Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kayisanyo kakuzza baana mu masomero

Kayiisanyo mu kibuga Kampala ng’abazadde bagula ebyetaagisa okuzza abaana ku masomero. Ebintu biwanikiddwa ebbeeyi naddala engatto z’abasomi n’ebikozesebwa kyokka nga kino tekirobedde bagula Mu banka , enkalala mpanvu nga tuyiseeko mu banka ezimu ezisinga okusasulibwaamue nsimbi z’abayizi ng’enkalala zikwatiridde Mu kikuubo, abaayo banoga wakati mu kanyigo olw’abantu abangi abagenze okugula. Bw’owulira abazza abaana ku ssomero oyinza okulowooza nti bwekiri…

Read More

Ebigezo by’abasiraamu bifulumye

Entendekero lya Islamic University in Uganda lifulumiza ebyava mu migezo bya s.4 ne s. 6 eby’eddini. Abaana 412 beebatuula ebigezo bya s.4  okuva mu masomero 38 ate abayizi 107 bebatuula ebigezo bya s.6 okuva mu masomero 14. Abaana 34 beebafunye eddaala erisooka mu s.4 nga 128 bagudde ebigezo. Amasomero omuli Emirates High school,Bilal Islamic school, Bugembe Islamic school…

Read More

Endagamuntu ze Wakiso zituuse

Abeewandiisa okufuna e Ndagamuntu e Wakiso kyaddaaki zituuse. Kaadi eziweza emitwalo 48 zeezituuse ku kitebe kya disitulikiti era ng’okuzigaba kutandise Amyuka ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Rosemary Namubiru akubirizza abantu bonna okugenda gyebewandisiza okufuna endagamuntu zino. Namubiru agambye nti endagamuntu zino zakuyamba banna Wakiso naddala mu kufuna empereeza mu malwaliro, mu masomero ga gavumenti wamu ne mu bitebe…

Read More

Ebibiina by’emizannyo biwereddwa

Akakiiko akatwala eby’emizannyo mu ggwanga kasattuludde ebibiina ebiddukanya emizannyo egitali gimu mu ggwanga. Ebibiina bino birangibwa butagoberera mateeka agaleetebwa akakiiko k’emizannyo omwaka oguwedde. Mu biwereddwa mwemuli aba FUFA ate ng’abawonye kuliko ekikola ku kuwuga n’ekikola ku mizannyo gy’ensamba ggere Ebibiina bibiri byokka okuli eky’okuwuga n’ensambaggere byebikkiriziddwa okukola kubanga bbyo bigoberedde amateeka. Ssabawandiisi w’akakiiko kano Jasper Aligaweesa agamba nti kino…

Read More

MUfti yetondedde abayisiraamu

Mufti wa Uganda Sheik Shaban Mubajje olwaleero yetondedde abayisiraamu bonna olw’ensobi z’akoze mu myaka 20 egiyise Mu kusaba okw’enjawulo okw’obumu okubadde ku muzikiti gwa kampala mukadde, Mubajje asuubizza nti essuula empya egenda okuggulwaawo. Mu kusaba kuno Sheikh Sulaiman Kakeeto, Amir Ummah Yahaya Ramathan Mwanje n’owa sipidika balangiridde nga bwebazzeemu okukolagana. Wabula yadde nga bano basabidde obumu, amyuka supreme…

Read More

Omuzimu gukaabye

Omusajja eyafa edda akimazeeko abantu bw’azze okwetaba ku lumbe lwe ng’abwakuba omulanga omuzibu Guo Liu, 45 nga nzaalwa ye China yafa emyezi esatu emabega bweyali agenze awutu ne mikwano gye Omusajja ono gw’oyinza okuyita omuzimu azze yefuuyira ka sigala era abantu nebabuna emiwabo  

Read More

Eggye ku ba Bokoharam lijja

Omukago gw’amawanga ga Africa guwagidde eky’okutondawo eggye erinalwanyisa aba Boko haram Akulira omukago guno agambye nti akabinja kano kafuuse kamaanyi nga keetaga kukwasisa maanyi. Bano kati bakuwereezaayo abajaasi emitwalo musanvu n’ekitundu Aba Bokoharam bawambye ebifo ebiwera mu Nigeria nga batandise okuyingira mu Benin, Cameroon, Chad ne Niger

Read More

Okugezesa eddagala lya Ebola kutandise

Ettendekero lye Makerere litandise kawefube w’okugezesa eddagala erigema obulwadde bwa Ebola Ekigendererwa kya kutegeera engeri eddagala lino gyeriyinza okukolamu ate nga terikosezza bantu Akulira essomero lya Makerere University Walter Reed project Hannah Musoke agambye nti bagenda kugereza ku bantu 90 abali wakti w’emyaka 16 ne 65 ate nga balamu bulungi. Musoke agamba nti abantu bano bakukubwa eddagala lino…

Read More

Nabakyala Kemigisha mulimba- Kkooti

KKooti erangiridde nti Nabakyala we Tooro Best Kemigisha mulimba Kiddiridde omulamuzi w’eddaala erisooka Simon Kintu okugoba omusango gweyali yawaaba munnamateeka Bob Kasango nti yamubbako ensimbi. Omulamuzi agambye nti Nabakyala Kemigisha yalimba poliisi bweyategeeza nti Kasango yamuwangako yadde ekikumi kyokka ate mu kkooti n’agamba nti yamuwa ensimbi ezikunukkiriza mu kawumbi. Omulamuzi era agambye nti obujulizi bwa Kemigisha bwaali bujjudde…

Read More

Okulonda e Bugiri gwa mu gwakusatu

Akakiiko akalondesa kalangiridde olunaku lwa nga 19 omwezi gw’okusatu ng’ogw’okulonderako ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri omuggya Ekifo kino kyafuuka kikalu oluvanyuma lwa ssentebe Marijani Azalwa okusingisibwa omusango gw’okukuba munne bwebaali besimbyeewo David Mulengeni mu kulonda kwa 2011. Akulira akakiiko akalondesa Eng. Badru Kigundu agamba nti abo bonna abagaala okwesimbawo bakuwandiisibwa nga 23 ne 24 era bayigge akalulu…

Read More