Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abaana banywedde obutwa

Poliisi ye Namutumba etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abayizi b’essomero lya Namutumba primary school 32 abaawereddwa obutwa. Aduumira poliisi mu disitulikiti eno Tom Bainomugisha agamba abayizi bano baddusiddwa mu ddwaliro e Iganga oluvanyuma lw’okutandika okulumwa olubuto. Bainomugisha agamba obutwa bwandiba nga bwateereddwa mu buugi wabula n’asaba abantu okusigala nga bakkakamu nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso. Agamba yayise…

Read More

Gen kale kayihura akoze enkyukakyuka mu police

    Ssabapolice wa uganda General kale kaihura, aliko enkyukakyuka zaakoze mu police nadala wano mu kampala, nga muno  abaserikale  abamu bayimirizidwa , songa abalala abakyusizza. Munkyukakyuka zino, abade aduumira police mu maserengeta ga kampala James Ruhweza, atwalidwa mu Sipi Region,songa Hajji  Siraji Bakaleke, aleetedwa muserengeta ga kampala e wabade Ruhweza Yye abade aduumira police mu district ye Adjuman…

Read More

Ebya Lukwago bikyaali

Ebya Loodimeeya Erias Lukwago okudda mu wofiisi bikyalimu kigoye Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu ragamba nti enteseganya ezayogerwaako gavumenti zikyakandaliridde yadde nga bazirinze kuva mu mwezi gwa December Oguttu agamba nti ssabaminista Dr Ruhakna Rugunda alina okukubiriza enteseganya zino buli lukya ayongezaayo olw’ensonga nti talina budde Oguttu wabula agamba nti bakyalina essuubi nti biyinza okuvaamu ebibala. Lukwago…

Read More

Airtel yakusakirira emikolo gya Buganda

Obwakabaka wa Buganda butadde omukono ku ndagaano ne kkampuni y’amasimu eya Airtel, okulanga emikolo gya Buganda 4 okumala emyaka 3. Emikola gino mulimu emisinde gy’omutolontoko, amazaalibwa ga Kabaka,amatikkira wamu n’olunaku lwa Eid Elftri Omumyuka wa Katikiro w’okubiri Muhammod Ssekimpi agambye nti kino kyakuyamba obwakabaka okukomya okuyimirirawo ku buyambi okuva mu makampuni amanene. Ssekimpi agambye nti Kampuni ya Airtel…

Read More

Namwandu wa Kasiwukira azzeeyo e Luzira

Namwandu wa Kasiwukira Sarah Nabikolo addiziddwaayo mu kkomera. Nabikolo ne muganda we Sandra Nakungu kko n’omusirikale Ashraf Dedeni balabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka e Makindye George Watyekere abasindise e Luzira okutuuka nga 3 omwezi gw’okusatu omwaka guno. Kiddiridde oludda oluwaabi okutegeeza ng’okunonyereza bwekukyagenda mu maaso Abasatu bano bavunaanibwa kutta mugagga Eria Sebunya eyali amanyikiddwa ennyo nga Kasiwukira Kasiwukira…

Read More

Omukyala eyafiirwa omwana ku KCCa agyiddwaako emisango

Omukyala eyafiirwa omwana ku KCCA ejjiddwaako emisango gy’okutembeeya egyaali gyamuggulwaako Kino  kidiridde  omuwaabi  wa  gavumenti Jackie  Atugonza okutegeeza  omulamuzi  w’eddaala  erisooka  ku  City  Hall  Elias Kakooza  nti  ekitongole  kya  KCCA   kijje enta mu nsonga eno Atugonza  ategeezezza  kkooti  nti  oluvanyuma  lwa  Madinah Namutebi  okufirwa  omwana  we KCCA  tebakyasobola  kumuwozesa. KCCA era yaliyirira omukyala ono obukadde ataano olw’okufiirwa omwana…

Read More

Ali olubuto, tokwata ku mwenge

Abakyala abagaala okufuna embuto oba abalina ento ezitasukka myezi esatu basaanidde ddala okwewala okukomba ku kigambo mwenge Bannasayansi okuva mu ttendekero lya Royal College of Obstetricians and Gynaecologists erisangibwa mu Bungereza. Bano beebamu baali bategeeza nti tewali buzibu ssinga omukyala bw’ati anywaako katono ku mwenge gw’ekika kya Wine Bano kati bagamba nti engeri yokka ey’okutaasa omwana kwekwewalira ddala…

Read More

Omutwe omukulu mu kuttibwa kwa Sentebe akwatiddwa

Amaggye galiko gwegakutte ateberezebwa okubeera  omutwe omukulu mu kuttibwa kwa ssentebe wa LC3 mu disitulikiti ye Namayingo David Tito Okware. Okware y’akubibwa amasasi mu makage e Namayingo abasajja 3 abatanategerekeka nga baali batambulira ku pikipiki etaaliko namba. Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokusatu Capt Dennis Omara agamba  Musa Mucho akwatiddwa e Mbale nga agezaako okusala okudda mu disitulikiti ye…

Read More

Abantu bandyesamba okulonda kwa 2016

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu alabudde nga bannayuganda bwebayinza okuzira okulonda kwa 2016 singa enongosereza mu mateeka g’eby’okulonda teziteekebwa mu nkola. Nga agulawo olusirika lw’ababaka abavuganya gavumenti, Oguttu ategezezza nga bannayuganda bangi bwebatakyalina Ssuubi mu kulonda nga kale kino kyakukosa enkola ya Demokulasiya mu ggwanga. Oguttu agamba nti mu 2011 bannayuganda 42% beebalama okulonda…

Read More