Abantu abasoba mu 3000 beebafunye obujjanjabi ku bwereere mu nkambi ekubiddwa e Buyoga mu Bukomansimbi
Abasawo abatali bamu okuva e Masaka ne mu bibiina ebitali bimu nga Uganda cares, TASO, Kitovu mobile beebakungaanidde ku kkanisa ye Buyoga okujjanjaba abantu nga bakuza olunaku lw’ebyobulamu e Masaka
Mu ndwadde ezijjanjabiddwa kwekuli senyiga, amannyo, emitwe, okukebeza obulwadde bwamukenenya n’okubudabuuda ababulina
Omuwandiisi…
Leero lunaku lwa kutumbula kukozesa bupiira bukalimpitawa buyite kondomu
Abakugu mu byobulamu kati bawanjagidde abantu okukozesa obupiira okukuuma obulamu bwaabwe era nga beeyagala.
Akulira ekibiina kya Straight Talk Foundation Susan Ajok, agamba nti abavubuka bangi bakimanyi nti siriimu atta kyokka nga tebafaayo kukozesa bupiira
Ono era agamba nti obupiira buno buyamba n’okuziyiza embuto naddala eri abavubuka abatannaba kwetuuka
Bbo…
Ebintu byabukadde bisaanyewo oluvanyuma lw’omuliro okusaanyawo akatale akakulu ak’e Moroto mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Kigambibwa nti omuliro guno gutandise ku ssaawa nga 9 nga bukya nga era amidaala n’obuyumba bw’abasuubuzi obubadde okumpi tebulutonze.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokusatu Capt. Jimmy Denis Omala agamba omuliro guno gwandiba nga gwakumiddwa omuntu w’ettima naye nga poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza.
Omala agamba…
Oluvanyuma lw’ebiwayi by’abayisiraamu ebimu okutandika ku lugendo lw’okwegatta, Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadan Mubajje asuubirwa okukulemberamu Juma yaleero wali ku muzikiti gwe Nakasero.
Olwokutaano oluwedde, abayisiraamu okuva mu mizikti egyenjawulo okuli Nakasero, ne William Street basaalira ku Old Kampala okulaga obumu.
Omwogezi w’ekitebe ky’obuyisiraamu ekya Old Kampala Hajj Nsereko Mutumba agamba e Juma eno yakuyamba okuzzawo…
Omusawo w’emitima naye ng’emirimu gye agikolera mu Australia Dr. Aggrey Kiyingi agamba nti nebwebanamutiisatiisa tajja kuva ku kiruubirirwa kye eky’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Kiddiridde gavumenti okutegeeza nga bw’erina obujulizi obulaga nti ddala Kiyingi yeeyali emabega w’abayisiraamu abaattibwa ng’ayagala kugivumaganya
Kiyingi agambye nti tasisinkanangako musiraamu yenna nga gavumenti bw’egamba era nga talina kakwate na basiraamu
Ono wabula alayidde nti…
Abavuganya basabiddwa okusimbawo omuntu omu bwebaba nga bakuwangula okulonda kwa 2016
Omubaka we Kalungu mu bugwanjuba Joseph Ssewungu y’abawadde amagezi gano ng’agamba nti okweyawula tekukyakola nga n’abantu bakooye akavuyo
Ssewungu agambye nti buli bavuganya lwebeyawula, bongera kufiirwa era nga ssinga bagaana okwegatta mu mwaka 2016, ebintu byandibalema
Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala kusisinkana pulezidenti…
Abayizi abali mu mitwalo 189,889 beebasunsuddwa okwegatta ku siniya y’okutaano mu mwaka 2015
Kino kirese abayizi 94,133 nga tebafunye masomero gebasaba bw’otunuulira abayizi emitwalo 284,022 abaayita ebigezo.
Atwala eby’okusunsula mu bayizi mu minisitule y’ebyenjigiriza Martin Omangolo agamba nti ku bano emitwalo 64,400 bajjiddwa mu masomero 699 aga gavumenti ate asigadde nebava mu g’obwannanyini.
Omangolo agambye nti okusunsula kutambudde bulungi…
Kyaddaaki eddwaliro lye Masaka lifunye sikaano oluvayuma lw’emyaka ena nga teririna kyuuma kino
Akulira eddwaliro lino Ereazer Mugisha y’ayanjulidde bannamawulire amawulire gano
Mugisha agambye nti ekyuma kino baakiguze obukadde 122 okuva e Budaaki nebakola ne ku kikadde ku bukadde 55
Ono agambye nti ebyuuma bino byatandise dda okukola era nga biriko n’abasawo abakugu
Omu ku basawo abakugu mu ddwaliro…
Waliwo ekiwayi ky’ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti abambalidde banaabwe abeebalamye olusirika lw’oludda oluvuganya olugendereddwamu okuteesa ku nongosereza za ssemateeka n’amateeka g’eby’okulonda.
Omubaka wa Bukoto East Mathias Nsubuga ategezezza nga oludda oluvuganya bwebatalina bumu kale nga kizibu okwegatta okumegga gavumenti ya NRM.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu agamba olukiiko lw’abavuganya gavumenti olw’okuntikko lwakufulumya alipoota…
Minisitule y’ebyenjigiriza olwaleero lwetandika okusunsula okwennaku 2 okw’abayizi abagenda okwegatta ku siniya 5 wali ku yunivasite ya Kampala International.
Abayizi abali eyo mu 280000 abaayitira mu ddaala erisooka okutuuka ku lyokuna basobola okusunsulibwa.
Amassomero amanene okuli Kings college Buddo, St Mary’s college Kisubi, Namagunga n’amalala bakalize obubonero nga bali wansi w’obubonero 12.
Wabula minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo alabudde…