Bannakibiina kya NRM boolekedde Kyankwanzi awali olusirika lwaabwe olutandika olunaku lw’enkya
Bano bagenda kusinziira mu lusirika luno okwongera okuttaanya ensonga y’okuyisaawo omuntu omu nga tavuganyiziddwa mu kulonda kwa 2016
Bano bakumala ennaku 7 e Kyankwanzi .
Bino nno nga biri biti, bannabyabufuzi abavuganya gavumenti bavumiridde ekikolwa ky’abakulembeze mu kibiina kya NRM okuyita olukiiko lwaabwe nga bakimanyi nti palamenti…
Bannadiini basabiddwa okwongera okulambika abantu mu mpisa enungi wamu n’okwongera okuvumirira ebikolwa eby’okusasanya obutambi obw’obuseegu.
Omwogezi ekitongole kya Uganda counselor Association Ali Male agambye nti bannadiini beebalina okutaasa eggwanga ku bikolwa ebyobuseegu.
Kinajukirwa nti poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku butambi obwobuseegu obugambibwa okuba obwa munnamawulire Robina Mweruka ne Ongom Kizito Kasumaali
Minisitule y’ebyentambula esabiddwa okuzimba ebifo ebikyazimbwamu oba ziyite zikabuyonjo ku nguudo ezigenda ewala.
Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku by’entambula Ephraim Biraaro agambye nti enguudo ezisinga obungi tezirina bifo bikyamirwaamu, ekiviirako abantu okweyamba mu nsiko.
Biraaro agambye nti obubi buno enkuba buli bw’ebutonnyamu ebukulukusa okutuuka mu nzizi ekivaamu obulwadde.
Eggwanga lya Equatorial Guinea likubiddwa kayini ya mitwalo 10 egya doola olw’okulemererwa okufuga abantu baalyo mu mupiira gweryazannye ne Ghana olunaku lwajjo
Ab’ekibiina kya CAF bagamba nti omupiira guno nebweguba gwakuddibwaamu, abawagizi tebajja kukkirizibwa kubaawo.
Equatorial Guinea era eragiddwa okusasula obujjanjabi bw’abawagizi 36 abalumiziddwa mu kavuyo.
Bbo abalumiziddwa abalala 14 bali mu malwaliro ng’okunonyereza ku nsonga eno kukyagenda…
Mufti wa Uganda sheikh Shaban Mubajje olwalero akyaliddeko Sheikh Yunus Kamoga n’abalala 17 mu kkomera e Luzira abavunaanibwa emisango omuli obutemu n’obutujju.
Kamoga ne banne bavunaanibwa okutta sheikh Mustapha Bahiga ,Sheikh Abdul- Kadri Muwaaya wamu n’okugezaako okutta sheikh Haruna Jjemba.
Mubajje agambye nti wadde bali ku meere e Luzira tebalina musango okutuusa nga kkooti emaze okubasingisa emisango…
Kooti ekola ku misango gyebyobusubuzi eyisse omuyimbi Jose Chameleone yenyonyoleke kubigambibwa okuba nti yagaana okuyimba mu kivvulu kya Afrika Mashariki mu ggwanga lya Kenya kyokka nga yali asasuddwa.
Kampuni ya Tendo Grill Limited ng’eyitta mu banamateeka ba Muwema and company advocates, eyagala Chameloene abasasule obukadde 9.9, olwokugaana okuyimba.
Kigambibwa nti Chameleon yalina okuyimba enaku 3 okuva nga…
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni aweze okufaafagana n’abo bonna abatagoberera mateeka.
Museveni okwogera bino abadde mu disitulikiti ye Moroto ng’amaggye gakuza olunaku lwa Terehesita olw’omulundi ogwa 34.
Museveni atenderezza amaggye ga UPDF olw’okulwana okujja emmundi mu mikono gy’abantu ba bulijjo era ng’emmundu 3200 zeezakafunibwa okuva mu mwaka gwa 2001.
Museveni agambye nti gavumenti yakwongera okutumbula eby’entambula mu kitundu…
W’owulirira bino nga emikolo emikulu egy’amagye egya Tarehe Sita egy’omulundi ogwa 34 gitandise wali mu disitulikiti ye Moroto.
Abakungu ba gavumenti okuli ne ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda, akola nga ssabalamuzi mu kiseera kino Steven Kavuma n’abalala batuuse dda ewali emikolo gino.
Yye ssabaduumizi w’eggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala ategezezza nga bannayuganda bwebasanye okwenyumiriza mu ggye eririwo…
Poliisi ye Bukomansimbi etandise okunonyereza ku bantu abatanategerekeka abalumbye ekyalo kye Kiwenjula nebasimula entaana 2 nebakuliita n’emirambo egyabaddemu.
Abagenzi Birizita Nakibule ne bba Alleni Bukenya abaafa mu 1987 beebasimuddwa.
Bbo abatuuze balumiriza nti teri kulonzalonza basawo b’ekinanasi bebasimudde abafu baabwe.
Wabula yye omu ku b’enganda z’abagenzi Elias Bukenya agamba wandiba nga waliwo ab’enganda baabwe abalala abaasimudde abafu bano…
Entiisa ebutikidde abatuuze be kirinya Butooke ,ekimotooka ekitambuza ebikajjo ekya kampuni enkozi ya sukali eya metha bwekisabadde abantu babiri nebafa.
Abagenzi ye Lawrence Sibutta nga yabadde atwala eby’okewerinda ku kyalo kino wamu ne Magreat Nambi omusawo mu ddwaliro lya gavumeti elya Seeta Nazigo Health center 111.
Abagenzi babadde batabulira ku pikipiki bajaj boxer nga bagenda mu nimiro.
kino kivudde…