Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ajjukizza bannaUganda okukomya okuyimba ebintu ng'enguudo buli olukedde nebeerabira nti teri muntu n'omu luguudo gwelugasa kusitula nnyingiza ya mumakage.
Museveni agambye ebitundu ebimu enguudo zizimbiddwa naye abantu bangi bakyeyaguza luggyo obwavu bukyabasibye empeta kwekusaba abantu ezo ennyimba bazifunire olukato baziwummule benyigire nnyo mu mirimu ng'ennina n'obulunzi obwomulembe.
Bino abyogeredde mu lukungaana lwakubye…
Ekitongole ekiwooza ky’omusolo kirabudde bannayuganda okwewala okugula emmotoka eziriko enamba engwiira.
Mu December w’omwaka oguwedde, ekitongole kino ne poliisi y’ensi yonna baabowa emmotoka nga zino 47 nga ziriko enanmba z’amawanga amalala nga ezisinga zaali nzibe.
Okusinziira ku kamissiona avunanyizibwa ku byamaguzi ebiyingira eggwanga James Kisaale,agamba bannayuganda banji baagala nnyo okugula emmotoka zino ennungi ku bbeeyi eyawansi wabula…
Waliwo omuyizi w’essomero ow’emyaka 16 e Lwemiyaga mu disitulikiti ya Sembabule awanuse ku kabangali n’agwa wansi n’afa.
Ivan Matovu abadde muyizi ku somero lya Lwemiyaga Secondary School abadde asoma siniya 2 afudde atuusibwa mu ddwaliro lye Ntusi.
Akabenje kano kagudde kumpi n’ekanisa yomu kitundu kabangali UAD 364K ebadde etutte ku muvubuka eno bwetomedde payipu y’amazze musajja wattu…
Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda Stanley Ntagali avumiridde abavubuka abasikira ebyobugagga okuva ku bakadde baabwe ate ekiseera bwekitambula olwo nebabikkakanako nebabitunda.
Ssaabalabirizi Ntagali bino abyogeredde mu busaabadinkoni bw'e Kaggulwe e Butambala mu kulambula kwaliko okwa ssabiiti ennamba mu diocese eya central Buganda.
Asabye abasumba b'ekkanisa okufaayo balwanyise omuze guno mu bavubuka nga babawa amagezi kko n'okubabuulirira ku ngeri…
Omuvubuka abadde akooye okubeera ku kompyuta ate nga yagimanyiira yetemyeeko omukono.
Omuvubuka ono ow’emyaka 19 okuva mu China alese akabaluwa mu kisenge kye ng’agamba nti asazewo okwetemako emikono okusobola okwewala okukwata ku kompyuta
Omuvubuka ono okumanya abadde akooye n’omukono gweyetemyeeko afubye ogukweka kyokka nga gumaze neguzuulwa
Ssabasajja kabaka asiimye okukyalako mu ssaza lye erye Buluuli nga 23 omwezi gw’okutaano
Bino byogeddwa katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri nasisi w’omuntu akungaanye okusonda ettofaali
Katikkiro agambye nti ssabasajja Kabaka ayagala nnyo abantu be ab’omu Buluuli era asiimya okubalabako.
Okulangirira kuno kuzze wakati mu kwemulugunya okuva mu baluuli abamu nti tebali wansi wa…
Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okukandula ku maloboozi ku bulwadde bwa kokoolo
Olunaku luno lwassibwaawo okulaga abantu obubi obuli mu kokoolo na biki ebikoleddwa abantu, gavumenti n’abakulembeze b’ebitundu
Omwaka guno, olunaku lutambulidde ku nyingo y’okubeera abalamu, okwekebeza kokoolo, okufuna obujjanjabi n’engeri gyebuyinza okulwanyisibwaamu
Mu Uganda minisitule y’ebyobulamu erangiridde nti okugema abaana abawala kokoolo wa nabaana…
Uganda eyolekedde akaseera k’ebbula ly’abakulembeze abanakulemberamu enkyukakyuka
Eyali akulira ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye agamba nti ekizibu kivudde ku basomyeeko okutya eby’obufuzi .
Dr. Besigye wabula agamba nti embeera eno esobola okuggwaawo ssinga akakiiko akalondesa tekabaamu kyekubiira abantu nebaddamu okukkiririza mu kulonda
Besigye bino abyogedde akyalidde munnamawulire wa WBS eyakubwa Andrew Lwanga era ng’eno gy’asinzidde n’avumirira ebikolwa…
Enteekateeka ya poliisi ey’okuyingiza abanu abapya etambula bulungi
Poliisi yeetaga abantu 5500 okunyweza eby’okwerinda nga yetegekera okulonda kwa 2016
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti mu bitundu ebisinga, abantu abaasaba ebifo bayise ku bebaagala.
Enanga agamba nti kino kiraga nti abantu balina obwesige mu poliisi kale nga kino kibazzizzamu amaanyi
Poliisi ye Entebbe yakamala emyaka esatu nga tesasula za bupangisa
Nanyini mayumba gano Paul Zikuliza agambye nti poliisi yalina okumusasulanga shs akakadde kamu mu emitwalo 15 buli mwezi kyokka nga yasasulako emyaka esatu n’ebivaako
Zikuliza agambye nti yye ky’ayagala kusasulwa nsimbi z’abanja oba nandi ki poliisi esenguke
Yye akulira poliisi ekwatagana n’omuntu wa bulijjo mu kampala n’emiriraani Anatori…