Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

atemyeteemye mukyala we

  Poliisi mu disitulikiti ye Luuka eri ku muyiggo gw’omusajja ow’emyaka 37 eyakidde  mukyaalawe n’amutematema n’ejambiya.   Omukwate ategerekese nga  Grace Tenywa, omutuuze ku kyaalo  Nakiswiga nga ono poliisi egamba y’asanjaze mukyaalawe Nangobi Zabinah. Omuvunaanwa ono alina abakyaala 2 nga buli omu abeera mu makaage nga kwolwo ssemaka ono y’adda ewamukyaala muto n’amutematema nga amulanga bwenzi.   Nangobi agamba bba y’amusanze…

Read More

Kkapa ewuga

Wali olabye ku kkapa ewuga Kakati mu ggwanga lya Turkey waliwo ka kkapa akatawoomeddwa kukuba dduba nga kasula katudde Ka Kkapa kano akayitibwa Ruby buli omu abadde amanyi nti kanabbira kyokka nga mu bukkakkamu kalengejjera ku ngulu nga konna bwekazibiriza obuuso mu ngei y’okunyumirwa  

Read More

FIFA tejja kwetonda

Ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kigamba nti ssikyakusasula Muntu yenna oba kiraabu etali nsanyufu olw’empaka z’ekikopo ky’ensi yonna okussibwa mu mwezi gwa November ne December 2022 Aba FIFA era bagamba nti ssibakwetondera Muntu yenna akoseddwa enkyukakyuka zonna mu mpaka zeezimu FIFA yasazeewo omupiira guzanyibwe mu biseera bya butiti mu kifo ky’omusana pereketya

Read More

UMEME yakwongera okusiga

Gavumenti eteekateeka kwongera ku nsimbi z’okubunyisa amasanyalaze mu ggwanga. Kino kigendereddwamu kwongera ku muwendo gw’abantu abalina amasanyalaze okuva ku 15% okutuuka ku 100% mu myaka 25 egiggya. Nga aggulawo olukungaana lw’abaguza ekitongole kya UMEME ebikozesebwa ne ba kontulakita, minisita omubeezi ow’ebyamasanyalaze Simon Djang  ategezezza ng anti yadde basobodde okusembereza abantu abenjawulo amasanyalaze, tebalina nsimbi zakugatuusa mu maka…

Read More

Okusomesa ku Typhoid kugenda mu maaso

Abakulembeze b’abagoba ba Taxi mu ggwanga beegasse ku KCCA ne minisitule y’ebyobulamu okutandika okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu omusujja gw’omu byenda guyite Typhoid Kino kizze wakati mu bigambibwa nti bangi ku bafuna obulwadde buno bagenda mu basawo b’ekinnansi okufuna obujjanjabi mu kifo ky’okugenda mu malwaliro Akulira ba dereeva ne ba kondakita Mustapha Mayambala agamba nti kino kigendereddwaamu…

Read More

Banka y’eggwanga enalondoola “mobile money”

Banka enkulu ey’eggwanga yakutandika okulondoola enkola ya Mobayilo mane Kino kiddiridde alipoota okulaga nti abantu abasoba mu bukadde omunaana beebakozesa enkola ya mobailo mane. Mu ngeri yeemu era kino kigenda kukolebwa okusobola okukoma ku bagezi ababadde batandise okukozesa enkola eno okunyaga abantu. Akulira banka y’eggwanga enkulu Prof Emmanuel Tumusiime Mutebile agamba nti mu kadde kano bakyakyusa mu tteeka…

Read More

Munnamawulire akaabizza abali mu kkooti

Munnamawulire Andrew Lwanga ayunguse amaziga mu kaguli nga anyumya nga bukyanga eyali aduumira poliisi ya Old Kampala amukuba ku mutwe obulamu bwe bwakyuuka. Lwanga alumiriza  Joram Mwesigye  okumutuusaako obuvune nga akola omulimu gwe. Lwanga ajidde ku miggo, awadde obujulizi  nga Mwesigye bweyamukuba n’alekerawo okutegeera ebyaali ku nsi mu kiseera ekyo nga era okuva olwo obulamu bwe bwakyuuka. Nga…

Read More

Omubaka Sseggona akwatiddwa

Omubaka wa Busiro mu buvanjuba Medard Lubega ssegona akwatiddwa . Akwatiddwa nga ayogerako  eri abatuuze bokukyaalo  Nabaziza e Kyengera  abakedde okwekumamu ogutaaka nga bawakanya eky’abantu abatandise okuyiwa ettaka mu kitoogo kyomukitundu kino. Munnamateeka we era omuloodi wa Kampala Erias Lukwago agamba nti Segona abadde agezaako kukkakkanya bantu kyokka nga poliisi ate emukutte lwakukuma mu bantu omuliro. Aduumira poliisi…

Read More

Katikkiro alambuzza Obuganda amasiro nate- Bitambula

Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga alambuzza Obuganda omulimu ku masiro wegutuuse Basookedde ku ge Wamala ne badda e Kasubi era ng’eno yonna emirimu gizzeemu okutambula Katikkiro ategeezezza nga bwebaali besiba olw’ebyetaagisa ebitali bimu ebitabaddeemu kyokka nga kati buli kimu kitambula Katikkiro agambye nti langi okuva e Germany yali yasiba buli kimu kyokka nga kati yatuuse. Agambye nti…

Read More

Bbomu endala mu Nigeria

Bbomu ebalukidde wakati mu bantu ababadde balinze baasi mu ggwanga lya Nigeria esse abantu abasoba mu 12 Omulumiramwoyo agambibwa okuba nga yesibye bbomu yeeyabaludde n’atta abawera Abali mu ddwaliro awatwaliddwa abafu n’abalumiziddwa bagamba nti babadde bakabalako emirambo 13 kyokka ng’abantu abali mu 30 balumiziddwa

Read More