Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abazungu balambudde amasiro ge Kasubi

Abakungu 3 okuva mu kitongole eky’amawanga amagatte ekirabirira ebifo byobuwangwa olwaleero bakyaddeko mu masiro e Kasubi, okulaba omulimu gw’okuzimba amasiro gano wagutuuse. Bano nga bakulembeddwamu Joseph King bagambye nti baasabibwa gavumenti ya Uganda okujja okwetegereza engeri amasiro gyegazimbibwa okulaba nga gatuukana n’omutindo. Olunaku lw’enkya bano bakusisinkana Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n’oluvanyuma bakuwandiika alipoota ku mulimu…

Read More

Munnamawulire akiguddeko

Munnamawulire abadde mu kkooti essimu ye n’evuga atanziddwa emitwalo 10 Muzafaru Nsubuga kino ssinga kimulema wakwebaka e Luzira ssabbiiti bbiri Ono abadde agenze kusaka mawulire agakwata ku mumerika agambibwa okukubisa doola ez’ebikwangala Omulamuzi omukulu mu kkooti ya Buganda road Lilian Buchana y’awadde munnamawulire ono ekibonerezo Omwezi oguwedde, era waliwo omukulu mu minisitule y’ebyenjigiriza eyatanzibwa emitwalo etaano lwa ssimu ye…

Read More

Abakyala batabuse ku butambi

Abalwanirira eddembe ly’abakyala bavumiridde eky’okubunyisa obutambi ku mikutu gya yintaneti Akulira ekibiina kya FIDA Irene Ovongi Odida agamba nti ebikolwa nga bino bigendereddwaamu kuwewula bakyala n’okubasiiga enziro Ovongi agamba nti abantu abatambuza obutambi buno balina okukwatibwa ate era bavunaanibwe okusindika eky’okuyiga eria bakikola Ono asabye abakozesa obutapapiriza kugoba bakyala balabikira mu butambi buno kubanga tebaba na musango. Kino kiddiridde…

Read More

Omusibe abadde atoloka attiddwa

Mu ggwanga lya Ghana, omuntu y’afudde n’abalala bana ne balumizibwa mu kavuyo akabaddewo ng’abasibe bagezaako okutoloka Abasibe bano babadde bakozesezza akakisa k’omuliro ogukutte mu kkomera Abakuumi beezoobye n’abasibe okukkakkana nga basseeko omu n’okulumya abalala bana Abasibe bano okudduka babadde bajjibwa mu kadukuulu akakutte omuliro nga babazza wegutali Ekivuddeko omuntu tekinnategerekeka

Read More

Abasawo bannayuganda 100 bakwolekera obugwanjuba

Gavumenti yakusindika abasawo abasoba mu kikumi mu bugwanjuba bwa Africa okuyambako okulwanyisa ekirwadde kya Ebola Kamisona atwala ekiwayi ekikola ku kiziyiza endwadde mu minisitule y’ebyobulamu Alex Opio agamba nti Ebola akyaali wabulabe eranga amawanga gonna gali mu bulabe okumufuna okuli ne Uganda Opio agamba bukyanga bulwadde buno butandika nti abantu 900o beebafudde ekirwadde kya Ebola ate abalala…

Read More

E Buwama bazaalira ku tooki

Eddwaliro lya gavumenti e Buwama liri mu mbeera mbi lwa bbula ly’amasanyalaze. Eddwaliro lino libanjibwa ensimbi ezisukka mu kakadde akalamba nga era bamaze ebbanga nga bali mu kibululu oluvanyuma lw’amasanyalaze gano okusalibwaako. Ekikwaasa ennaku bannakazadde b‘eggwanga bazaalira ku tooki n’amataala g’emikono nga era abamu bajjibwako ensimbi eziri wakati w’olukumi  n’enkumi ebbiri  okugula amafuta oba obusubbaawa okumulisa nga…

Read More

Eby’obutambi bitabuse- Eyabubunya akwatiddwa

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okutandika okubunya obutambi obuliko obuseegu nga buno bulaga munnamawulire Sanyu Mweruka nga yerigomba n'omusajja. Ongom Kizito bangi gwebamanyi nga Kasumaali kati akuumibwa ku poliisi ye Katwe. Omusasi waffe ali ku poliisi eno atutegezezza nga Kasumaali bwatuusiddwa ku poliisi ye Katwe emabega wa kabangali. Aduumira poliisi ye Katwe Ibrahim Saiga akakasizza okukwatibwa kwa Kasumaali.   Bino bijidde…

Read More