Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Poliisi eyongedde okutabuka ku buseegu- Enoonya Zari

Poliisi yakuvaayo ne alipoota ku butambi bw’obuseegu obuzze bulabikira ku mikutu gya yintanenti egitali gimi Okunonyereza okwakolebwa kulaga nti obutambi buno obusinga bwafulumizibwa ab;omukwano beeba bakyaakye, ate obulala bufulumizibwa ababbi ababa bagaala ensimbi mu bali mu butambi buno Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti bano babadde balondoola entambula y’obutambi buno ku Facebook ne Watsup…

Read More

Abalondebwa mu NRM ssibakuva mu bifo byaabwe

Abakulembeze b’ekibiina kya NRM baalondebwa omukulembeze w’eggwanga ku bifo by’ekibiina ebyokuntikko ssibakulekulira bifo byabwe byebabadde nabyo. Bino byogeddwa nampala w’ekibiina w’ekibiina kino agenda okuvaako Kasule Lumumba oluvanyuma lw’okulondebwa ku bwa ssabawandiisi w’ekibiina n’abalala 3. Wabula Lumumba mukakafu nti olusirika lwabannakibiina lwebalimu e Kyankwanzi werunagwera omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni anaaba amaze okufuna abanabaddira mu bigere. Abalala abalina okufunirwa abasika…

Read More

Musanvu bakwatiddwa e Mayuge

Poliisi eriko abantu 7 bekutte ku byekuusa ku kutibwa kwa ssentebe wa LC 3 e Buyinja Tito Okwale eyakubibwa amasasi mu makage e Mayuge wiiki ewedde Emmundu era ezuuliddwa mu kunonyereza okukyagenda mu maaso. Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba waliwo n'abaserikale ba poliisi 22 okuli n’aduumira poliisi mu Bukiika kkono bwa Busoga  Moses Muluuya…

Read More

Kabaka awaabye ow’ekika ky’ente

Ssabasajja Kabaka w Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akubye akulira ekika ky’ente mu mbuga z’amateeka lwakwezza ttaka ly’ekika ky’ente. Mu biwandiiko ebireeteddwa mu kkooti ekola ku nsonga z’ebyettaka, ssabasajja alumiriza  Katongole Samuel Miwanda okwezza ettaka erili ku poloti 1082 wali e Katwe mungeri ey’olukujjukujju. Nga ayita mu bannamateekabe aba  Kafeero and Company Kabaka ayagala erinya lya  Katongole…

Read More

Amasomero asatu gaggaddwa

Ekitongole kya Kampala capital city authority kigadde amasomero 3 mu divizoni ye Makindye. Amasomero agagaddwa kuliko Bukedde primary school, Makindye Parents care ne  Pavic school oluvanyuma lw’okusangibwa nga tegatuukagana na mutindo. Amyuka omwogezi wa KCCA  Robert Kalumba ategeezezza ng’amasomero gano bwegasangiddwa nga tegalina basomesa betaagisa okusomesa mu ssomero eddamba, ebibiina bitono ddala nga ne kabuyonjo zibadde mu…

Read More

Abasawo bayambeko abantu okwetta- Canada

Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga lya Canada ekkirizza abasawo okuyambako abalwadde abali mu bulumi okufa Kino kyaali kyassibwaako envumbo mu mwaka gwa 1993. Mu kusalawo kwa kkooti , kkooti egambye nti kuno kuba kulinyirira ddembe lya bannansi ba Canada ababeera mu bulumi ng’ate tebajja kuwona Ensonag eno yali yatwalibwaayo bannakyeewa nga bakikiridde abakyala babiri abaalina obulwadde obutawona nga bagaala…

Read More

Okutambulira ku nyonyi tekujjaamu mbuto

Ettendekero ly’abakugu mu nsonga z’abakyala mu ggwanga lya Bungereza litegeezezza nti omukyala w’olubuto olukulu okulinnya enyonyi ssikyabulabe nga bangi bwebabadde babitebya Bano batunuulidde abalina embuto ezisukka mu wiiki 28 Kkampuni z’enyonyi nyingi zirina amateeka eri abakyala b’embuto nga tezikkiriza abamu kusabaaliraku nyonyi zaayo Bannasayansi bano bagamba nti yadde buli Muntu asabaalira mu nyonyi akosebwa amasanyalaze olw’entambula y’enyonyi, tewali…

Read More

Ababaka abatalina bibiina abali e Kyankwanzi bannakigwanyizi

Ababaka ba palamenti abatalina kibiina kyabufuzi mwebava balabuddwa obutabaamu kyekubira eri ekibiina ky’obufuzi kyonna  nga bakola emirimu gyaabwe. Kino kiddiridde ababaka abatava mu kibiina kyonna 35 kwabo 43 okwetaba mu lusirika lw’ab’ekibiina kya NRM wali e Kyankwanzi. Ssentebe w’ababaka bano mu palamenti  Sam Otada agamba abo bonna abetabye mu lusirika luno bannakigwanyizi nga era basaanye okuvumirirwa. Otada wabula…

Read More