Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Eza Ebola baziridde

Okunonyereza okukoleddwa mu ggwanga lya SierraLeone kulaga nti ezimu ku nsimbi ezaali ez’okulwanyisa obulwadde bwa Ebola abakulu bazibwebwena Okunonyereza kulaze nti ensimbi ezisoba mu bukadde bwa dollar 3 n’ekitundu zeezasanyizibwa ng’ate tezirina mbalirira. Abantu abasoba mu mitwalo 23, beebakafa obulwadde bwa ebola mu mawanga ga West Africa omuli Sierra Leone, Liberia ne Guinea.

Read More

Mutumbule obulambuzi bw’awaka

Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kusomesa wamu n’okumanyisa bannayuganda ebikwata ku bifo by’obulambuzi ebiri mu ggwanga, okusobola okwongera ku muwendo gw’abalambuzi abava munda mu ggwanga. Okunonyereza kulaga nti abalambuzi abasinga okujja mu ggwanga bava mitala w’amayanja, songa bannayuganda naddala abalina ku nsimbi bagenda emitala w’amayanja okwewummuzaamu. Akulira  kampuni ya Day Light travel consults James Hilary Yiga agambye…

Read More

Emiriro gisusse e Masaka

Emiriro egisusse mu kitundu gye Masaka gitandise okweralikiriza abali mu buyinza Atwala essaza lye Buddu Mary Babirye Kabanda y’ayogedde bino bw’abadde akyalidde ab’oku mwalo gwe Lambu abayokebwa omuliro gyebuvuddeko Ono agambye nti ne poliisi kijikakatako okufulumya alipoota ku miriro egibaddewo okwewala embeera eyo okuddamu Kabanda kyokka akuutidde abantu okwewala okufumbira mu mayumba mwebabeera Emiriro gino gikutte amasomero, Obutale, amaduuka…

Read More

Omusirikale afudde

Omusirikale wa poliisi abadde akikirira poliisi mu kibuga New York Julius Sharita afudde. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango yakakasiza amawulire gano. Sharita yakolerako mu bitongole bya poliisi ebyenjawulo omuli okukulira ekitongole ekinonyereza mu district ezenjawulo nebifo ebirala. Omwoyo gwe Omukama agulamuze kisa.

Read More

Teri ajja kuntiisa- Lukwago

Loodimeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago akaladde n’ategeaza nga bw’atajja kufukamirira Muntu yenna kumuzza mu ofiisi Lukwago agamba nti abantu bamulonda era agoberera byebamusindika okukola nga tewali nsonga lwaki akukuta Lukwago okwogera bino ng’akulira oludda oluvuganya gavumenti yakategeeza nti eteseganya zaabwe ne gavumenti ku nsonga za loodimeeya zikyalimu kigoye.

Read More

Omujaasi eyakuba amasasi mu bantu ayimbuddwa

Kooti y’amaggye ejulirwamu yejjereza omujaasi wa UPDF Herbert Rwakihembo, eyasalirwa ekibonerezo eky’emyaka 30 mu mwaka gwa 2013. Omujaasi ono yatta abantu bantu basatu okwaali ne mukyala we Irene Kawendeke. Rwakihembo nga yali mutuuze mu zooni ye Kirombe e Luzira yasindirira mukyala we amasasi ng’amulumiriza okulya sente zeyamusindikiranga okuva e Somalia gyeyali yagenda okulwanyisa banalukala ba Al- Shabab…

Read More

Poliisi eremesezza Lukyamuzi, Nambooze ekubye olulwe

Poliisi erinye eggere mu lukungaana olubadde luyitiddwa omubaka we Lubaga mu bukiikaddyo mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Ken Lukyamuzi ku nkulongo ye Busega. Lukyamuzi abadde ayagala kwogerako eri abasuubuzi okuva mu katale ke Busega ku nsonga z’okuzimba akatale kano. Lukyamuzi agenze okutuuka e Busega nga poliisi emaze okusalako ekifo kyona. Lwo olukiiko olwategekeddwa omubaka atwala ekibuga kye Mukono Betty…

Read More

Mufti Mubajje mwetegefu okuzimba obuyisiraamu

Mufti wa Uganda sheikh Shaban Rwamathan Mubajje ategeezezza nga bw’ali omwetegefu okuzza ebintu by’obusiraamu byonna ebyatundibwa Ng’ayogerako eri abakkirizza mu kusaala kwa wamu okubadde e Nakasero ku muzikiti, Mufti asabye buli alina ekintu ky’obusiraamu kyeyatwala okukizza baddizibwe ensimbi zaabwe Mubajje era azzeemu okwetonda olw’okutunda ebintu by’obuyisiraamu. Okusaala kuno kusanyalazza emirimu ku ku nguudo eziriranye omuzikiti guno ng’enkumi n’ekumi…

Read More

emitwalo 70 balina siriimu naye tebakiriza

Kizuuliddwa nga bannayuganda abasoba mu mitwalo 70 bwebawangaala ne siriimu naye nga  tebakimanyi sso nga abalala tebaagala kukkiriza. Akulira ekibiina ekigabi ky’obuyambi ekya UNAIDS Musa Bungudu agamba abamu bagwa ne ku ndiri wabula nebagaana okukkiriza nti balwadde nga era kino kiviiriddeko obulwadde bwa siriimu okusaasanira ku misinde. Bungudu agamba ensonga eno ekalubizza olutalo lw’okulwanyisa siriimu mu ggwanga. Bungudu…

Read More