Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebizimbe bitaano bigadwa lwa Bujama.

    E kitongole ekya Kampala Capital City Authority kigadde  ebizimbe 5, nga ensonga yeekusa kubutaba namazzi mayonjo KCCA okuvaayo  bweti kidiridde ekirwade ky’omusujja gw’omubyenda oguvva kubujama  okulumba kampala , nga kakano abantu abantu 600 bebakakwatibwa ekirwade kino. Twogedeko na amyuka omwogezi wa Kcca Robert Kalumba natubuulira nti  bano balude ebanga nga bajukiza  banyini bizimbe bino okukola kunsonga y’amazzi…

Read More

Ba minisita bakyusidwa

      Omukulemebeze we gwanga Yoweri kaguta museveni  akoze enkyukakyuka ez’omugundu mu ba minister be , bangi nebasuulibwa, songa abalala bagude mugafo. Mubakyusidwa kuliko; - MARY KARORO OKURUT afuuse minister akola ku butebenkevu. JIM MUHWEZI -yakola ku by’amawulire kko n’okulungamya egwanga. MATIA KASAIJA - kakano ye-minister omujuvu akola ku by’ensimbi. JOHN BYABAGAMBI yakola ku by’enguudo kko n’entambula FRED RUHINDI yye sabawolereza wa government…

Read More

Bana battiddwa

Abantu bana beebakubiddwa amasasi agabattiddewo mu kavuvungano akabadde ku baala emu e Mbarara Bino bibadde mu kabuga Lugazi mu divizoni ye Kakoba mu disitulikiti ye Mbarara Kigambibwa okuba nti omukozi mu kitongole ky’ebisolo ekya Uganda wild life authority ategerekese nga Justus Nsubuga y’akubye amasasi oluvanyuma lw’okusanga muganzi we n’omusajja omulala Amasasi gano gavugidde ku bbaala y’omukyala ategerekese nga…

Read More

Abasuubuzi beegatte

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta  Museveni asabye abasubuzi okwongera okukwatagana n’okwegatta, okusobola okukola businensi enene. Bwabadde atongoza okuzimba ekibuga ekitumiddwa Mega city e Mukono, Museveni agambye nti abasubuzi abasinga obungi bagala kukola bokka, ekikendeeza amagoba gebafuna. Museveni agambye nti abasuubuzi bwebegatta basobola n'okwewala okwewola ensimbi mu banka ate nebakulakulana Ekibuga kino kigenda kubeera n’amanyumba ag’omulembe 1000, ngakwotadde amalwaliro, amasomero…

Read More

Abakyala bakutulugunyizibwa

Ababaka ba parliament abakyala abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Women's Parliamentary Association UWOPA bavuddeyo tebategeeza ng’ebikolwa eby’okutulugunya abakyala wamu n’abaana mu maka bwebyeyongedde mu ggwanga nga kino kivudde ku mateeka ga musibya byayi ageetaga okukyusaamu. Abakyala bano abakulembeddwamu Mariam Nalubega babadde batalaaga ebitundu bya katonga nga kino kyekikola disitulikiti essatu okuli Gomba, Mpigi ne Butambala…

Read More

Goonya ye Namayingo teyandittiddwa

Ab’ekitongole ekikola ku bisolo by’omu nsiko bavumiridde eky’okutta goonya e Namayingo. Ku lw’okuna lwa ssabbiiti eno, abatuuze be Namayingo beegatta nebatta goonya gyebagamba nti yali esse n’okulumya abawera Akulira ekitongole kino Dr. Andrew Seguya agamba nti kituufu kiruma okulaba nti goonya eno eridde abawera kyokka ng’okugitta ssi kituufu. Sseguuya asuubizza nga bwebagenda okutandika okusomesa abantu ku ngeri y’okubeeramu…

Read More

Emidaala gyakugabwa

Emidaala egisoba mu 300 mu katale ke Wandegeya gyakugabwa oluvanyuma lwa ba nanyini jo obutalabikako kugikwata Akulira bakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti bbo kati beebakola asala nga nebabayita abagikwata tebalabikako Omudaala e Wandegeya guli wakati w’emitwalo 4 ne 8 buli mwezi ng’abataakwata midaala gino bagamba gyabuseere. Abasuubuzi abali mu 500 beebakolera mu katale kano.

Read More

Enzizi eziri mu kibuga ziggaddwa

Gavumenti yakuggala ebifo byonna ebivaamu amazzi mu kibuga kubanga kizuuliddwa nti byebitambuza kazambi Ebifo ebimu ku byogerwaako kwekuli oluzzi oluli mu paaka enkadde Minisita akola ku byobulamu ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti bamaze okukwatagana n’ab’amazzi okulaba nti bassaawo amazzi amayonjo Opendi agamba nti abantu bangi banywa amazzi agalimu obuwuka obubaleetera obulwadde bw’omusujja gw’omu byenda Obulwadde buno bwabalukawo ssabbiiti bbiri…

Read More

Omusaala gwa Minista Nantaba gwakugabibwa mu kkooti

  Kkooti enkulu ekola ku by’ettaka eragidde kalaani wa palamenti   Jane  Kibirige  okweyanjula mu kkooti wiiki ejja n’omusaala gwaminisita omubeezi ow’ebyettaka ssaako n’ensimbi ze ez’ensako eby’omwezi guno. Zino zakusasula bbanja ery’obukadde 23 mwemitwalo 70 ezibanjibwa Minisita Aidah Nantaba. Ekiragiro kino kiweereddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti  Tom Chemtai ku kusaba kwa  Abby Kasolo Kiberu agamba nti abanja Nantaba ensimzi…

Read More