Sylvia Namutebi amanyiddwa nga Mama Fina kyaddaaki azzeemu okulondebwa ng’omukulembeze w’abasawo b’ekinnansi.
Okutikkira Maama Fiina ekitiibwa kino wabula tekubuzeeko katemba nga buli omu alaga amaanyi g’emizimu gye
Maama Fina era agenda kuba nga y’akulira abakola eddagala ly’ekinnansi.
Okulondebwa kwe kukomekerezza entalo ezibadde nga mu basawo bano
Ng’ayogerako eri basawuzi banne ,maama Fina agambye nti agenda kutandikira ku kumalawo njawukana.
Maama…
Ng’abakulisitu batandika ekisiibo, baweereddwa amagezi okusabira ennyo eggwanga nti ligweemu abezibika ensimbi z’omuwi w’omusolo
Olwaleero abakirisitu lwebatandise ekisiibo kyaabwe nga mu bakatolika n’abakulisitaayo wabaddewo okusiiga evvu
Omulwanyi w’enguzi kayingo Faaza Gaetano Batanyenda asabye katonda okukwata ku mitima gy’abakulembeze mu Uganda naddala abo ababwebwena ezitali zaabwe
Father Gaetano asabye wabeewo emirembe n’okwezza obuggya mu kaseera k’ekisiibo kino.
Abavubuka abawagira eyali ssabaminista Amama Mbabazi balayidde okugenda mu maaso n’entegeka zaabwe ez’emisinde gy’omutolontoko mu Kampala yadde poliisi yaweze okubagaana
Abavubuka bano bategese emisinde gino nga 23 omwezi guno nga bakukungaanya engoye, emmere n’ebirala okuwa abataliiko mwasirizi mu buvanjuba bw’eggwanga
Bano bagamba nti bategeezezzaako dda ssenkaggale wa poliisi
Atwala abavubuka bano Richard Kirekyankuba agamba nti zino zeezimu ku…
Okukubaganya ebirowoozo ku bbago ly’etteeka ly’amaka kuzzeemu mu palamenti
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga yali yakuyimiriza mu mwaka gwa 2013 oluvanyuma lw’ababaka okusaba beebuze ku balonzi baabwe
Ebbago eryogerwaako mwemuli obuwaayiro obulambika abafumbo engeri gyebawukanamu kko n’engeri gyebabeerawo nga lino litongoza n’obufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa
Kadaga asabye atwala emirimu gya gavumenti mu palamenti okutegeka alipoota ye…
Omusajja kaggwensonyi akkidde namukadde w’emyaka 93 n’amukaka omukwano
Bino bibadde ku kyaalo Kabuga ekisangibwa mu disitulikiti ye Kibaale
Omukyala ono agambye nti omusajja ono yamugwiridde olunaku lwajjo kyokka ng’abadde akikola gwa kubiri
Atwala ekyaalo kino Silas Karumuna agambye nti omukadde ono abadde asirise kyokka nga waliwo omusiisi wa chapatti abitaegedde n’atandika okugabunya ku kyaalo
Omukyala ono addusiddwa mu ddwaliro…
Abantu babiri beekoneddwa motoka nebafiirawo wali e Nakawa ku luguudo oludda e JJinja
Taxi nnamba UAS 839H ebadde eva e Kireka eremeredde omugoba waayo n’esabaala abantu bataano era babiri nebafiirawo
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti emotoka eno egaanye okusiba.
Omu ku bafudde y’ategerekese nga ye Patrick Kiwala
Obadde okimanyi nti okunywegeera omuntu kiyinza okukuleteera ekirwadde kya Hepatitis B?
Abasawo bagamba nti yadde kuno kukkakkanya omutima, kutambuza mangu obulwadde bunoo kubanga akawuka akabuleeta katambula mangu
Wilson Muhumuza omusomesa ku ddwaliro ly’abasawo e Mulago agamba nti obulwadde buno okunywegeera tekukoma ku kutambuza bifuba n’amannyo wabula n’obulwadde buno.
Muhumuza agamba nti nga bwekiri ku musaayi, obulwadde buno buyita…
Amaaso kintu kikulu ku mibiri gyaffe naye abantu batono abagafaako ekiri awo
Omusawo mu ddwaliro lye Kibuli Muhammod Elgazar agamba nti omunti yandibadde agera akaseera n’atwaala amaaso ge okukeberebwa okwewala embeera okusajjuka nga tegakyasobola kukolebwaako
Ono agamba nti era amaaso kabonero akayinza n’okusonga ku ndwadde endala kale nga galina okuba amalamu
A sabye abantu okulya obulungi okukuuma amaaso…
Eddwaliro eribadde liyamba ku balina obulwadde bwa mukenenya erya Mild may kati lifuuse ddwaliro eriwedde emirimu nga lyakuwereeza mu buli kimu.
Amyuka akulira eddwaliro lino George Wanishinyi agamba nti eddwaliro lino basazeewo okuligezza okutereeza eby’ebyobulamu e Wakiso n’ebitundu ebiriranyewo.
Omubaka omukyala owe Wakiso Rosemary Sseninde agamba nti eddwaliro lino ligenda kuyamba okuwereeza abantu ate ku nsimbi ensaamusaamu
Embuto ezisoba mu 830 zezigibwamu wano mu ggwanga buli lunaku.
Amawulire gano agawuniikiriza gaasanguziddwa minisita w’eby’obulamu akola ku bujanjabi obusookerwako Sarah Opendi eyategezezza nga abakyaala 30% bwebafiira mu ssanya lwakukwakulamu mbuto ekibaviirako obuzibu.
Ono agamba kikwasa ennaku era n’asaba abantu okuwagira enkola za gavumenti ez’okutumbula enkola ya kizaala gumba.