekese
Atwala poliisi ekola ku bidduka e Rwizi Patrick Mungasa agamba nti dereeva ono kirabika yabadde akooye nga baasi yamulemedde n’eva ku luguudo olwo neyevulungula emirundi egiwera
Abantu abalala…
Bannayuganda abasuubulira mu ggwanga lya South Sudan bazzemu okubanja gavumenti ebazimbire akatale ku nsalo eyawula amawanga gombi.
Abasuubuzi bano bagamba nti okubeera n’akatale ku nsalo eyawula amawanga gano kyakubataasa okutibwa n’okufiirwa ebyabwe singa okulwanagana kuddamu mu ggwanga lya South Sudan.
Kati ssentebe w’abasuubuzi bano Rashid Manafwa agamba banaabwe banji bafiiridde munda mu ggwanga lya south Sudan lwakulemererwa…
Poliisi ye Seeta Nazigo mu disitulikiti ye Mukono eriko basajja baayo bekutte lwakunywa nnyo mwenge neberabira emirimu saako n’okubuzaawo fayilo z’emisango.
Abakwatiddwa kuliko n’atwaala poliisi ya seeta Nazigo Steven Were ne Okero Wadanga.
Bano bakwatiddwa ku biragiro by’aduumira poliisi e Mukono Kayemba Kikonyogo oluvanyuma lw’abatuuze okwemulugunya nti bano ebiseera ebisinga baba bakongokka mumbejja namaalwa mu biseera by’okukola.
Kayemba…
Waliwo omwana ow’emyaka 4 atomeddwa pikipiki n’afiirawo ku luguudo lwe Rakai.
Jimmy Lubega 4, nga abeera Kyotera mu tawuni kanso ye Rakai atomeddwa pikipiki eno UEF 954Y ebadde efuumuka obuweewo nga adda ewaka.
Taata w’omugenzi David Matovu ategezezza nga mutabaniwe bwatomeddwa nga ava ku dduuka okugula sukaali akawungezi akayise nga era amawulire gano gamukubye wala.
Aduumira poliisi y’ebidduka…
Ebyava mu bigezo bya siniya 4 bifulumye nga era abayizi bakoze bulungi okusinga ku mulundi ogwayita.
Abalenzi bakozi bulungi okusinga banaabwe abawala nga era abalenzi 9.2% bayitidde mu ddaala erisooka bwogerageranya n’abawala ku bitundu 6.1%
Wabula ebigezo by’abayizi 1939 bikwatiddwa lwa kubba bigezo okuva mu masomero 97.
Ku gamu ku massomero agaluguddemu kuliko St mary’s Lacho nga eno…
Mu ggwanga lya America, omusajja asudde obumonde mu kabuyonjo n’ezibikira, akubidde abaziinyamooto okumuyambako oluvanyuma lw’amazzi okubimba
Omusajja asoose kuyita poliisi nga tejja kwekuyita abaziinyamooto.
Abaziinyamooto bwebatuuse ku kizimbe bagobye buli omu abadde ku goloofa kw’asula kyokka yye
Kkooti eremezzaayo ekibonerezo ky’okutta abantu 183 abagambibwa okwekalakaasa okwaali mu ggwanga lya Misiri mu mwaka gwa 2013
Bano beebamu ku bagambibwa okulumba poliisi nga beekalakaasa nebatta ba ofiisi 11
Abakulu bano baali beekalakaasa nga bavumirira eky’okugoba omukulembeze eyali muntebe Mohammed Morsi okuva mu muslim brotherhood.