Abamu ku bawagizi ba NRM e Kabale batandise kawefube w’okugoba akulira ekibiina kyaabwe mu disitulikiti eno Hope Mwesigye nga bamulanga kuva ku mugendo.
Bano bagamba nti Mwesigye buli ekisalibwaawo ekibiina ekiwakanya omuli n’eky’okusimbawo pulezidenti Museveni nga tavuganyiziddwa mu kibiina.
Nga bakulembeddwaamu atwaala obukiikaddyo bwe Kabale, George Nsaba, abakulu bano bagamba nti baatandise dda kakuyege okulaba nti Mwesigye…
Poliisi e Kira ekutte omusajja agambibwa okutta mukyala we nga nabe ava ku kaboozi
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti Yazid Kayemba akkirizza nga bw’akubye mukyala we ebikonde ku mutwe n’agwa ku ttaka era ekiddiridde kufa
Abafumbo bano babadde n’omwana ono kyokka nga mu kiro basibudde olutalo olwavuddemu enjega eno
Omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu…
Eddwaliro lye Mulago litubidde n’abalwadde b’emiriro olw’ebbula ly’ebyuuma ebijanjaba abayidde
Abalwadde okuva mu ward 3B bagamba nti bamaze enaku 2 nga tebefuna bujjanjabi, olw’ebbula ly’ebyuuma ebirina okukozesebwa mu kubajanjba.
Wabula atwala ekiwayi ekikola ku muliro Dr Robert Ssentongo, bino byonna abisambazze.
Ekigambibwa okuba ng’eddwaliro lye Mulago lyetaaga ensimbi obukadde 100, buli mwezi okujanjaba abalwadde b’omuliro.
Waliwo omukyala akwatiddwa lwakugezaako kulumako bba obusajja
Omusajja webamugwiriddeko abadde atamidde kyokka ng’omusajja abadde ayombesa omukyala obutaggwa kumusaba ssente.
Ono wa mu America
Poliisi ye Wandegeya etandise okunonyereza ku muyizi wa yunivasite ye Makerere eyasangiddwa ng’afudde mu Hostel emu, akawungeezi akayise.
Juliet Piloya abadde omuyizi mu mwaka ogw’okusatu asangiddwa ng’afudde mu kisulo kya Kyoga esangibwa mu Kikumikikumi okumpi ne Wandegeya.
Aduumira poliisi ye Wandegeya Jackson Mucunguzi agambye nti okunonyereza okwakakolebwa kulaga nti omuyizi ono abadde n’ekirwadde ekimutawaanya era nga kirabika…
Omukyala Nakawere abadde mu supamaketi ng’agula ebintu by’aawaka kimuweddeko omusajja bw’amutuukiridde ng’amusaba ku mata g’omu mabeere ge
Ekisajja kino ekirabise nga kyonna kiwombeefu kifukamidde ku maviivi nekisaba akkirize amuyonseeko amuwe ssente.
Oluvanyuma kizuuliddwa nti omusajja ono yasomye nti amata g’omubeere gazimba omubiri nga naye abadde ayagala kuzimba gugwe
Akakiiko k’eby’okulonda kalaze okutya, olw’omuwendo gw’abavubuka, abasemba okulonda okweyongera, ekiyinza okukosa okulonda kwa 2016.
Alipoota ziraga nti mu mwaka gwa 2011 bana Uganda 42% beebazira okulonda.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kigundu agambye nti abavubuka abasinga obungi tebagala kumanya ku bikwatta ku kulonda, kyokka okulonda bwekuggwa nebegatta n’abawanguddwa nebatandika okutabangula eggwanga.
Kigundu okwogera bino abadde atongoza kawefube atumiddwa…
Bannakibiina kya NRM abasoba mu 5000 abawangulwa mu kamyuka k’omwaka 2010 battudde olutalo nga bagaala ebyava mu kunonyereza bifulumizibwe
Okunonyereza kuno kwatongozedwa eyali akulira akakiiko ka NRM ak’okulonda Prof Elijah Mushemeza ne Alhajji Moses Kigongo oluvanyuma lw’abaali besimbyeewo okulumiriza banaabwe okubba akalulu.
Abeesimbawo bano nga bakulembeddwaamu Justine Odongo bagamba nti kyannaku nti abakulu mu kibiina bazze basisinkana…
Nga omusujja gwomulubuto kyegujje gubalukewo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo,aba KCCA basitukiddemu nebaggala ekiriiro ky’emmere ekya bakoleya ekya Arirang Restaurant.
Bano bagaddwa lwa bucaafu nga era basangiddwa n’enkoko envundu.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba ategezezza nga abalambuzi baabwe ab’eby’obulamu bwebabaguddeko awatali kulabula nebasanga nga obucaafu bufumbekedde mu ffumbiro ekiyinza okulwaza abalyayo emmere.
Aweze nga bwebakyaggala ebifo ebirala ebitatuukagana…
Munnamawulire Danny Kyazze afudde.
Kyazze afiiridde ku myaka 72 oluvanyuma lw’okumala akabanga nga atawanyizibwa ekirwadde kya kookolo.
okusinziira ku mutabaniwe omukuku Danny Kyazze Junior ,omugenzi abadde ku ndiri emyezi etaano okutuusa mungu bw’amuyise mu kiro ekikeesezza olwaleero wali ku ddwaliro lya Kadic.
Kyazze amaze emyaka 50 mu mawulire nga era y’akolerako ku Radio Uganda, n’emikutu gy’amawulire emirala.
Abadde mukama…