Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ebyava mu bigezo bya S6 bifulumye

  Minisitule y’ebyenjigirza efulumizza ebyava mu bigezo bya siniya 6 eby’omwaka oguwedde. Abayizi bakoze bulungi nga era 98.7% bayise bw’ogeregeranya ne 97.4% abayita mu 2013. Okusinziira ku ssabwandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga Matthew Bukenya  abayizi 64,100 bayise nga era basobola okwegatta ku yunivasite n’amatendekero agawaggulu amalala. Bukenya ategezezza nga ebigezo by’abayizi 173 bwebikwatiddwa lwakukoppa bw’ogerageranya ne 34 ebyakwatibwa mu…

Read More

Okuwandiisa abantu kati kyabuwaze

Ebbago ly’etteeka erikwata ku kuwandiisa abantu eryomwaka 2014 liyisiddwa palamenti Wabula kino kibaddewo wakati mu kusika omuguwa ku buwaayiro obutali bumu okuli n’ako akakwata ku kuwandiisa abantu abalina ebitundu by’ekyama ebibiri. Kano kyadaaki kajjiddwaamu era etteeka neriyita. Etteeka lino lijja kukifuula kya buwaze omuntu okulaga obukakafu nti yawandiisibwa nga tannayambibwa mu kitongole kya gavumenti kyonna. Amyuka ssabawolereza wa gavumenti…

Read More

Gavumenti eyongedde okulumiriza Kiyingi

Waliwo abasiraamu abalala 11 bano bagguddwaako misango gya butujju Bano bakwatibwa omwezi oguwedde nga kigambibwa nti beebaluka olukwe olutta Sheik Mustafa Bahinga e bwebajja ne Sheik Daktoor  Muwaya e Mayuge. Ssabawaabi agamba nti abavunaaniddwa baali bakolagana butereevu ne Dr Aggrey Kiyingi okutondawo ekibinja ky’abayekeera ekya Federal Alliance . Bano kigambibwa okuba nti Kiyingi yeeyali abawa ensimbi ezitta abasiraamu…

Read More

Obusajja bwe bubuze

Omusajja asanze omuwala omubalagavu mu sawuna n’amunywegeera agenze okuzuukuka ng’ebitundu bye eby’ekyama tabirabako. Kigambibwa okuba nti omuwala gw’anywegedde  abadde alina eddogo eritutte ebitundu bye ebyekyama n’abiguza abasawuzi Bino bibadde mu kibuga kya Russia ekikulu Moscow ng’omusajja ono kati asiiba akaaba

Read More

Ebikoofira bya Piki bizze

Ebifookira ebyambalwa abatudde mu pikpiki ebibalirirwaamu obukadde 100 byebigenda okugabwa okwetotoola mu ggwanga lyonna mu kawefube w’okulwanyisa obubenje Kawefube ono akulembeddwaamu ab’;ekibiina ekirwanyisa obubenje bwa piki nga omwaka guno bakugaba ebikofiira 2500 Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza okugaba ebikoofira bino, akulira ekibiina kino, Barbra Mwanje agambye nti kino kiyamba ne poliisi okukwata ano abatalina bikofiira awatali kwekwasa Yye atwala…

Read More

Ebisanikira by’ebinnya bizze

Ekitongole kya KCCA kitongozezza ebisanikira by’ebinnya bya kazambi ebiggya oluvanyuma lw’ebikadde kyenkana byonna okubbibwa Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi y’akoze omukolo guno ku luguudo lwa Yusuf Lule ne ku lw’omukaaga mu kibangirizi kya bannamakolero. AMyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba nti ebisanikira ebikadde bibadde bibbibwa kati ebinnya nebisigala nga byereere era nga bibadde bifiiramu n’abantu Mu…

Read More

Mafaabi yegaanye okubba ettaka

Omubaka we Budadiri mu bugwanjuba Nandala Mafabi awakanyizza ebigambibwa nti abba ettaka mu municipaali ye Mbale Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’emirimu, Mafaabi agambye nti kituufu alina ettaka eriwera e Mbale kyokka nga lyonna yalifuna mu makubo matuufu. Ono ategeezezza nti tanyagangako ttaka lya gavumenti nga yesigambye nti ttaka eriri ku luguudo olumanyiddwa nga Lumboi

Read More

Katikkiro akunze obuganda

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwaleero asisinkanye abakulembeze okuva mu bwa Kyabazinga bwa Busoga nga bakulembeddwmu Katukiro. Katikiro agambye nti Obusoga bulina okukolagana ne Buganda mu kutumbula embeera  z’abantu naddala mu kutumbula eby’obulamu, ebyenjigiriza wamu n’okulwanyisa obutabanguko mu maka. Mayiga era agambye nti obukulembeze obw’ennono bulina okuyamba abavubuka abattikirwa mu matendekero agawaggulu, okuvunuuka ebbula ly’emirimu. Mayiga…

Read More

E Jjinja lumubetense

Omusajja ow’emyaka 50 abetenteddwa ejinja erimusanze wansi mu mpuku gy’abadde awumulidde . Enjego eno ebadde ku lusozi lwa Kadam mu disitulikiti ye Nakapiripirit nga eno omugenzi Lokori Chogar ekiyinja gyekimusanze. Aduumira poliisi ye Nakapiripirit  Cox Apamaku ategezezza nga bwebasobodde okutaasa abaana beyagenze nabo naye omugenzi baatuuse kikeerezi.

Read More

South Korea etteeka ku benzi livuddewo

Abenzi mu ggwanga lya South Korea bali mu kujaganya oluvanyuma lwa kkooti etaputa ssemateeka okujjawo etteeka eribakwato era nga kati baakwenda kyeere awatali abakuba ku Mukono. Kkooti eno ejjeewo etteeka lino erimaze kumpi emyaka 60  nga era omuntu abadde asibwa emyaka 2. Abalamuzi 9 abatuula mu kkooti eno nga bakulembeddwamu Park Han-Chul bategezezza nti yadde obwenzi kikolwa…

Read More