Empaka z’omutolontoko ezituumiddwa Ibanda Marathon zitongozeddwa omugagga Patrick Bitatule
Emisinde gino gyakubeera Ibanda nga 28 omwezi guno era nga gyakwetabwaamu kkampuni ezitali zimu
Ensimbi ezinaava mu misinde gino zakugenda eri okulwanyisa abamenyi b’amateeka
Bannasayansi mu Bungereza bakoze ka Choclate nga bw’okalya odda buto.
Ka choclate kano kakutandika okutundibwa omwezi ogujja
Ka choclate kano omuntu bw’akalya olususu olubadde lutandise okuyiika lujja lwekwata era nerutereera
Olukiiko oluludde nga lulindirirwa wakati wa ssabaminista n’akulira oluvuganya mu palamenti ku nsonga za loodimeeya kyaddaaki lutandise
Gavumenti ekiikiriddwa ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda, Minisita wa kampala Frank Tumwebaze n’amyuka ssabawolereza Fred Ruhindi ne and Government chief whip Lumumba Kasule.
Oludda oluvuganya lukulembeddwaamu akulira abavuganya Wafula Oguttu, Abdu Katuntu Medard Lubega Segona ne Angellina Osege
Ng’awayaamu ne bannamawulire, akola…
Mu kibiina kya DP ebyobufuzi bitandise okunyuma oluvanyuma lwa Loodimeeya Erias Lukwago okutegeeza nga bw’awagira kakuyege nga ttabamiruka tannatuuka era ng’ono atandise n’okulingizaako mu ntebe y’omukulembeze w’ekibiina
Olwaleero, akulira ekibiina kino Nobert Mao alangiridde nga bw’asazeewo okugoberera amateeka g’abasawo awummulemu ebyobufuzi by’ekibiina kyokka nga agenze akukkuluma
Ono alumbye Lukwago n’aba DP Buganda okumulwanyisa nga bakozesa amakubo amakyaamu
Mao…
Gavumenti yakusazaamu ebyapa omutwalo gumu mu kasanvu ebiri mu ntobazi
Kiddiridde akakiiko k aba minisita akassibwaawo okulambula entobazi okumaliriza okuzirambula.
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’obutonde bw’ensi, minisita akola ku by’obutonde, Ephraim Kamuntu agambye nti kino kigenda kukolebwa ku ttaka lya gavumenti n’erya mayilo nga liriko ebyaapa ebyakolebwa mu mwaka gwa 1995
Kigambibwa okuba ng’ebyapa 950…
Eyali omukwanaganya w’ekitongole ekikessi mu ggwanga David Sejusa abanja musaala.
Nga ayita mu bannamateekabe Michael Mabikke ne David Mushabe, Sejusa agamba kati myaka 2 nga takomba ku musaala nga ate akyaali mujaasi kale nga alina okusasulwa.
Nga ayogerako eri bannamawulire , Mabikke ategezezza nga bwebagenda okuyita mu mateeka babanje omusaala gw’omuntu waabwe kubanga teyadduka mu magye.
Wabula ye…
Abatuuze be Bukulula mu disitulikiti ye Kalungu bakkakanye ku musajja ateberezebwa okubeera omubbi wa bodaboda nebamukuba mizibu egimujje mu budde n’oluvanyuma omulambo gwe nebagukumako omuliro.
Daniel Ssenfuka omutuuze wokukyaalo Nsalu y’atiddwa abatuuze oluvanyuma lw’okulumbibwa mu makage nebamuwalula okutuuka ku kyaalo Katungulu nga eno gyebamutidde nebamukumako ogwomu kyooto.
Ssentebe w’ekyaalo kino Yusuf Nsubuga agamba Ssenfuka abadde alina eduuka…
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kasese oluvanyuma lw’omulwadde ow’emyaka 60 okutondoka n’afiira ku lubalaza lw’eddwaliro oluvanyuma lw’okusanga nga liggale emisana ttuku.
Ab’enganda z’omugenzi bazze bamusitulidde ku katanda k’abalwadde okuva mu kyaalo kye Buhathiro mu nsozi ze Ihandiro wabula nebasanga nga eddwaliro ligaddwa ku ssaawa 9 ez’emisana.
Ssentebe w’ekyaalo Edward Byalirwe ategezezza nga omugenzi bw’ategerekese nga Kahihili omutuuze ku…
Poliisi ye Tororo eriko omukazi gwekutte nga bamutebereza okutuga omwanawe ow’enaku 4 n’amusuula mu kabuyonjo.
Kigambibwa nti Winnie Margaret Muliro omutuuze wokukyaalo Amagoro B Central mu municipaali ye Tororo yayambiddwako nyina ne mulerwa okutta omwana ono.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Micheal Odongo agamba taata w’omwana yeyabatemezzaako oluvanyuma lw’okumubuuza amayitire g’omwana eyabadde yaakazalibwa nga amatama…
Abantu abateberezebwa okubeera n’omusujja gwomubyenda bakyeyiwa mu ddwaliro lyomu Kisenyi okufuna obujanjabi.
Enkambi eyateereddwawo minisitule minisitule y’eby’obulamu yonna ekibyeko abalwadde abalinda okujanjabibwa.
Omusasi waffe Shamim Nateebwa atutegezezza nga abaswo abakola ku balwadde bano bwebatayatukirizza muwendo gw’abalwadde bebakafuna.
Abavuzi ba taxi nabo gyebakedde okulambula ku banaabwe abali ku ndiri nga era waliwo ebigambibwa nti waliwo omuntu omulala eyafudde okuva…