Omusajja gwebayombesezza obutawasa tatawaanye aliko omukazi gw’akutte ku mpaka z’amutwalira bakadde be.
Omusajja ono ow’emyaka 32 nga nzaalwa ye China yasoose kugenda mu bakadde be nabamuyombesa obutawasa
Ono yafunye awali ekisiko n’abaka omuwala ono ng’ayitawo, n’awuwalula kutuuka waabwe nti ye mukyala we
Omuwala ono byamuweddeko naye n’atandika kumwenya
Akulira ekibiina kya UPC Dr Olara Otunnu asumattuse akabenje bw’abadde ava e Kitgum.
Ono abadde atambulira mu motoka kika kya Landcruise namba UAQ 040G eseredde okuva ku luguudo neyefuula oluvanyuma lw’okwabika omupiira.
Akabenje kano kagudde mu gombola ye Angagura mu disitulikiti ye Pader.
Dr Otunu , dereeva we kko n’omukyala we enzaalwa ya America bonna bavuddemu n’ebisago ebitonotono.
Addusiddwa…
Mu ggwanga lya Buyindi, omukyala azaalidde mu kabyonjo y’eggalai y’omukka.
Omukyala ono agudde eri n’azirika nga yakazaala kyokka ng’oluvanyuma azze engulu n’alaba omwana we asobodde okutaasibwa nga tannafa
Eggaali z’omukka mu Buyindi kirimu ebituli ebituukira butereevu ku mipiira gy’eggaali kyokka ng’omwana ono bamukutte tannatuuka ku mipiira.
Ekibiina kya DP kyegasse ku kinaakyo ekya NRM mu kuwera okunoonya akalulu nga ttabamiruka w’ekibiina tannatuulibwamu.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero, ssenkagale w’ekibiina kino Nobert Mao ategezezza nga bamemba abamu bwebatandise dda kakuyege ekimenya amateeka g’ekibiina.
Mao kati ayise ab’ekibinja ekyeyita ekya “DP Buganda”babitebye ku bigambibwa nti bagenda bakuyega wamu n’okusemba abagenda okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti.
Mao…
Abantu 4 beebakakwatibwa ku nsonga y’okusasanya ebifananyi by’obuseegu nga era baakuvunanibwa wansi w’etteeka ly’obuseegu.
Nga ayogerako ne bannamawulire wali ku ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala, minisita w’empisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo ategezezza nga ku bakwate bwekuliko n’eyali muganzi w’omuyimbi Desire Luzinda nga ono ye Franklin Emabour.
Ono wakuvunanibwa wansi w’etteeka ly’obuseegu
Lokodo atenderezza nyo Desire Lizinda olw’okubayambako…
Gavumenti ewadde obweyamu nga bwekola ekisoboka okumalawo okusika omugwa ku bukulembeze mu kitongole kya KCCA.
Ensisinkano y’ab’oludda oluvuganya gavumenti ne ssabaminisita w’eggwanga yagwa butaka nga baali baakuteesa ku ky’okuza loodi meeya Erias Lukwago mu ofiisi.
Kati minisita w’obutebenkevu bw’eggwanga Muruli Mukasa ategezezza nga gavumenti bweyagala okumaliriza kino mu bwangu ddala era n’asaba ab’oludda oluvuganya gavumenti okujja mu…
Omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya mu disitulikiti ye Butalejja gweyongedde nga buli bakyala emitwaalo kkumi abazaala 530 bafa.
Bino byogeddwa atwala ebyobulamu mu disitulikiti Dr. John Bosco Matovu.
Dr Matovu agambye nti wano webasinzidde okuvaayo n’enkola empya egenda okuyita mu ba gombolola 12 agakola disitulikiti eno nga basomesa abakyala n’abasawo ku ngeri y’okukendezaamu ekizibu kino.
Enteekateeka eno ey’emyaka…
Okunonyereza okukoleddwa mu mawanga ga bulaaya kulaga nti abakyala bangi abali mu myaka egizaala banene nnyo nga kiyinza okubabeerera ekizibu okuzaala
Mu banonyereza kubaddeko ne bannasayansi okuva mu kibuga Edinburg abategeezezza ng’era abaana abazaalibwa abakyala abanene bwebatera okulwaalalwaala
Bano bagamba nti buli mukyala yandibadde alwanyisa omugejjo kubanga gubakosa n’abaana beebazaalibwa
Poliisi ye Kyotera mu disitulikiti ye Rakai ekyanonyereza ku kyaviiriddeko omwana ow’emyezi 8 eyafiiridde mu muliro ogwakutte enyumba mweyabadde alekeddwa.
Omugenzi ategerekese nga Viola Namaganda muwala w’omukyaaka ategerekeseeko erya Shamimu.
Enyiisa eno y’abaddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero nga era kiteberezebwa okuba nga omuliro gwavudde ku kasubbaawa akaalekeddwa nga kaaka nga era n’ebintu byabukadde byasaanyewo.
Omwogezi wa poliisi mu…
Olukalala lw’ababaka ba palamenti abalina amabanja agabali mu bulago lweyongera buli lukya.
Kkooti enkulu eragidde omusaala gwa minisita omubeezi ow’ebyettaka Aidah Nantaba gukwatibwe okusobola okusasula obukadde 23 mwemitwalo 70 ezimubanjibwa.
Amyuka omuwandiisi wa kkooti Tom Chemtai y’awadde ekiragiro kino oluvanyuma lwa Nantaba ne munnamateekawe obutalabikako mu kkooti.
Ssente zino kuliko ne ssente endala ezisasanyiziddwa eyawaaba omusango guno.
Abbey Kasolo…