Bannamateeka ba Gen David Sejusa bagamba nti amaggye galian ekigendererwa okulemesa omuntu waabwe okuwummuzibwa mu maggye
Omwezi oguwedde, Sejusa yasaba okuwummula okuva mu maggye era n’ategeeza nga pulezidenti Museveni bweyali amukakasizza nti byonna biri bulungi
Munnamateeka wa Ssejusa David Mushabe agambye nti akakiiko akakola ku bawummula kabategeezezza nti tekannafuna ku kiragiro kyonna nti Sejusa alina okuwummuzibwa
Mushabe agamba…
Omukyala ow’emyaka 24 yewadde obutwa n’afa oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bba
Ono era obutwa abuwadde n’abaana be abali mu mbeera embi mu kadde kano
Gloria Nakeera omutuuze ku kyaalo Nabigasa afudde bamuddusa mu ddwaliro ate ng’abaana be okuli Viola Kiseeka ne Walcot Kiseeka bbo bakyataawa.
Okusinziira ku taata w’abaana bano Peter Kiseeka, mukyala we abadde yazaala omwana ebweru…
Abatuuze ku kyaalo Nakasagga-Kyebereka mu gombolola ye Kasambya Mubende bavudde mu mbeera nebazira omulambo gw'omutuuze oluvanyuma lwa mutabani we okumutwala n'afiira mu ssabo.
Omugenzi ategerekese nga Jackson Ssonko ow'emyka 50 ng'ono yalumbiddwa ekirwadde ekyawaliriza mutabani we omukulu Valence Nsaba okumutwala ew'omusamize okumuwa obujanjabi era ng'eno gy’afiiridde ekitabudde abatuuze.
Bano balumirizza omuvubuka ono obutabatwaala gyeyali atutte kitaawe kyokka…
Kafulu w’eggwanga lya Portugal, Luis Figo yegasse ku lukalala lw’abo abagaala okukulembera ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA
Ono w’emyaka 42 nga yazanyirako mu Barcelona, , Real Madrid ne Inter Milan yegasse ku David Ginola eyesowolayo edda okuvuganya Sepp Blatter.
Abakaka kuliko Omulangira Ali okuva mu Jordan, omudaaki Michael van Praag ne Jerome Champagne.
Blatter abadde akulembera…
Mu Florida kkapa eyatomerwa emmotoka n’efa amazeeko abantu eby’ewungula bw’efubutuse mu ntaana nga nnamu nnyo
Ebadde amaze ennaku ttaano mu ntaana.
KKapa eno emanyiddwa nga Bart yasangibwa mu kitaba ky’omusaayi wiiki emu emabega era okugituusa mu ddwaliro abasawo nebategeeza nga bweyali efydde
Okulabikako, kkapa eno ebadde ekankana, n’emenyese oluba n’eriiso nga litunguseeyo
Minisitule y’ebyobulamu yakwongera ku bifo ebikeberebwaamu endwadde ezitali zimu.
Kino kiddiridde okwemulugunya nti ebifo bino bitono ddala ekikereeya obujjanjabi kubanga okukeberebwa kuba tekunnakolebwa
Kamisona akola ku kuziyiza endwadde, Alex Opio agamba nti bandyagadde okubeera n’ekifo ekikeberebwaamu endwadde mu buli disitulikiti kyokka nga tekisoboka
Dr Opio agamba nti mu ggwanga lyonna mulimu ebifo 77 okwetoloola eggwanga lyonna era nga…
Eddwaliro lye Mulago lyakufuna ekyuuma ekinakola ku ndwadde ezitali zimu ezikwata ku by’okuzaala by’abakyala.
Akulira eddwaliro lino Dr. Byarugaba Bateerana agamba nti mu kuddabiriza eddwaliro lye Mulago okugenda mu maaso, essira lissiddwa ku nsonga za kuzaala bya bakyala.
Dr.Bateerana agamba nti ebyuuma ebisinga ebiri mu ddwaliro bya myaka gya 60 ate nga kati aantu beeyongera.
Ono agamba nti…
Poliisi ye Fort Portal etandise okunonyereza ku nfa y’omukulu w’essomero erimu okuva e Bundibugyo eyatondose nga akola duyiro w’okugesezebwa okuyingira poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori Bakari Muga Bashir ategezezza nga omugenzi Steven Bwampu bweyatondose n’afa oluvanyuma lw’okudduka nga y’abadde abuukabuuka ne banne mu bitundu bya Rwenzori.
Bwampu y’abadde amyuka omukulu w’essomero lya Christ SS…
Akulira olukiiko lw’ekibiina ky’amawanga amagatte Sam Kuteesa agamba nti keekadde amawanga gonna gakwatagane okulwanyisa enkyukakyuuka mu budde
Ng’ayogerera mu kibangirizi kya CHOGM mw’asimbye omuti, Kuteesa agambye enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde ekutte wansi ne waggulu nga buli omu kimukakatako okugirwanyisa.
Ono agamba nti keekadde amawanga okukitegeera nti tewlai nkulakulana eyinza kubaawo ng’obudde bukyuka buli kaseera.
Yye akulira abakozi mu…
Ab’ekibiina kya DP bakutuula omwezi ogujja okusalawo oba beetaba mu kulonda kwa 2016 oba nedda.
Kiddiridde bano okuviiramu awo e Busia nga bagamba nti okulonda kwalimu emivuyo
SSabawandiisi wa DP Mathis Nsubuga agamba nti ebintu nga bwebiyimiridde kiraga bulungi nti pulezidenti ne gavumenti ssibetegefu kutereeza mu bya kulonda nga y’ensonga lwaki okwetaba mu kulonda kiyinza obutakola makulu.
Abavuganya…