E Lira ebikumi n’ebikumi by’abawagizi b’ebibiina ebivuganya gavumenti basaze eddiiro nebegatte ku kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement.
Bano okusinga baabulidde bibiina bya FDC ne UPC nga era balangiridde mu lukungaana pulezidenti Museveni lw’akubye mu tawuni ye Lira.
Abamu bategezezza nga bwebasaze eddiiro olwo’bwavu obubwesibyeko nga olukokobe ssaako n’obuvuyo obutata mu bibiina gyebabadde.
Yye omukulembeze w’eggwanga…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awanjagidde abantu ba Ssabassajja okufaayo okulabirira abaana nokubasomesa kubanga lye’ssuubi lya Buganda ery’ebiseera ebyomumaaso.
Katikiro avumiridde ekyabazadde okumala gazaala nebasulirira obuvunayizibwa okulabirira abaana nga bawoza mbu buli mwana nomukisa gwe.
Abadde wa mutaka Charles Ssemanda mu kibuga Mukono gy’akunganya ettoffaali nategeeza nti enkola eno ya dda nyo tegwanidde ku mulembe guno…
Kamalabyona wa Buganda Owekitiibwa Charles Peter Mayiga avumiridde eky'abaana abayise obulungi ebigezo okwekuba mu mawulire ekisukkiridde ebiro bino.
Abadde ku ssomero lya Bishops Senior Secondary School Mukono gyeyakeredde olwaleero mu kusolooza ettofaali, nategeeza nti omulamwa omukulu eri abaana kuba kuyita kalenga okuyisa ebivulu ekisukkiridde kiba tekigwaanidde nalabula nti kino bwekitakome kigenda kukosa ebyenjigiriza.
Ajjukizza Obuganda ku nsonga…
Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akabedde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka taxi bbiri bwezitomeraganye
Akabenje kano kagudde kayabwe nga Taxi namba UAV 723 A ebadde eva e Masaka ekonaganye butereevu n’endala namba UAN 947.
Atwala poliisi y’omu Katonga Fabian Betumiza agambye nti ku bafudde kuliko Ronald Lukyamuzi, Emmanuel Sebyala n’omulala ategerekeseeko erya Ssekimpi
Abantu abalala…
Minisitule y’ebyobulamu erangiridde nga bwewabaluseewo obulwadde bwa Typhoid mu Kampala, Mukono ne Wakiso
Abantu babiri bakakasiddwa okuba nga bafudde ate abalala 142 bbo balina obubonero naye ebivudde mu musaayi tebinnafuluma
Ab’ebyobulamu bakekebejjako abantu munaana era nebakakasa nti babulina
Atwala ebyobulamu mu minisitule y’ebyobulamu Jane Achieng agamba nti abalina ekirwadde kino beebakolera mu katale ke Nakasero , Nabukeera plaza,…
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi ba Makerere University Business School ababadde beekalakaasa nga bakungubagira bannaabwe abattiddwa motoka eyawabye olunaku lwajjo.
Abayizi bano baabadde ku gaabwe era nga beebamu ku bataano abakoseddwa
Abayizi ababadde batasalikako musale babadde bagaala kusiiga langi mu kifo awabadde akabenje kifuulibwe ekisalibwaamu okukendeeza ku bubenje
Bano era batataaganyizza ebyentambula ng’emotoka ziwaliriziddwa okuyita e Ntinda
Atwala…
Bannakampala batandise okwekuniza ng’amafumbe olw’obutabaawo kabuyonjo
Kino kiddiridde KCCA okuggala kabuyonjo zaayo ezimu okusobola okuziddabiriza
Kabuyonjo eziggaddwa kuliko eri ku kibangirizi kya ssemateeka ne ku kkanisa ya KPC.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba wabula asabye abantu okusigala nga bakkakkamu okutuuka nga bamaze okulongoosa
Kabuyonjo za KCCA za bwereere kyokka nga ez’obwannanyini zzo za 200 ne 300 okusinziira w’oli
Obumu bwebusobola okuzza Buganda ne Uganda ku ntikko ..
Obubaka buno buweereddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kusolooza ettaffaali kwaliko mu ssaza lya ssabasajja e Kyaggwe.
Katikiro ategezezza nga obumu bwebusoboloa okuleetawo obwenkanya mu ggwanga olwo amazima negagoberera nga era bino bikulu nyo mu nkulakulana y’eggwanga.
Katikiro era atabukidde bannabyabufuzi abasuubiza abalonzi baabwe empewo olw’okubulwa amazima.
Katikiro…
Munnayuganda omusawo nga awangaalira mu ggwanga lya Australia Dr. Aggrey Kiyingi atemye ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura akakule ku by’okumukwatira mu Australia.
Kino kiddiridde Gen Kale Kaihura okutegeeza nga bwebasobola okufuna obuyambi okuva eri poliisi y’ensi yonna nebakwata Kiyingi ku bigambibwa nti alina akakwate ku bayeekera abaagala okulumba eggwanga.
Wabula Kiyingi agamba ssimutiitiizi era yeetegese ekijja kijje…
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi ategezezza nga bwatagenda kwawukana ku mateeka ga kibiina kye ekya NRM mu kusalawo ekkubo lye eby’obufuzi.
Nga asisinkanyemu abavubuka ba NRM abeeyita abaavu, Mbabazi ategezezza nti ekibiina kye ekya NRM bwekilambika bulungi amakubo omuntu g’alina okuyitamu okufuuka omukulembeze nga kale galina okugobererwa.
Gyebuvuddeko ekibinja ky’abavubuka bano balumbye amaka ga Mbabazi e Kololo…