Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Omusaala ogusookerwaako guliwa

Abakozi bawadde gavumenti okutuuka ku nkomerero y’omwezi guno okussaawo akakiiko akanakola ku nsonga z’omusaala ogusokerwaako. Uganda yakoma okussaawo omusaala gwa shs 6000 ogusokerwaako mu mwaka gwa 1984  nga kati abalwanirira eddembe bagaala gutuuke mu mitwalo 25 Akulira omukago gwa NOTU Usher Wilson Owere agamba nti minisitule ekola ku nsonga z’abakozi yandibadde yatandika dda ku ddimu lino kyokka…

Read More

Ekirwadde kirumbye aba Taxi

Abagoba ba Taxi mu bagaala wabeewo okunonyereza ku kirwadde ekyakatta abagoba ba Taxi bataano. Akulira ba dereeva Mustapha Mayambala agamba nti obulwadde buno butandika na musujja era nga butta mu wiiki emu . Mu kadde kano ba dereeva ne ba kondakita 20 beebali ku ndiri. Wabula amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba asabye ba dereeva okwewala okulya ebijama…

Read More

Omulamuzi ebya FUFA abijjeemu enta

Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe avudde mu musango ogwawaabwa aba Uganda superleague  nga bawakanya ekya FUFA okusazaamu kontulakita yaabwe Omulamuzi agambye nti alina kyekubiira mu nsonga zino nga tasobola kugusala Mu ngeri yeemu era omulamuzi Mugambe ayongezezzaayo ekiragiro kyeyayisa ekiyimiriza FUFA okusazaamu kontulakita ya superleague okutuuka nga 3 omwezi ogujja.

Read More

Abayizi babbidde

Abaana babiri (2) mu somero lya Kabweyakiza Vision High S.S mu gombolola ye Maduddu Emubende ababadde bagenze okuwuga bafiridde mu kidiba kya mazzi. Akulira bambega ba poliisi emubende Twishime Allan abagenzi abameenye nga Bogere Samuel myaka 14 ngono abadde asoma sinior esooka S.1 wamu ne Tumwebaze Enock myaka 15  ngono abadde asoma sinior yakubiri S.2 era…

Read More

Ekimotoka kibasaabadde

Abantu bana baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga biwala ttaka oluvanyuma lw’ekimotoka ekibadde kyetisse amatafaali okulemerera omugoba waakyo nekibasaabala wali e wa Bakuli. Ku balumiziddwa kwekubadde ne dereeva waakyo. Aduumira poliisi ya Old Kampala Emmanuel Ocamuringa ategezezza nga ekimotoka kino bwekigaanye okusiba nekikoona owa bodaboda abadde okumpi ssaako n’okuwalula ababadde ku gaabwe. Akabenje kano ategezezza nga bwekavudde…

Read More

Ogwa Babaka gw amwezi gujja

Kkooti yokuntikko etaddewo ennaku z’omwezi nga 10 omwezi ogujja okuwulirako okwemulugunya kw’ababaka ba palamenti  abana abaagobwa okuva mu kibiina kya NRM nga bawakanya n’eky’okugobwa ne mu palamenti. Omulamuzi Stella Arach Amoko ku lwabanne abalala omukaaga ategezezza nga okuwulira omusango guno bwekuluddewo kwekuteekawo olunaku luno.   Ababaka aboogerwako kuliko  Theodore Sekikubo owa Lwemiyaga County, Muhammed Nsereko owa Kampala eyamassekati , Wilfred Niwagaba owa Ndorwa…

Read More

aba UNRA basenguddwa

Ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga kyegaanye eby’okubanjibwa obukadde obusoba mu 600 ez’obupangisa. Ofiisi z’ekitongole kino ku luguudo lw'omukaaga mu industrial area zikedde kugalwa bawanyondo ba kkooti ku bigambibwa nti ekitongole kino kimaze ebbanga nga tekisasula za bupangisa. Bawanyondo ba kooti okuva mu kampuni ya  Trust general auctioneers and court bailiffs bebazinzeeko ofiisi zino nga teri abadde akkirizibwa kuyingira…

Read More

Abasiraamu benyigire mu byobufuzi

Supreme Mufti alamulira e Kibuli  asabye abayisiraamu obutasigala mabega mu biseera bino eby’okunoonya akalulu benyigire mu by’obufuzi by’eggwanga . Sheikh Zubair Kayongo ategezezza nga  eby’obufuzi bino bwebisobola okutwala ediini y’obusiraamu mu maaso. Bino abyogeredde mu kusabira emyoyo gy’abagenzi  e Kitosi mu disitulikiti ye Mpigi. Seeka Kayongo era avumiridde ettemu eryongedde mu bitundu bye Busoga eritwaliddemu n’abakulembeze b’obuyisiraamu. Wano w’asabidde…

Read More

Teri Kakuyege ng’okulonda tekunnaba kutuuka

Ekibiina kya NRM kitabukidde ba memba baakyo abatandise okuyigga akalulu ng’ekiseera tekinnaba kutuuka Ekibiina kino kigamba nti memba yenna asangibwa ng’ayigga akalulu ng’obudde tebunnatuuka wakujjibwa mu lwokaano n’okubonerezebwa mu ngeri endala nnyo Bino ababaka babituseeko mu lusirika olufundikirwa olunaku lw’enkya e  Kyankwanzi oluvanyuma lw’ababaka okubadde omubaka we Kyanknwazi Jalia Bintu okutegeeza ng’abamuvuganya bwebatandise okumulwanyisa okuva wansi. Ababaka bano…

Read More